TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ssenga akuleetedde obubonero kw’olabira nga munno yakukyawa ddaaaaa....

Ssenga akuleetedde obubonero kw’olabira nga munno yakukyawa ddaaaaa....

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2018

Ssenga akuleetedde obubonero kw’olabira nga munno yakukyawa ddaaaaa....

Sen1 703x422

Hatib Mugabe nga bali mu mukwano ne mukyala we, Olivia Nabukiibi. Baasangiddwa mu maka gaabwe e Kawempe. Bagamba nti obufumbo bwabwe baakabumalamu emyaka 10.

OMUKWANO mu kujja gwanguwa naye ate guseebengerera mpolampola okutuusa lwe guggweerawo ddala nga mwekyaye oba nga buli omu akooye munne.

Wadde abantu abasinga essaawa eno yandigenze okubaawo nga baagyetegekera, tebakikola era kibagwako bugwi olw’okulemwa okusoma obubonero oba ebintu abaagalwa baabwe bye bakola okubalaga nti babakyaye era ebimu ku byo bye bino.

1 Bw’aba akola atandika okudda awaka ekikeerezi; Kino munno bw’aba akukooye akikola okukwetamya bw’aba mukazi omugobe agende ate bw’aba musajja omukyala weetamwe ogende.

2.Yeefuula alina eby’okukola ebingi; Omuntu bw’akukoowa eyali alina obudde bwo buggwaawo ng’akulaga buli kiseera w’omwagalira alinako eby’okukola ng’ekigenderwa kye gwe ofuneyo omulala afune we yeekwasiza.

3 Atandika okukuyisaamu amaaso; Abantu abamu bw’aba akooye munne ky’akola kutandika kukola bikolwa bityoboola kitiibwa kye oba ebimuyisaamu amaaso ng’ okukulaga abantu bayinza okuba nti baaganza, okukuvuma mu bantu n’ebirala.

4 Alekera awo okukwanjula mu mikwano gye ng’omwagalwa we; Omukwano bwe gubaawo nga munno akwagala aba akwanjula mu banne ng’omwagalwa we kyokka bwakukoowa akyusa n’atandika okukwanjula nga mukwano gwe oba n’olumu obutakwanjulira ddala.

5 Alekerawo okubuulira ku nteekateeka ze. Omuntu bw’aba akyakwagala afuba okulaba nga akumanyisa by’ategeka okukola naye bwakukoowa aba takyakikola era kino bw’okyegendereza agenda okukugamba nti nkukyaye nga tekikuguddeeko bugwi era tekikuluma nnyo.

6 Akendeeza ku mpuliziganya wakati we naye; Empuliziganya ennungi bye bimu ku bintu ebigumya omukwano era omuntu bw’aba akukooye kyasooka okukola kugimalawo, ng’ eyali akukubira essimu gwe lw’otaakubye we bikoma ate era n’olumu n’atakwata.

7Atandika okukwesamba oba okukubadala mu buliri; Omuntu bw’akukyawa n’obwagazibwo gyali mu nsonga z’okwegatta buggwawo ng’eyali akutunuulira, akukuba mugongo era abamanyi okusoma embeera zino bagenda okubaatulira mu butongole nti babakyaye nga baakitegeera dda.

8.Eby’okutunula mu mmunye abivaako; omuntu bw’aba akwagala aba anyumirwa nnyo entunulayo, nga bwe muba munyumya akutunula mu mmunye kyokka oyo akukooye aba takyakikola nga ne bw’oba onyumya naye atunula bbali.

9. Atandika okukwekulayo obuyisa bwe obubi; Omuntu bw’aba akyakwagala ne bw’aba alina akayisa akabi afuba okukakweka kyokka bw’aba akukooye buli kayisa akaggyayo n’ekigendererwa omwetamwe omuveeko.

10. Atandika okulaga nti takwesiga; omuntu bw’aba akyakwagala akulaga nti akwesiga nnyo ne weekitetaagisa naye bwakukyaya atandiika okulaga nti akubuusabuusa mu buli kimu nga ne bw’oba omubuulira mazima akulaga nti omulimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.