TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Balaze akabi k’omuwala okufumbirwa nga tannakula mu birowoozo

Balaze akabi k’omuwala okufumbirwa nga tannakula mu birowoozo

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2018

ROSE Mubiru musuubuzi mu Kampala era mukyala mufumbo wa mpeta. Muwala we omukulu, Julie awezezza emyaka 28, era alina omulimu wadde ng’akyasula mu bazadde be.

Af0acccbc47ea8ef0dbe6c1b8e1dd030blackcoupleinloveblacklovecouples 703x422

                                                                                                                                                                                                                                                                                                                                                                                     Gye buvuddeko nnyina yeevuddemu n’amubuuza ddi lw’anaamuleetera omusajja atandike obufumbo, wabula kyamubuuseeko omuwala bwe yamuzzeemu nti, “Kyokka mmami osesa, mu kifo ky’okuηηamba okukuzimbira n’okukugulirayo akamotoka ozze mu bya kufumbira….?” Kino Mubiru kyamukubye wala, era ensonga n’aziyitiramu mikwano gye ku mulimu. Wabula abamu baamugambye muwala we amuteekeko maaso gokka, ate abalala ne bamugamba nti omuwala akyali muto ajja kwetereeza.

MYAKA KI EMITUUFU OKUFUMBIRWA

Annet Kyanjo omutuuze w’e Mpambire ku lw’e Masaka era nga mukugu mu kubudaabuda abaagalana yagambye nti omuwala ku myaka 25 w’asaanira okuyingirira obufumbo kuba abeera akuze ekimala mu mubiri ne mu birowoozo. Era ku myaka egyo tusuubira nti abeera amaze n’okusoma ate ng’acakaddeko ekimala.

“Wadde edda abawala baafumbirwanga ku myaka 14 naye ensangi zino tekisoboka. Era n’emyaka 18 egimanyiddwa nti omuwala abeera yeetuuse, bwe wekkaanya ennyo omuwala ono aba tannasobola kulabirira maka wamu n’okukuza abaana.”

Yagasseeko nti; Edda omulimu gw’omukyala awaka kwabanga kulima na kufumba, era omuwala baamukuzanga bamutendeka okukola bino.

Omusajja ye yavunaanyizibwanga ebirala byonna, era ng’amaka gaddukanyizibwa bulungi.

Wabula ennaku zino mu maka mangi obuvunaanyizibwa bugabanyizibwa wakati w’omukazi n’omusajja.

Omukyala awaka asuubirwamu bingi nnyo era ateekwa okuba n’obusobozi obutetenkanya ennyo okuddukanya amaka.

Y’ensonga lwaki ateekwa okuba ng’akulidde ddala mu mubiri n’ebirowoozo okusobola okwaηηanga okusoomoozebwa okuli mu bufumbo ensangi zino.

Yagambye nti bw’otunuulira obufumbo wakati w’abavubuka ensangi zino, emirundi mingi tebuwangaala kubanga buli omu aba tannatuusa kiseera kituufu okubeera mu bufumbo.

“Abawala abakyali abato ebintu ebitaliimu bibasibya emigugu ne badda ewaabwe, kubanga ebintu oluusi ebitaba bikulu mu bufumbo ate bbo bye baba batwala nga bikulu ddala. Okugeza omuwala ayinza okunoba kuba omusajja tamucakazaako, so nga guno si mulamwa mukulu nnyo mu bufumbo.” Kyanjo bw’agamba.

Yagambye nti abawala abali wakati w’emyaka 22 ne 25, abasinga baba bamalirizza emisomo era abasinga we batandikira omukwano omutuufu ne bannaabwe bwe babadde basoma oba be bakuze nabo.

Mu kiseera kino baba bakuze naye nga tebannakakata bulungi kuba abamu baba bakyanyumirwa okucakala n’okunoonyereza ekiyinza okubabeerera ekizibu okufuuka abazadde.

Bw’obeera wansi w’emyaka 25 , obeera tonneezuula bulungi naddala ku ky’oyagala okukozesa obulamu bwo.

Omuwala ali wakati w’emyaka 25 ne 30, abeera yeetegeera bulungi ng’amanyi kye yeetaaga, era ly’ebbanga ettuufu omuwala we yandibadde atandikiramu obufumbo kubanga abeera asobola okukola okusalawo okutuufu ekimusobozesa okukwataganya obulungi ensonga z’amaka.

