TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Valentayini y’omwaka guno ngyesunga

Valentayini y’omwaka guno ngyesunga

By Musasi wa Bukedde

Added 9th February 2018

EMYAKA ena gye tumaze n’omwagalwa wange, tetukuzangako lunaku lw’Abaagalana nga tuli ffembi wabula Valentayini y’omwaka guno egenda kubeera ya byafaayo mu bulamu bwange.

Kwata 703x422

Nze Salim Kasajja 26, mbeera Banda, ndi musuubuzi wa kaloti mu katale k’e Nakawa.

Ndi muvubuka atapapira bintu bya bawala okutuusa bwe nafuna munnange ono bwe twefuna kati myaka ena.

Okusiimagana, twesanga ku mirimu gye yali azze we nkolera naye n’ankuba nange kwe kumugambako era n’akkiriza.

Omukyala ono emirimu gye agikolera Oman ne kw’olo yali yaakadda era twabeera naye akaseera katono n’addayo ku mulimu gye. Mu kuddayo twateesa buli omu okwekuumira munne olwo ne tusigalira kwewuliza ku ssimu.

Naye nga mu nnaku zonna olusinga okutuluma lwe lunaku lwa Valentayini obutatusanga ffenna. Naye bino byonna nabigumira nga nkimanyi nti luliba olwo ne tubeera ffembi.

Ekisooka, nali sikuzanga ku Valentayini ng’abaagalana abalala okutuusa omwaka guno munnange Valentayini lw’emusanze ng’ali eno ne manya nti bukyanga batulumya naffe kye kiseera tubasammulize twesasuze giri emyaka gye twasubwa.

Ne munnange olunaku alulindiridde n’okusinga nze kuba buli bwe lwatuukanga, ng’abula kukaaba olw’omukwano gwewala. Era nange nnina kye mutegekedde kye sisobola kwogera kati naye nga nkimanyi nti Valentayini ya 2018 egenda kuba ya byafaayo mu by’omukwano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Hasan Mubiru alondeddwa ku butendesi...

Hasan Mubiru alondeddwa ku butendesi bwa Katwe United

Naf1 220x290

De Gea agudde mu musimbi

De Gea agudde mu musimbi

Ti1 220x290

Tony Adams agugumbudde Emery

Tony Adams agugumbudde Emery

Kib1 220x290

Sissoko bimwonoonekedde

Sissoko bimwonoonekedde

Jib1 220x290

Eyalwala ekibuno anoonya obukadde...

Eyalwala ekibuno anoonya obukadde 40 okulongosebwa