TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ssenga akuleetedde ensobi eziremesa abasajja okuyunga amangu nga bali e Namboole

Ssenga akuleetedde ensobi eziremesa abasajja okuyunga amangu nga bali e Namboole

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2018

Ssenga akuleetedde ensobi eziremesa abasajja okuyunga amangu nga bali e Namboole

Kib2 703x422

“Omwami wange talina maanyi bulungi, yeegatta omulundi gumu ne yeebaka ate nga nze nkyayagala. Sigaanyi musajja mukulu ku nze naye andeka bubi. Alina emyaka 70 ate nze nina 34.” bwatyo Rache Nakasi ow’e Mityana bwe yasindidde ssengaawe ebizibu by’ayitamu mu bufumbo.

Ensangi zino abakyala bangi abayita mu mbeera ng’eya Nakasi. Abasajja bangi bwe batuuka e Namboole bakoma mu safaali emu, ate oluusi nga nayo tewera bulungi. Bano bakazi baabwe babayita ba ssasi limu kuba babalekera ennyonta, era omukazi bw’ataba mugumu yeesanga afunyeeyo ‘Kayanda’ amutuusa bba gy’atasobola kutuuka.

 LWAKI ABASAJJA TEBAYUNGA

Abakazi obutasiima. Omusajja bw’amalamu akagoba, kirungi omukazi n’amuddaabiriza nga bw’amusiima olw’ekyo ky’amutuusizzaako, si nsonga ne bw’aba amazeemu mangu akagoba, bw’omuddaabiriza kyangu okuddamu n’awaga.

Diana Nabbanja abudaabuda abantu mu ddwaaliro lya Nabweru Medical Center yagambye nti omukazi obuteebaza mwagalwa we ye kanaaluzaala w’omusajja obutaddamu safaali yaakubiri. Kino kiri nnyo mu bawala abaakatandika omukwano kubanga akitwala nti okwegatta n’omusajja abeera amuyambye, era omuwala y’aba ate asuubira omusajja okumwebaza.

Okudda ku ssimu. Dr. Mathias Makumbi akolera ku Central Medical Center e Kyengera yagambye nti akaboozi kafugibwa bwongo, era kirungi ne mukozesa ekiseera nga mumaze safaali esooka okweteekateeka okusobola okunyumirwa eyokubiri. Wabula ekyennaku bangi ate obudde buno babukozesa kukebera ssimu, ekitta muudu ne balemwa okuyunga.

Obucaafu n’okukozesa ‘enkumbi’ enkyamu. Samson Lukenge yeemulugunya ku mwagalwa we okukozesa buli ky’asanze mu nnyumba nga mu bino mwe muli amasaati ge ne toyireti ppepa ebikalabula n’okukwatira ku nkasi ate nga tebiyonja bulungi.

Nabbanja yagambye nti obutayonja bulungi munno kimuviirako okwetamwa ekikolwa kino era emikisa gye okuddamu okucamuka gibeera mitono.

Okukaaba ebizibu. Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abantu yagambye nti ssinga okaabira omusajja ebizibu oba okumusaba by’oyagala nga muwummuddemu oluvannyuma lw’okwesanyusa kimutta muudu.

Kino kibaawo kubanga obwongo bwe bufuga obusimu ne sswiki z’omukwano noolwekyo bw’omusindira ebizibu mu kiseera kino kireetera obwongo okulemererwa okuzuukuka.

Mukisa yasabye abaagalana okunoonyaangayo obudde obulala okunyumya ku bizibu by’awaka, ebyetaago, n’ensobi zonna z’oyagala munno atereezeemu.  

 Okukuba munno omugongo. Kino abakazi bakikola olw’obusungu bwe baba nabwo naddala nga munne amulese mu kkubo. Buli lw’okuba munno omugongo kyongera kumuyisa bubi era kimubeerera kizibu okuddamu okucamuka ne bwe yandibadde akyagadde.

  Obutanaaba. Okutuuyana n’obutaba na nkumbi ntuufu bissaawo embeera y’obucaafu.

Ssinga abaagalana tebafaayo kunaabako kizibu okuddamu okucamuka, kuba buli omu aba yeenyinyala munne olw’entuuyo ze baba bafunye olw’ensiitaano y’omukwano.

EBIBAYAMBA OKUDDAMU OKUYUNGA

Mukisa yagambye nti kirungi abaagalana okufaayo okulaba oba nga ddala bannaabwe bakyayagala okugenda mu maaso n’okwegatta ate bwe weesanga ng’okyayagala naye nga munno olaba  takyasobola muleke okusinga okumukaka ekinaamuviirako okwetamwa ekikolwa kino.  Gwe eyeesanze nga munno akulese mu kkubo kola bino;

Okuteesa ku sitayiro empya.

Kozesa akaseera kano nga muwummuddeko okumanya oba munno anyumiddwa  n’omwebuuzaako. Ssinga abeera akyatoma kozesa ekiseera kino munyumye ku sitayiro ne sswiki ezisinga okumucamula.

