TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Yongera ebirungo mu kisenge munyumirwe

Yongera ebirungo mu kisenge munyumirwe

By Musasi wa Bukedde

Added 9th February 2018

EBISEERA ng’obufumbo bwakatandika, abaagalana buli omu aba tayagala kumala kiseera kinene nga tali na munne.

Kentaro 703x422

Ekizibu nti embeera eno teba ya lubeerera. Bannassaayansi bagamba nti abaagalana bwe baba baakalabagana emibiri gyabwe gifulumya ekirungo ekimanyiddwa nga ‘xytocin’ ekibayamba buli omu okuwulira ng’ayagala munne okutuuka mu busomyo, era y’ensonga lwaki mu kiseera ekyo, buli lw’osemberera munno owulira ng’alimu amasannyalaze agakusika.

Ekirungo ekyo kikola ng’eddagala erikwataganya abaagalana bano abamu ne batuuka n’okulowooza nti osanga munne yamuloga olw’okuba buli kiseera abeera amuyoya, so nga kiva ku kirungo ekyo.

Okukwatagana ku mikono, okwegwa mu kifuba, okwenywegera n’ebintu ebirala bingi ebikolebwa abaagalana okulaga omukwano. Abaagalana buli omu bw’atandika okuyaayaanira omubiri gwa munne kye kimu ku bintu ebireetawo ekyokwegatta okusobola okufuna okumatizibwa mu nsonga z’omukwano.

Noolwekyo, abafumbo okusobola okukuuma omukwano mu mwaka guno, kirungi bayiiye ebinaabayamba okukuuma ekirungo kino mu mibiri gyabwe babeere nga buli kiseera buli omu ayoya munne.

Ebimu ku bisobola okukolebwa okukuuma embeera eno mulimu;

Kyusa mu ngeri gy’osabamu munno akaboozi.

Ensonga eno abafumbo abamu bagibuusa amaaso kubanga bangi tebakozesa bigambo, wabula olutuuka mu buliri olwo ng’omu atandika kwefulukuta.

Ekibi ky’enkola eno, omu ayinza okuba nga eby’akaboozi kw’olwo si ekivaamu butanyumirwa.

Mu ngeri y’okukyusaamu, okugeza omukyala, munno oyinza okumugamba nga bw’onyumirwa okukwata mu kirevu kye, oba ekifuba kye nga bwe kikulabikidde obulungi.

Ate omusajja oyinza okutandikira mu kuwaana ebbeere lya munno, oba akabina oba ekitundu ekirala kyonna.

Kino kijja kumusumulula amanye nti omwetaaga era we munaatandikira biri byennyini ng’onazaako bunaza, era nkakasa mujja kutambula bulungi.

Bwe muba awaka oba mu kisenge, mwemanyiize buli omu okuweeweeta ku munne.

Bannassaayansi bagamba nti abaagalana buli lwe bakwatagana mu mikono, okwenywegera, okwegwa mu kifuba n’ebikolwa ebirala ng’ebyo kireeta ekirungo kya ‘oxytocin’ ekiyamba mu kukkakkanya omubiri.

Ekirungo kino era kye kifulumizibwa ng’omuntu atuuka ku ntikko. Omuntu buli lw’akkakkana omubiri kimalawo situleesi ereetebwa ebintu ebyenjawulo.

Bwe muba mu kisenge, yiga okussaawo embeera munno asobole okukwesunga.

Buli lw’olwawo nga weesunga ekintu bw’okituukako kiba kya njawulo era temuyinza butanyumirwa.

Kino bwe munaakikola mujja kulaba ng’omukwano gwammwe gwongera okunywera n’okubanyumira.

Mwawule essaawa ze munyumiza ku bya laavu kweyo gye mwogerera ku bizibu byammwe n’ebibasoomooza.

Abantu abamu bwe bafunayo akadde bombi, tebafaayo ku nsonga ki ze balina okwogerako ne beesanga nga bagasse ebinyiiza n’ebibasanyusa.

Eno y’ensonga lwaki oluusi osanga abaagalana abagenzeeko awutu okucakala n’okusanyuka kyokka gye biggweera ate nga bayombeddeyo oba n’okulwana.

Kirungi bwe kiba kiseera kya mukwano, ebirala mubisse ku bbali musobole okunyumirwa ekiseera ekyo.

Muyiiyeeyo ebintu bye mukolera awamu ebinaayongera okunnyikiza omukwano gwammwe.

Okugeza mwemanyiize okweweereza obubaka obubacamula era obunaabateeka mu muudu.

Kino kijja kubayamba okwongera ebbugumu mu mukwano.

Bwe muba mu kisenge, munno mukakase nti omwetaaga mu kiseera ekyo.

Weggyeemu ensonyi kubanga bw’osalawo okwewa omuntu olina okumwewa yenna.

Kirungi buli kiseera oyiiyeeyo akapya akanaacamula munno.

Buli lw’oleeta ekipya kijja kukuyamba okwongera okuyiga munno n’okumanya by’ayagala era ebimucamula.

Okunyumirwa obulungi akaboozi, mufube okulaba nga mukyusa mu ngeri gye mwesanyusaamu.

Weefuule nga nnawolovu atafi ira ku bbala limu. Toganya munno kukumanya engeri gy’okolamu emirimu atuuke n’okumanya nti bw’okwata wano, olwo ng’ozzaako wali, nedda.

Ku luno ensonga bw’ozitwalira ku sipiidi 20, ate oluddako mutwalire mu 120.

Kino kijja kussaawo enjawulo era buli lwe mwegatta munno ajja kuba yeesunga.

Buli lwe muba muneesanyusa, kirungi ne mussaawo embeera eneebasobozesa okunyumirwa.

Okugeza musooke mufune akyokulya ekirungi, nga mutaddeko n’obuyimba obuseeneekerevu, mujja kulaba nga buli kimu kyekola kyokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...