TOP
  • Home
  • Ssenga
  • By’olina okussaako essira ng’onoonya omukazi mu kisenge

By’olina okussaako essira ng’onoonya omukazi mu kisenge

By Musasi wa Bukedde

Added 20th February 2018

WABULA basajja bannange mbabuulire tewali kimpa buzibu nga eby’okunoonya omukazi mu kisenge.

Saba 703x422

Abaagalana nga bali mu kifo ekisanyukirwamu gye buvuddeko. Ebifo nga bino biyamba abaagalana okucamuka, olwo we batuukira e Namboole nga buli kimu kitambula bulungi.

WABULA basajja bannange mbabuulire tewali kimpa buzibu nga eby’okunoonya omukazi mu kisenge.

Ekisooka mbeera neekooyedde dda nga njagala kufunamu ak’amangu ndyoke neebake era nze owewange yakimanyiira tampa buzibu kasita amanya nti neetaaga tankaluubiriza nga nkola byenkola nga neebaka....” “….ate twajjirwa obuzannyo anti omukyala bw’abiraba mu bu firimu by’aba ayagala, mbu mubeere awo mwemoole n’atamanya nti oluusi olina bingi by’olowoozaako oluusi ne ssente zaakubuze nga toyagala kumala biseera ku kintu kimu nze nange obwo obudde bw’okwemoola nga noonya sibulina.”

Eyo yabadde mboozi y’abaami be nasanze mu sawuna gye nabadde ηηenze okweyoteza akawungeezi.

Kino kyongera okwoleka nti abasajja bangi ensonga y’okunoonya abaagalwa baabwe tebakyagitwala nga nkulu, so nga kino kikola kinene mu kunyumirwa kw’abaagalana.

Waliwo abeekweka mu njogera ya, “..bw’olwa mu nnyama., ssupu awola..” nga bagamba nti omusajja buli lw’amala ebiseera nga yeemoola nti anoonya munne kumuteeka mu muudu, yeesanga amazeemu akagoba nga tebannayingira na kisaawe.

Hajat Hamida Namatovu, omukugu mu kubudaabuda abaagalana mu nsonga z’omukwano yagambye nti okunoonya y’emmanduso y’okunyumya akaboozi era kino bwe kiba tekikoleddwa tosuubira nti omukazi alina ky’ayinza okunyumirwa ne bwaba akwagala atya.

Yagasseeko nti omusajja amanyi ekyokukola era ng’amanyi bulungi omubiri gwa munne tasobola butamunoonya nga yeewolereza nti ajja kumalamu akagoba nga tebannatandika mikolo.

“Abasajja lwa butamanya naye tewali nsobi yonna ssinga mutandika okwenoonya n’omalamu akagoba wadde oba tonnayingira. Jjukira ssinga kino kibaawo, wabula n’ogenda mu maaso ng’onoonya munno, ate bw’onootandika akazannyo ojja kunyumya okutuusa bw’onoomutuusa ku ntikko.

Omusajja kasita asooka okufulumya amazzi ago agasooka, bw’addamu okwegatta amazzi galwawo okwekuηηaanya, ekiyamba omukazi naye okunyumirwa ate nga n’omusajja teyeeraliikirira kumalamu mangu kagoba, okutuusa nga n’omukazi atuuse ku ntikko,” Hamidah bw’annyonnyola.

Yagasseeko nti ekizibu abakazi batono abamanyi engeri y’okukwatamu omusajja ssinga amalamu akagoba nga tannayingira nnabunnya era olw’obutamanya bw’alaba omusajja atuuse mu mbeera eno ayinza okulowooza nti tamanyi bya kwegatta.

ONOONYA OTYA MUNNO

Okunoonya kutandikira mu kweteekateeka.

Kino buli musajja osaanye okukikola ne weeteekateeka nga tonnaba wadde okusisinkana omukyala oba oyinza okukiyita okwetereeza;

Engalo; Omusajja osaanidde okufa ku ngalo zo kubanga ze zisinga okukozesebwa mu kunoonya omukyala.

Abasajja bangi balina engalo eziringa obubaawo mu kukaluba ate abalala n’omusanga ng’alinga alina enjola oba ebikaata.

Kino oluusi kisinziira ku mirimu abasajja gye bakola. Waliwo abakola emirimu egikalabula engalo oba okuzireetamu amabavu. Bw’oba okola emirimu gy’ekika kino osaanidde okufuba okulaba ng’oyambala giraavu mu biseera by’okukola nga kw’ogasse okukozesa ennyo ebizigo okusobola okugonza engalo zo.

Omubiri; Bw’oba ogenda okusisinkana ne munno lifuule tteeka nti osooka mu kinaabiro ne bwoba tonnatuuyanako genda onaabeko ate era omwami yenna osaanidde okubaayo n’akazigo ko ke weesiigako n’owunyako mu ngeri eyenjawulo kubanga mu biseera by’okwegatta ennyindo zikola nnyo. Bw’omala okunaabako senya olwo ogende okutuuka ku mmuno nga tewali nkenyera yonna.

EBIRUNGO MU KUNOONYA

Omukyala mulereeko, bw’omala okumulera tandika okukozesa engalo zo ozimuyiseeko mpolampola. Ate topapa kumuggyamu ngoye wabula ekyo mukikola ng’akyazambadde okutuusa lw’olaba nti ayidde olwo olyoke omwambule.

