TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Joel yantwala ebirowoozo ne nneerabira baze okumala essaawa 2!

Joel yantwala ebirowoozo ne nneerabira baze okumala essaawa 2!

By Musasi wa Bukedde

Added 1st March 2018

OMUKAZI bw’atunuulira omusajja n’amumalamu, buli ky’amugamba abeera aseereza ligenda mugga!

Blackcoupleonadate 703x422

Muno mwe tubadde tutalikira nga tunoonya ebifo by’abayizi abaakagenda mu siniya, gye nagwiiridde ku musajja eyaliko muganzi wange nga sinnafumbirwa ewa baze gyendi kati.

Yali ava mu famire ngagga era omulundi gwali gumu lwe twanyumirwa ensitaano y’omukwano n’agenda e Bungereza.

Nnamusanze ku ssomero erimu gye nabadde ηηenze okugula ekifo kya muwala wange eyatandise S1 kuba nabadde mwagaliza erimu ku masomero agasinga obulungi!

Naye yabadde azze ku kintu kye kimu. Bamuyita Joel era olwamulabye ne nsika ekifaananyi olwo nzenna ne nzigwaamu kuba yabadde anyiridde mu ssuuti, ng’aliko akasusu akaalabise ng’akatatera kwakako musana, mu butuufu ng’ali ‘simaati’.

Naye yanzijukidde mangu era olwansemberedde n’ampa haaga nga bw’ampeweeta. Nnawuliriddewo nga ntobye mu mbugo mu butuufu nange ne neewuunya ne kimpitirirako.

Muwala wange namujjukidde luvannyuma nti kirabika nnyinza okuba nga mwesittaza olwo ne ntandika okwekomako.

Olwo ekifo ky’omuyizi kye nnabadde nzize okuvujjirira baabadde bakipaazizza ng’ayali ansabye akakadde ayogeza birimi ng’agamba nti ekikye baakimuwaddemu kamu n’ekitundu n’agamba nti ssinga nzongerako asobola okunfunira omulala anguza ekikye.

Amagezi gaabadde ganneesibye dda era olwabitegeezezza Joel yambuuzizza ezibulako olwo n’atwala butereevu ku mmotoka ye n’azimbalira mu kaasi.

Kino kyannyongedde kukubagana mameema; embeera gye nasemba okubeeramu emyaka nga 8 emabega bwe nnali ngenda okukola ‘yintaviyu’ y’omulimu gwe ndiko kati.

Joel nange namulabye nga mututte omwoyo kuba obwedda tanzigyako liiso.

Yambuuzizza gye ndaga nga nvudde ku ssomero kwe kunsaba mufi ssizeewo essaawa oba eddakiika nga 45 tunyumyemu.

Nnawuliriddewo nga nange nteekwa okumusasula era engeri gye yabadde atandise okutta amaaso, obwongo bwantutte mangu ku nsiitaano ya mukwano! Nga tumalirizza eby’ekifo kya muwala wange nnamulinnyisizza takisi adde awaka olwo ne nzirayo ku ssomero Joel gye yabadde asigadde.

Naye yabadde alagidde muwala we okuddayo awaka kuba yabadde n’olukiiko lwe yabadde agendamu. Twatandikidde ku kya misana mu bitundu by’e Mukono ne tusibira mu wooteeri eri awo mu Seeta.

Engeri Joel gye yabadde yansabbalazza edda, bakira buli w’ankwata nga nzenna njeba buyebi. Yankalakase kumpi okumala essaawa nnamba n’antuusa ne ku ntikko, baze gy’atantuusangako.

Joel naye yabadde musanyufu n’ampaana nti alidde n’okwekomba ne yeekomba. Olaba yatuuse n’okwogera ku mukazi we nti amala kusiitaana okumuggyamu ag’emugga.

Twayawukanye ng’ayagala mukakase nti sijja kumujuza buli lwananeetaaga yadde ndi mufumbo!

Nabadde n’essanyu ku mutima kyokka nga saagala kuliraga nnyo ba waka era neekwese mu kya kufuna kifo kya muwala wange. Okusanyuka Joel kwe yantuusizzaako nabadde saagala kukusaabulula era taata w’abaana naye ku olwo yannyambye obutankoonako mu buliri! Natiddemu okufuna olubuto era namize obuweke bwa ‘emergency’ obukolera mu ssaawa 72.

Embeera eno etera okutuuka ku bantu abaaliko mu mukwano olw’ensonga ez’enjawulo. OMUKUGU AWABUDDE Dan Ddamulira owa Nana counseling services agamba nti embeera y’akaddannyuma esobola okwewalika.

  • Ne ku basajja, omukazi bw’aba yeekuluntaza mu buliri nga buli lwe bamukwatako asooka kwesammula munne oba n’okumuteerawo ennaku lwe balina okwegatta! Abasajja bwe beesanga ng’abaaliko baganzi baabwe baali basingako ku mukazi ali awaka, batera okukemebwa ne bakola akaddanyuma.
  • Abalala bakemebwa ssinga babeera baazaala. Abaana oba omwana wammwe ebiseera ebisinga akozesebwa ng’akamasu ssinga wabaawo ebyetaago nga ffi izi, obujjanjabi n’ebirala.
  • Agamba nti ebitera okukireeta kwe kusigala nga muwuliziganya n’eyaliko muganzi wo oluusi n’obaako n’ebimu ku byetaago by’omusaba oba ye yennyini okukuwanga ebirabo omuli engoye, engatto oba ssente zennyini. Batera kulinda ku nnaku okugeza ku mazaalibwa ge.
  • Abamu kiva ku bufumbo omuntu bw’alimu naddala bw’aba tafuna ssanyu. Okugeza ng’omusajja akuba omukazi, tagula bya waka n’ebirala. Waliwo abakiggya ku butafuna ssanyu lya mu kisenge okugeza ng’omusajja tamutuusa w’ayagala, akuba kaluutu kamu oba okumala ekiseera nga takiika.
  • Ddamulira agamba nti mu mbeera eno omukazi y’ayinza okwefuga n’agaana wabula ku basajja kiba kizibu obutakemebwa kukola kaddanyuma. Mulimu ng’eyali muganzi we y’asobola okumuyamba mu kizibu oba obwetaavu nga bwe gwabadde ku Joel.

EBIZIBU EBIKIRIMU

Ddamulira agamba nti embeera eno eyinza okuvaamu endwadde nga siriimu, n’endala ez’ekikaba kuba abamu engeri gye baba baamanyagana tebatera kukozesa kondomu kyokka nga babeera mu bufumbo ng’akiika eno n’eri.

Akaddanyuma kayinza okuleeta obutabanguko mu maka kuba embeera eno ebeeramu okukukuta naddala ku ssimu oluusi n’okulimba bwe muba baakusisinkana mwesanyuseemu.

Waliwo abafunye ebisago mu kulwana ssinga omwagalwa w’oyo gw’oyingirira mu bufumbo oba mu mukwano akitegeera n’akulinnya akagere

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.