TOP

Omukazi yannema lwa bwenzi

By Musasi wa Bukedde

Added 9th February 2018

OMUKAZI ggwe nasookerako yannema lwa kunjooga. Nze Robert Kalumba mbeera Kawempe. Mukazi wange twasiimagana naye ng’ abantu abalala.

Kwata1 703x422

Twasalawo okukola naye obufumbo oluvannyuma lw’okumala akabanga nga twagalana.

Entandikwa y’omukwano gwaffe yali nnungi ddala kuba yali tanjuza mu bintu ebisinga obungi.

Twafuna ebirungi bingi omuli n’ezzadde. Wabula ebintu byagenda bikyuka mpola nga wayiseewo ebbanga.

Maama w’abaana bange yatandika okunneewaggulako nga takyampa kitiibwa wadde okumpuliriza.

Ebiseera ebisinga obungi yatandika okweyisa nga bw’alaba. Bwe yalokoka yanfuukira ekizibu kuba ng’ennyumba ngisulamu n’abaana bange ffekka olwo ng’ategeezezza nga bwagenze mu kusaba kw’ekiro.

Embeera eno yaleetawo okutabuka ng’ebiseera ebisinga kireetawo ennyombo,entalo n’ebirala mu maka gaffe.

Olumu bwe yagendanga okusaba ng’akomawo bukya n’andeka mu nnyumba nga ntawaana n’abaana kababeere balwadde nga takifaako.

Okusinziira ku ngeri omukazi gye yali yeeyisaamu nasalawo okumwesonyiwa mu buli kimu nga mulaba bulabi. Waayitawo emyezi mitono ηηenda okulaba ng’ali lubuto.

Okumanya omukazi yali mujoozi nnyo, yatandika okunneewanirako nga bwe yali afunye omusajja agenda okumukuba empeta.

Yagezaako okummalako emirembe naye ne mwesonyiwa. Wabula yali abuzaayo ekiseera kitono azaale, yagera ηηenze ku mulimu okukola ηηenda okudda awaka nasanga asibyeemu ebibye ng’agenze mu makubo ge.

Okuva lwe yagenda tetwaddamu kukwatagana naye, ekiseera kyonna abaana nze mbadde mbalabirira n’okukola ku byetaago byabwe.

Naye kati Mukama yampa omulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Abadde ayagala okuziika ssanduuku...

Abadde ayagala okuziika ssanduuku y'omufu enkalu asimattuse okugajambulwa abakungubazi

Kat3 220x290

Katikkiro Mayiga akunze abantu...

Katikkiro Mayiga akunze abantu okujjumbira omulimu gw'okuzimba eddwaliro ly'e Nkozi

Rep1 220x290

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo...

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo mu palamenti

Kat1 220x290

Gavumenti egenda kusengula abantu...

Gavumenti egenda kusengula abantu 6000 okuva e Bududa

Pob1 220x290

Gav't ekakasizza emisolo ku takisi...

Gav't ekakasizza emisolo ku takisi ne bbaasi