Okugonda; abaagalana mwembi musaanye okukimanya nti ekiseera kino kiba kya kwegonza, kino kitawaanya abasajja bangi era abasinga ky’ova owulira nga bawoza nze ebyokunoonya sibyagala kubanga aba yakigezaako omukyala n’amusindika eri oba okumulemesa. Ekireeta kino abasajja bangi tebamanyi kuweeweeta, bakozesa amaanyi mangi n’atuuka okuweeweeta omukyala ng’alinga awawula olubaawo mu kifo kya munne okunyumirwa n’abeera ng’alumya mulumye. Tomulera bulezi wabula mulere ng’omutuuza ku nkasi abeere ng’aseeyeyeza ku nnyanja eno nga bwemuyimba, “Amazzi g’ennyanja...” mu mitima gyammwe.

Obuzannyo; buno nabwo kintu kikulu nnyo mu kwenoonya. Okugeza osobola okukwata munno awali ennyonyoogeze, bw’olaba abuuse yongera okukoonera ddala awo. Kye mulina okumanya nti ebyomukwano byetaagamu okuyiiya. Muyinza okufunayo engeri endala gy’ozannyamu n’omwagalwa wo okusinziira ku kifo we muli n’embeera yammwe nga bwe mwemanyi.

Obuyimba; buno nabwo bukola mu kwenoonya. Musobola okufunayo akayimba akabanyumira mwembi ne mukayimbira wamu nga bwe mwenoonya.

Ebifo; omubiri gw’omukyala gulina ebifo by’enkizo omusibuka obusimo bw’omukwano wabula buli muntu yakula bubwe, buli omu alina w’ayakira era kino oyinza kukitegeera ggwe omusajja ng’otera okutwala obudde n’onoonya omwagalwawo. Waliwo ebifo ebyenkizo okugeza, wansi w’ebigere, mu kibatu, ku matu, ku nnywanto z’amabeere, ku bisambi ne mu mutwe.

Ennoonya ez’enjawulo obutonde bw’omukazi ku ky’amazzi bufaanananira ddala n’obwensi okugeza waliwo ebifo eby’olutobazi awatakala mazzi, waliwo ebifo ebikalu ng’okufunawo amazzi omala kusima n’okkirira wansi eyo.

Okumanya ekikula kya munno oba alinga lutobazzi okimanyira mu kunoonya.

Bwomanya nti munno amazzi ge gava wala twala akadde ng’omunoonya era bw’oba omunoonya kozesa buli ky’osobola okugeza olulimi, engalo nga kw’ogasse n’okusooka okumuzannyisa wabula tomupapira.

Ate oyo alinga olutobazzi bw’olaba nga gazze tomulwisa nnyo kubanga gy’akoma okugenda mu muudu ate n’amazzi geeyongera ekiyinza oluusi okukaluubiriza nga gakususseeko ate nga tonnayingira.

Ebiseera ebisinga omusajja ye tanoonyezebwa nga mukyala wabula engeri gy’ottamu eddoboozi kimu ku bireetera omusajja okufuna obwagazi ne bw’oba tomukutteeko.

EBISEERA EBITEETAAGA KUNOONYA

Waliwo embeera ezimu abafumbo lwe bayinza okunyumya akaboozi nga tebeenoonyezza.

Okugeza mu ttumbi nga muzuukuse buzuukusi okwenoonya kuyinza obutabaawo kubanga ekiseera ekyo engeri omuntu gy’aba abadde awummudde omubiri gufulumya mangu amazzi.

Ekiseera ekirala abafumbo nga bakola nga bakoowu bayinza obuteenoonya kumala bbanga wabula kino bwe kiba kibaddewo tekyetaaga kukolebwa buli kadde.

Waliwo n’ebiseera omukazi w’abeerera n’obwagazi obungi ng’asudde eggi. Bino omukyala abeera ayaka mangu era tekyetaagisa musajja kutwala budde bungi ng’anoonya.

OKUSOOMOOZEBWA OKULI MU KWENOONYA

Waliwo abasajja abalina amaddu amangi oba oluusi ng’omwami atutte ekiseera ekinene nga teyeegatta. Bano ebiseera bingi okunoonya kubakolera ddala bubi anti batuuka ku ntikko nga bakyali mu kunoonya.

Omukyala bw’olaba omwami ng’agenda kutuuka ku ntikko nga mukyali mu kwenoonya osobola okumuyambako. Kino osobola okukikola ssinga omukoonako katono wansi w’obusajja bwe ku ntula.

Kino kireetera amazzi okusibamu olw’okwekanga kw’afunamu kubanga zino zeekanga olw’obulumi kuba ne bw’oba ozikoonyeeko katono zimuleetara okufunamu obulumi obutonotono.

Ssinga omusajja aba teyeefaako okugeza nga tasala njala okutuusa nga zikutuse asobola okukozza omukyala oluusi n’amuleeta amabwa naddala ssinga agezaako okwagala okumuteekamu engalo mu bukyala.

Kale omukyala olina okufuba okuyonja balo bwe ziba njala n’ozimusala lw’ofunye akadde. Abakyala abamu babiteekamu ensonyi oluusi ne bagaana okuyamba ku baami mu mbeera y’okubalaga we baagala okubakwata.

Bw’oba olina woyagala omwami akukwate teweetaaga kwogera omugambe, wabula kwata mukono gwe ogutwale awo w’oyagala akwate.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....