TOP

Obubonero bw’embaluka

By Musasi wa Bukedde

Added 6th March 2018

ENNAKU zino abasajja n’abakazi batawaanyizibwa nnyo obulwadde bw’embaluka. Ekizibu nti bangi ababulina ate balowooza nti balwadde kabootongo. Olw’okuba embaluka tewona, abamu balowooza nti osanga balina siriimu.

Nneetaaga 703x422

Embaluka ekwata ku mutwe gw’obusajja ne ku kikuta ekibikka omutwe gw’obusajja. Ate mu bakazi ekwata mu mbuko, ku mumwa gwa nnabaana n’oluusi awafulumira obubi.

Olw’obutamanya, abantu bangi abalina embaluka nga batambudde mu ddwaaliro era ne bakozesa ne ku ddagala ly’ekinnansi ate oluusi ne babafera naye ng’embaluka teziwona.

Embaluka ozifuna mu bitundu ebyekyama nga ku mutwe gw’obusajja, ku kikutta ekibikka omutwe gw’obusajja, ku busajja kwennyini, okumpi ne w’ofulumira oba awantu awalala wonna.

Ate mu bakazi, bazifuna ku matama, ku balongo, mu bukyala, awafulumira obubi n’awalala.

EMBALUKA OZIFUNA OTYA?

Edith Mukisa omukugu mu kubuulirira abaagalana yagambye nti embaluka bulwadde bwa kikaba era omutnu yenna azirina azifunira mu kwegatta. Teri ngeri ndala gy’osobola kufuna mbaluka nga teweegasse.

Zireetebwa akawuka akayitibwa vayiraasi era abamanyi ebikwata ku buwuka buno, tebuwona.

Okugeza, siriimu aleetebwa vayiraasi era tawoona ne ssennyiga aleetebwa vayiraasi era naaye tawona tujjanjaba bubonero naye nga ssennyiga yeewonya yekka.

OMANYA OTYA NTI OFUNYE EMBALUKA

Ssinga weegatta n’omuntu naye nga waakayita ennaku wakati w’essatu n’omusanvu n’owulira nga bw’ofuuyisa omusulo gukuluma, ng’ofunye obutulututtu nga busiiwa mu bitundu ebyekyama ng’obabuukirirwa ng’ayidde omuliro.

Oluusi ofuna olusujjasujja, ng’omutwe gukuluma, ng’olinga alina ssennyiga oba ng’owulira nnakanyama.

Oyinza okufuna ensanjabavu mu mpataanya okumpi n’ebitundu byekyama era n’amagulu okukuluma.

Obubonero buno busobola okumala ennaku bbiri okutuusa ku 20 ng’oli mu mbeera eno.

Abantu abamu bafuna obubonero buno bwonna, abalala bafunako bumu ate abalala tebafuna kabonero konna naye ng’akawuka kayingidde.

Akawuka kano bwe kamala okuyingira kasirikira mu misuwa oba ‘nerves’ne kaba ng’akataliimu. Naye bwe kasirika obubonero obwo waggulu toba nabwo naye ng’okalina mu mubiri.

Mu bantu abamu ayinza n’okumala emyaka nga tafuna kabonero konna. Mpozzi mu bamu agenda okulaba ng’ate kabaluse era ky’ova olaba bakayita embaluka. Waliyo ebintu ebireetera obulwadde buno okuddamu.

Ssinga omubiri gwo gufuna ekyekango nga bino wammanga;

  • Mpozzi n’abalina akawuka nga balina n’akawuka k’embaluka era bafuna ennyo okubaluka kuno
  • Obukoowu nga buyitiridde
  • Okulwala omwezi mu bakyala
  • Okweraliikirira okuyitiridde.
  • Obulwadde obw’amaanyi ng’omusujja.
  • Okwegatta okw’amaanyi oba okukuluusanya mu bitundu byekyama. Embaluka bw’eddamu ofuna okusiiyirira, okubaluka oba obutulututtu obulinga omuliro, buno bwabika n’ofuna amabwa, amabwa bwe gakala, olwo n’oddayo mu mbeera eya bulijjo Amabwa bwe gawona, olwo ng’embaluka esirika, ng’erinda omubiri bwe gunaafuna ekyekango ng’ate ebaluka.

Waliyo eddagala nga liyamba embaluka nga lino liri mu malwaliro amanene. Ate bubaluka mu kifo kye kimu mpozzi oluusi busiiwa nnyo era otandika kuwulira kikusiiwa mu kifo ekyo we bwasookera ogenda okulaba ng’obutulututtu buzze nga bwabika nga bufuuka amabwa era ng’amabwa gawona gokka. Bwe buddamu okubaluka, olina okukola bino;

  • Olina okukyusa obuwale buli lunaku era tekigaana butayambala kawale ne kiyamba embaluka okuwona amangu.
  • Beera muyonjo era bw’ofuna amabwa koseza amazzi agalimu omunnyo omutono okwewala okufuna endwadde era n’okwambala amabwa okuwona amangu.
  • Toyambala buwale bukukwata, yambala obuwale nga bwa ppamba. Embaluka tekolagana na bbugumu.
  • Teweetakula era tokwata mu mabwa kubanga oyinza okusaasaanya obulwadde mu bitundu byekyama. Era oyinza okwesanga nga buli lw’eddamu okubaluka ekifo kyonna ekimalawo.
  • Genda ew’omusawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...