Kino kikuyamba okumanya sswiiki ze era n’otandika mpola mpola okuzikwatako n’okugezaako sitayiro ezo z’akugambye ezimucamula, ojja kulaba ng’addamu okuwaga, muddemu buto akazannyo.

Okunonya, okubikka n’okubugumya. Tekiba kirungi abaagalana okwekuba omugongo oluvannyuma lw’akazannyo akasooka era Nabbanja abawa amagezi okufaayo ne musigala nga mwekutte oba mutunuuliganye.  Gwe eyalekeddwa mu kkubo kiba kirungi n’obeera ng’onoonya munno nga bw’okwata ku sswiki ze.

Abakyala abawa amagezi okukozesa omukisa gw’ebbugumu ly’emibiri gyabwe okubugumya abaami nga kino bayinza kukikola nga bateeka ebisambi byabwe ku mibiri gy’abaami kuba buli omubiri lwe gufuna ebbugumu kyongeza sipiidi y’omusaayi ekiyamba okusitula n’ebinywa munno n’addamu n’awaga.

Edith Mukisa kuno ayongerako nti ssinga obikka munno ne bulangiti oba amasuuka okusinziira ku bbugumu kimuyamba okubuguma amangu n’obwongo okwanguyirwa okuzuukusa obusimu bw’omukwano olwo omusaayi ne gwongeramu sipiidigye gutambulirako.   

 KYA TTEEKA OKUGENDA SAFAALI ENNYINGI ?

Mukisa yagambye nti ekisinze okuleeta obuzibu bye birango by’eddagala ly’amaanyi g’ekisajja, obutambi n’emboozi abantu mwe beewaanira okugenda safaali ennyingi nga beegatta.

“Si kibi okugenda safaali eziwera bwe muba nga mwembi mukyagala era nga mukisobola, naye temweteeka ku musaalaba nti muteekeddwa okugenda luutu esukka mw’emu. Oluusi eyinza okubeera emu naye nga ya mugaso okusinga ennya nga temuli makulu.”

 OKWEGATTA SAFAALI ENNYINGI SI KWE KUMATIZA

Dr. Makumbi ayongerako nti bangi bakikwata nti okwegatta emirundi egiwera kwe kumatiza munno, ekitali kituufu. Oluusi bwe mugenda luutu ennyingi nga temukkiriziganyizza munno ayinza okuba nga tanyumirwa.

Ne Mukisa yagambye nti okugenda lawundi eziwerako nga weefunuggula tekitegeeza nti olina amaanyi g’ekisajja mangi, kubanga n’azannya emu abeera n’amaanyi g’ekisajja, naye oluusi by’aba ayiseemu mu lunaku bye bimulemesa okuddamu okuyunga.

Ku musajja agenda safaali emu, Mukisa yagambye nti tolina kwenyooma, kasita obeera ng’osobola okunoonya munno n’afuna obwagazi era n’atuuka ne ku ntikko.

 OMUSAJJA BY’OLINA OKUKOLA NGA MUWUMMUDDEMU

Abasajja bangi balina omuze gw’okwefaako bokka. Mukisa yagambye nti mu kiseera kino omusajja alina okusala amagezi okumanya oba nga ne munne amazeemu akagoba. Bw’aba abadde abulamu musalire wamu amagezi musobole okuddamu buli omu asanyuke.

Engeri abasajja gye bakozesa amaanyi amangi mu kazannyo, kiba kirungi n’onaabako okweggyako entuuyo, era n’omubiri ne gufuna amaanyi.

Dr. Makumbi yagambye nti emirundi n’obudde abantu bwe bamala mu luwummula tebuliiko myaka wabula kisinziira ku birowoozo by’omuntu. Ssinga osangibwa ng’obwongo bukooye olw’ebizibu ebitali bimu kijja kuviirako omusajja okulwa ennyo mu luwummula nga n’oluusi ayinza okwesanga nga tazze mu kisaawe.

Ate ye Mukisa agamba nti abavubuka wakati w’emyaka 20 ne 30 be basinga okukozesa oluwummula luno kuba baba bakyalina ku maanyi ate tebalina buvunaanyizibwa buyinza okutaataaganya obwongo okwawukanako n’abakulu abakoowa ku mirimu ssaako ne zi ‘situleesi’ ezitali zimu.

Kyokka Mukisa yagambye nti abantu abakuliridde mu myaka batera okuyungirawo kubanga baba baludde nnyo mu muzannyo guno okwawukanako n’abavubuka ababeera baakayingira nga bakozesa amaddu mangi mu by’omukwano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina

Lip2 220x290

Aba Takis bawuttudde omusirikale...

Aba Takis bawuttudde omusirikale

Mah 220x290

Basajjabalaba awadde ekiragiro...

Basajjabalaba awadde ekiragiro ku bizimbe ebyatwalibwa Muhangi Drake Lubega ne Mansoor Young ne bamwanukula

Po1 220x290

Abatemu bateeze omukazi ne bamutemaatema...

Abatemu bateeze omukazi ne bamutemaatema ne bamutta n'omwana