TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ekirabo kye namuwa ku Valentayini yakiwa muganzi we

Ekirabo kye namuwa ku Valentayini yakiwa muganzi we

By Musasi wa Bukedde

Added 9th February 2018

Olunaku lw’abaagalana lwe lumu ku nnaku ezisinga okujaguzibwa mu ggwanga. olwokuba luba lunaku lwa mukwano abantu bagulira mikwano gyabwe n’abantu be baagala obulabo obwenjawulo okulaga omukwano gwe balina gye bali.

Mako 703x422

Ye Christine katushabe alwogerako bwati; Olunaku luno nnali ndwagala nnyo era nga buli lwe lutuuka mba ndwesunga wabula mu 2005 nalufunamu obuzibu era kati sikyalukuza.

Mu mwaka ogwo mwe nafunira olubuto lw’omwana wange eyasooka gwe nnali noonyereza ebbanga era bwenalufuna nafuna essanyu lingi.

Olunaku lw’abaagalana bwe lwatuuka nagulayo akatambaala akaliko ebigambo bye nalaba nga birungi era ebiraga omukwano eri gw’oyagala.

Kw’olwo nakeera ne muyita nga ndi mu ddiiro ne nneefuula afunye ekizibu naye yasanga nseka ne mugamba nti mukwano ‘’happy valentine’s day ‘’ ne muwa ekirabo kye kye nali nsibye obulungi bwe yakisumulula yandaga nti ansiimye era n’akatereka.

Bwe yagenda ku mulimu okukola saamanya oba yagenda nako wabula kw’olwo yakomawo matumbibudde ate ng’awunya omwenge.

Kino kyatutabula mu kuwaanyisiganya ebigambo ne mugamba ‘’ova mu bwezi’’ ne yeegaana olwo we namubuuliza ekirabo kye namuwadde gyekiri, nahhamba yakirese mu kisenge naye bwe natuuukayo nga tekiriiyo.

Twanoonya akatambaala ne kabula n’atuuka n’okugamba nti kirabika waliwo eyakabbye olw’okuba nnali saagala nnyo ntalo nasalawo okubimma amazzi.

Wabula enkeera ekyanzigya enviiri ku mutwe, awaka wajjawo omugenyi nga mukyala ne mwaniriza era n’ategeeza nga bwe yali azze okulaba omwami wange.

Nasooka kulowooza nti bya mirimu naye aba yeesimuula entuuyo n’aggyayo akatambaala kennyini ke nawa baze ng’ekirabo ky’omukwano.

Nafuluma ebweru ne nkubira baze essimu ne mutegeeza nga bwe tufunye obuzibu awaka era naye yajja mangu.

Bwe yatuuka yansanga waya zaavuddeko dda nenyingira mu nju ne nsika akatambaala ku mukazi ne nkalaga baffe era olutalo bwe lwanyinyitira baliraanwa ne bajja ne batutaasa.

Omugenyi bwe yabuuzibwa wa gye yaggya akatambaala n’antegeeza nga muganzi we Tom (Baze) bwe yakamuwadde nga ekirabo ku lunaku lwa valentine.

Nawulira nga nsaanawo,era wano we yategeereza nti ye abadde takimanyi nti Tom mufumbo kubanga bwe yali amukwana yamugamba nga bw’abeera ne mwannyina.

Ng’omukazi amaze okugenda twasigala tuyomba wabula nga ye omwami agezaako okunneetondera era okuva kw’olwo nze ekiyitibwa valentine sikyagala era kukiwuliza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...

Whatsappimage20200402at65210pm 220x290

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire...

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.