TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Buli Valentayini mbala mwaka mu bufumbo

Buli Valentayini mbala mwaka mu bufumbo

By Musasi wa Bukedde

Added 10th February 2018

NZE Carol Nabulime, nnina emyaka 29. Mbeera Kibuli n’eky’ebbeeyi kyange kyange kye bayita Ssayi kye tumaze nakyo emyaka ebiri nga tuli mu mukwano ogw’ekimmemmete mwe tufunidde n’ezzadde.

Oli 703x422

Waliwo Katonda lw’akuleetera omuntu mu bulamu bwo n’osigaza kya kumwebaza anti nange okuva lwe yampa Ssayi, ebirooto byange byatuukirira kuba ye musajja buli muwala gye yandyagadde okufumbirwa.

Simanyi bya kukuza lunaku lw’Abaagalana naye waliwo ekyantuukako mu 2016 ku lunaku lwa Valentayini lwennyini Ssayi lwe yasalawo okunnaanika empeta.

Nasooka ne mbiyita bya lusaago naye bwakya lumu ne bantwala mu ssaluuni yogayoga nga tuli mu Kkanisa bannange olwo olunaku katono nfe essanyu.

Njagala okusuubiza Ssayi nti byonna bye nalayira ne bye namusuubiza ku lunaku olwo nkyabijjukira era tebulikya ne muvaamu.

Valentayini lunaku lukulu mu bulamu bwange kubanga buli lwe lutuuka mpeza omwaka mu bufumbo obutukuvu ekintu buli muwala oba omukyala yenna kye yandyagadde ate nga n’akikukoledde tomusuubira.

Nsuubiza bbebi wange Ssayi nti kati kye tulimu tuli mu mpaka ng’asinga okwagala munne ye muwanguzi ate nga sigenda kukkiriza kunsinga.

Nze nnina okumuwangula era ku Valentayini eno, nnina kye ntegese bwe naakyogera ayinza obutakyesunga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwineatmagere 220x290

Bobi Wine ayogedde ku ngeri gye...

" Akawungeezi ka Mmande nnabadde mu kisenge kya wooteeri mwensula ne mpulira abantu nga bagamba ggulawo kyokka...

Long1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Bobi Wine, mukazi we amutunuddeko e Makindye gy’akuumirwa n’azirika olw’embeera gy’alimu. Omubaka Zaake bamuleese...

Candia 220x290

Nnannyini wooteeri ya Pacific e...

NANNYINI wooteeri ya Pacific Hotel mu kibuga Arua asambazze ebyayogeddwa poliisi nti emmundu ez’ekika kya SMG ebbiri...

Genda1 220x290

Baka balamu bange bannemesezza...

NZE Shifrah Nalwadda 25. Mu 2016 omusajja ayitibwa Akim yankwana era nange ne musiima ne mmukkiriza n’antwala ewuwe...

K3 220x290

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa:...

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa: Baagala Bobi Wine ayimbulwe