TOP

Omukazi anzibyeko omwana wange

By Musasi wa Bukedde

Added 24th March 2018

ABAKAZI ennaku zino balabika baafuuka basuubuzi kubanga ne bw’ogezaako okumulaga essanyu asigala akulaba nga eyamutomeza. Nze Kenneth Lubega, nnina emyaka 40, mbeera Nsangi era gye nkolera emirimu gyange egy’obusuubuzi.

United 703x422

Twalabagana ne mukyala wange ono mu saluuni ya mukwano gwange gye nnali ηηenze okusala enviiri.

Wadde yasooka kugaana naye oluvannyuma yakkiriza ne tutandika okwagalana. Waayita emyezi esatu ne tutandika okubeera ffena ng’abafumbo.

Twagenda mu maaso n’omukwano gwaffe ne tuzaala n’omwana waffe eyasooka. Wano we nagendera ne mu bazadde be e Butambala ne neeyanjula era ne bansiima.

Wabula bwe yamala okuzaala omwana owookubiri, yatandika okwecanga nga buli kye mugamba anziramu nga bw’ayagala nga n’emboozi yakendeera.

Lumu namusanga taliiwo awaka kwe kumukubira essimu n’antegeeza nga bwe yatandise okukola era yabadde teyeetaaga kuηηamba kuba sirina makulu gyali.

Bwe yakomawo ne munnenyako, yayomba n’akeesa obudde era bwe bwakya n’akwatamu ebibye n’agenda n’andekera abaana babiri ng’omuto wa myezi mukaaga.

Bwe yamala okugenda, nalowooza nti osanga omutima gw’abaana gunaamuluma n’akomawo kuba baali bakyali bato naye teyakomawo.

Nagenda e Nateete gye yali akolera mu wooteeri ne mwegayirira era n’aηηamba mwesonyiwe mpozzi ng’ayagala abatwale abasadaake kubanga takirinaamu buzibu n’azaala abalala.

Kati ekisinze okunneeraliikiriza ye mukazi ono eyakomyewo n’abba omwana wange abadde asinga obuto era kati guweze omwezi mulamba bukya amutwala siddangamu kumulaba ng’ate omukazi yali mumalirivu okusaddaaka omwana wange kuba yakyogera.

Kyokka bazadde be bwe mbagamba tewali afaayo ekitegeeza nti nabo balabika balina kye bamanyi.

Wano we nsabira abasomi ba Bukedde okumpa ku magezi kubanga gannesibye ate nga n’omutima gw’omwana wange gwe mbadde nkuzizza gunnuma kuba simanyi oba mulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...