OMUSAWO KY’AGAMBA;

Dr. Patrick .T.Kagurusi omusawo w’abakyala okuva mu kitongole kya Amref Health Africa yagambye nti okuyingira obufumbo n’okutuukiriza emirimu gy’obufumbo kyetaaga ng’omubiri gw’omukyala gutuuse ku ddaala ng’amagumba ge manene ekimala okusobola okuzaala omwana.

Amabeere ge gakuze ekimala okusobola okuyonsa omwana n’ebitundu by’omukyala omwana mw’ayita ng’azaalibwa, nabyo nga bisobola okugaziwa okusobozesa omwana okuyitawo.

Ng’oggyeeko ebyo, olina okubeera n’obusobozi bw’okulabirira omwana ng’era alina ebikozesebwa, w’omuteeka ne by’onoomuliisa.

Bwetuba tumaze okwekenneenya bino byonna, omukyala okutuuka ku ddaala lino, abeera atuusizza emyaka nga 25 n’okweyongerayo ng’amaze okusoma, omubiri guba gukuze bulungi, alidde ekimala ng’alina n’omusaayi ogumala.

Omukyala ali wakati w’emyaka 30 ne 35, Kyanjo yagambye nti ebiseera ebisinga abeera ateredde bulungi ku mulimu gw’akola oba nga ne ssente azirina era nga takyalowooza ku bya kuganzaganza.

Ow’ekika kino abeera alindiridde muntu akuze mu birowoozo gw’ayinza okubeera naye mu nsonga z’omukwano.

Omuntu atandika amaka mu myaka gino, abeera yeemanyi bulungi ne by’ayagala mu mwagalwa we era okunoonyereza kulaga nti mu myaka gino, kibeera kyangu okufuniramu omuntu asobola okukubeererawo obulamu bwo bwonna ate nga bwe mukola emirimu gyammwe era n’emikisa gy’okunoba giba mitono ddala.

Abali wakati w’emyaka 35 ne 40 n’okweyongerayo bano oluusi baba bayise mu bingi era abamu baba bamanyidde obulamu bwabwe bwe balimu ng’ayinza okukaluubirizibwa okubuteekamu omuntu omulala.

Dr. Kagurusi yagambye nti omukyala okufumbirirwa wakati w’emyaka 35 ne 40, bwe buba nga bwe bufumbo bwe obusooka, bw’ayinza okukomako mu bulamu bwe kuba abeera akuze. Era kino bangi baba bakirindiridde okumala ebbanga ddene.

Dr. Kagurusi annyonnyola nti tolina kweraliikirira nti obudde bw’okufumbirwa bukuyitako kuba kati ssaayansi w’atuuse, n’abemyaka 60 basobola okuzaala.

Wabula okunoonyereza kulaga nti abakyala bangi bwe baweza emyaka 45, bakoma okugenda mu nsonga, ekitegeeza nti omubiri gwe obusobozi bw’okufuna olubuto n’okululera buba bukendeera kubanga omubisi gw’omubiri guba gukendeera.

Mu mbeera eno, obuvunaanyizibwa bw’amaka n’okuzaala oyinza obutabituukiriza bulungi obufumbo ne bukukaluubirira.

Bw’okaddiwa n’omubiri gugenda gukoowa, bwe kisanga nga mwembi muli bakadde, emikisa gy’okuzaala omwana aliko obulemu gibeera waggulu kubanga mu myaka gino omubiri guba tegukyalina busobozi bweddaabiriza bulungi.

OKUFUMBIRWA Y’ENKOMERERO YA BYONNA

Kituufu abakyala abamu abatafunye mukisa gwa kufumbirwa oluusi beerowoozaako ng’abaliko ekikyamu.

Naye mu kyasa kino, obufumbo kye kipimo ky’omukazi mu bulamu bw’ensi eno? Kyanjo agamba nti obufumbo kiba kirabo okuva eri Katonda, okuviira ddala mu lusuku Edeni.

Wabula si tteeka nti buli mukazi ateekeddwa okufumbirwa Waliwo ebintu bingi ebirungi ebikolebwa abakyala ne bwe bataba bafumbo, noolwekyo oluusi tekiba kya bwenkanya abazadde okutunuulira obubi bawala baabwe olw’okuba tebannafuna basajja babatwala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA