TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abakazi boogedde abasajja bye bakola ennaku zino ne bibayenjebula

Abakazi boogedde abasajja bye bakola ennaku zino ne bibayenjebula

By Musasi wa Bukedde

Added 30th January 2018

OBADDE omanyi ebintu ebiwa abakyala essanyu mu nsiitaano y’omu kisenge? Bw’oba bulijjo obadde wakola olukalala lw’ebyo by’osuubira nti abakazi bye baagala ky’ekiseera okuluddamu okulwekenneenya ng’ekituufu okiggyira ddala ku bakwatibwako embeera eno.

Talking 703x422

Abakazi balina ebifo n’embeera ebibasumulula ppata ssinga bibeera bikwatiddwa bulungi olwo nabo ne banyumirwa enjesa y’empiki era abamu gye biggweera nga bawalampye ku ntikko ya gologoosa.

1 Okutwala obudde obumala okumuteekateeka: Abakazi bagamba nti omusajja bw’awa munne obudde n’amuteekateeka asumulukuka ensulo ne zitandika okukulukuta.

Okwawukanako n’abasajja ku bakazi kitwalamu ekiseera okufuna obwagazi ate bwe bulinnya bubeererawo ddala. Ekimu ku bimalamu abakazi amaanyi kwe kubafubutukira ne bataweebwa budde bumala kubateekateeka. Abakyala abawerako baagala nnyo okumala obudde ng’obazannyisa mu ngeri y’okubateekateeka.

Ate bwe kiba kyetinze abamu banyumirwa okusigala nga babanywegera n’okubaweweeta.

Mary Nalwoga agamba nti teri mukazi gw’otakula mu kutu nga bw’omusuusuuta n’atayenjebuka kasita mubeera mu budde bwamwe obutuufu. Abalala mu nviiri mwe mubasumulula, mu mabeere ate waliwo abafa ng’obayisizza olulimi ku kkundi ne lugenda nga lukkiririra.

2. Okwambula: Omusajja bw’atandika okwambula omukazi nga ddala amwagala, buli lugoye lw’amuggyako nga bw’asuula eri, atandikirawo okukuba obufaananyi mu bwongo ku kibeera kigenda okuddirira. Abakyala bagamba nti embeera eno yandibadde ya mpolampola kuba bwe biba bya kupapa kirina engeri gye kibatiisa nti oyagala kufuna bya mangu oluvannyuma weeyongereyo. Mu kubambula kuno nga buli lugoye olukwata n’olussa wali, bw’owereekerezaako okubasiima engeri Liisoddene gye yabawunda wamma obeera oyongedde okubasumulula.

3 Okusinda: Abakazi bagamba nti abasajja abamu baakikwata bubi nti be balina okukooloobya mu buliri. Jane Nansubuga agamba nti munne bw’acamuka n’atandika okusinda, naye asumulukukirawo ne yeesanga mu mbeera y’omuntu akubiddwa enkuba, ntegeeza atobye era wayita akaseera katono n’awulira ng’ayagala batandike ensiitaano.

Abakazi bagamba nti ensiitaano enyuma nnyo ng’eddoboozi ly’omusajja livaayo bulungi mu ngeri y’okusolobeza n’okulaga nti ddala anyumirwa. Abakazi bagamba nti embeera eno eyongera okubasumulula obudde ne budda ku bunnaabwo.

4 Okubawaana n’okubawemula; Abakazi abamu banyumirwa nnyo okubawemula era abasajja abamu olutandika okubasumululira ebigambo ebyo babeera bakibakoledde. Kino kizingiramu okwogera buli kintu kaati awatali kukwekereza.

Bino bw’obiwereekereza n’okubasiima nga muli mu nsiitaano ate kiyitirira.

5 Abasajja abamanyi okukozesa engalo okuweeweeta bawa abakazi essanyu. Kino kizingiramu okuba-weeweeta mu bitundu ebibasonsomola omuli amabeere, ebisambi, ku kkundi ne ku lubuto, abalala mu bulago, mu matu, mu nviiri, ku kakukufa n’awalala. Nansamba agamba nti omusajja okumwesogga n’atandika okubbinkana kiyinza obutamutuusa ku ntikko nti kyokka bw’ogattako okusigala ng’oweweeta ebifo ebimusumulula, ayanguyirwa mangu okutukka ku ntikko.

6 Totya bwolaba embeera etali ya bulijjo; Abakyala abasinga banyumirwa nnyo akaboozi akatali kaabulijjo ate nga kamaanyi. Banyumirwa okubakuba obuyi ku bubina, okukwata emikono gyabwe ne babeera ng’abasibiddwa. Abakyala bagamba nti abasajja abakola bino balabika ng’abenjawulo ku balala era embeera eno ebatuusa mangu ku ntikko.

7 Fuba okulaba nga ne munno afuna kye yeetaaga; Abasajja abasinga boolesa amaddu mu nsitaano nga bwe bacamuka babeera baagala kutandikirawo kwesa mpiki ate bwe batandika bafuba kulaba nga batuuka ku ntikko. Abakyala bagamba nti banyumirwa nnyo ensitaano nga bannaabwe babalinzeeko ne batuukira wamu ku ntikko. Kino omusajja asobola okukikola bw’awulira ng’atandise okwolekera entikko n’asiriikirizaamu ne kimuwa amaanyi okuyunga obuto.

8 Musuuleko bu sitayiro obutali bwa bulijjo; Abakyala banyumirwa okubasuulako sitayiro enjawufu ku zaabulijjo naddala ng’ogimukubyeko bukubi kuba ebiseera ebisinga bakola misonale na kabuzi.

Omukazi ayinza okuwulira eky’enjawulo ng’amagulu ge gali ku bibegabega byo oba omusitule omutwale mu ffumbiro oba ku mmeeza awo ajja kukutendereza nga bw’oli omuka.

9 Obuyonjo: Ekimu ku bikuba abakazi ye musajja okubeera omuyonjo nga bw’aba yeetemye sipeeya alabira ddala omuntu eyeesalira obulungi, ayambadde engoye ennyonjo, atalina kasu nga ne bw’akuba omukazi kiisi tabeera na kwekengera olw’empunya y’akamwa. Omukazi bw’alaba munne ng’atuukiridde mu bisinga obungi, emmeeme emubeera wamu era oluba okumukwatako asumulukuka busumulukusi olwo nga n’ebyalo amugabira.

10 Mutunule mu maaso: Obadde okimanyi nti amaaso nago galina engeri gye gasumulula obuswandi bwa munno. Weewuunye abamu bwe baba bagenda mu nsiitaano, kye basookerako kwe kuggyako ettaala baleme kubalaba.

Abakyala abamu bagamba nti banyumirwa nnyo okubeera mu kikolwa nga bannaabwe babatunula mu mmunye kuba kiba kibalaga obuwoomi bw’awulira olwo naye ne yeeyongera obwagazi.

Abakazi bagamba nti ennaku zino baseeseetuse ne bava ku bintu abasajja bye babadde bamanyi okubaleeta obwagazi, nga kati bassaamu ennyongereza y’ebyo bye boogeddeko.

Wabula bagamba nti bino byonna binyuma waliwo ku ssente nga munno asobola okukutuusaako by’oyagala n’okukuyiiyiza, omukwano ne guggumira.

Bakyawa laavu y’okwekubagiza nga buli kintu naddala ekirimu ssente kibeera kya kwegayirira. Bagamba nti omutima bwe gutatereera nga waliwo okwegayirira ne laavu etera okubeeramu amakoona n’okwekwasa ne batagiraga mu bujjuvu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...