TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ensonga lwaki abasajja abamu batya okukwana

Ensonga lwaki abasajja abamu batya okukwana

By Musasi wa Bukedde

Added 29th March 2018

EBISEERA bino abasajja tebakyayagala kukwana olw’ensonga ez’enjawulo. Ne kansala Yasin Ssewankabo omukugu mu nsonga z’amaka ku Namasuba College of Commerce akkiriziganya na kino era agamba nti zino ze zimu ku nsonga ezireeta embeera eno.

Howwed1b6e3c6f104611da3700531f4217e621465424790 703x422

OKUTYA OKUBAGAANA

Abasajja abamu batya okukwana kuba baba tebamanyi nti omukazi gw’agenda okukwana agenda kumukkiriza awo nalaba ng’obudde bw’agenda okumala wamu ne ssente z’agenda okusaasaanya bigenda kumufa busa n’asalawo yeesonyiwe eby’okukwana.

OBUTABA NA BUDDE

Abasajja abasinga tebakyalina budde bwakukwana, kuba okukwana kwetagga obudde naddala ebintu by’obeera olina okukola. Ennaku zino abasajja obudde babumalira nnyo mu mirimu olwebyetaago ebingi bye baba nabyo ne kibaleetera okuba nga tebalina budde bukwana.

OBWAVU

Abasajja abamu bakimanyi nti okukwana omukazi n’akukkiriza oba olina okubeera ne ssente, kati batya okukwana kuba omukyala gwabeera agenda okukwana aba alina ebyetaago ate nga n’omuvubuka aba alina by’alina okumaliriza. N’abakazi ennaku zino balina enjogera egamba nti atalina ssente tafumita kidaazi.

OKULABA FIRIMU Z’OBUSEEGU

Ennaku zino abavubuka oba abasajja abasinga abatannawasa banyumirwa nnyo okulaba fi rimu z’obuseegu. Oluusi fi rimu zino zikola ekyo omukazi kye yandimukoledde era agenda akimanyiira ekituuka n’okutta obusiiwa bw’omukwano, eby’okukwana ne babyesonyiwa ne basalawo okubeera nga beerabira bufi rimu bwabwe.

OBUKODO

Abasajja ennaku zino bakodo era buli kintu ayagala kukikozesa yekka. Abamu batuuka n’okugamba nti tebawasa oba tebakwana kubanga abakyala balya nnyo. Kati ono aba alaba bw’anaakwana omuwala ajja kugabana ku bintu bye awaka.

OBUKOOWU

Omuyimbi Matthias Walukagga yayimba nti abantu bakoowo naye n’abasajja b’ennaku zino baakoowa abawala okubassa ku bunkenke ne basalawo okwesonyiwa okukwana kuba aba tamanyi nti obudde bwamaze omuwala ajja kumala amukkirize

OKUSUUBIRA KW’ABAKAZI OKUVA MU BASAJJA KIBATIISA OKUKWANA

Engeri abasajja abasinga gye bakozesa ssente okukwana kati buli muwala abeera asuubira nti buli musajja anaamutuukirira alina okubeera ne ssente. Kino kitiisa abasajja abatalina ssente okkwana abakyala kuba bamanyi omukazi abeera alina kyakusuubiramu nga otandise okumukwana.

ABAKAZI OKWENYIGIRA MU KUKOLA

Abakyala ennaku zino bafuddeyo nnyo okwekolera era balina ku ssente, kino kitiisa abasajja okubakwana kuba baba bamanyi nti bagenda kubanyooma oba okubayisaamu amaaso.

OKUTYA OBUVUNAANYIZIBWA

Abasajja ennaku zino batya okukwana abawala kuba batya obuvunaanyizibwa. Baba bakimanyi nti bw’akwana omuwala buli kimu yabeera alina okukimutuusaako ne famire y’ewaabwe ekimutiisa n’asalawo okubeererawo.

BAGULA BAMALAAYA

Omusajja bw’amayiira okugula bamalaaya ku kkubo kimubeerera kizibu okukwana omuwala. Abasajja bangi bagamba nti bamalaaya tebabassa ku bunkeke nga babasaba ebintu, tebabalondoola ate mbu si ba bbeeyi ng’abawala

OKUTYA OBULWADDE

Ennaku zino endwadde z’ekikaba omuli ne siriimu zisusse obungi era abasajja nabo batya okukwana abawala nga basuubira nti balina endwadde olw’obwenzi obususse ensangi zino.

ABAMU TEBAAKA

Endya y’abantu ennaku zino evuddeko abavubuka bangi obutamalaako oba okuba n’omuliro omutono. Abasajja abamu baba batya okukwana kubanga abawala bajja kulaba embeere eno ky’ava asalawo okubeera yekka.

OBWERUFU:

Ebizibu ebiri mu kukwana ng’okubeera omwerufu kuba abasajja tebaagala kwogera buli kimu ekibakatako eri baganzi baabwe.

Bano basanga obuzibu nga bakwana kuba abawala baba baagala okumanya buli kimu ekikwata ku musajja oyo amukwanye, ne kiwa omusajja obuzibu ng’ akwana kuba abeera alina by’atasobola kumubuulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola1 220x290

Ab’e Kawempe balaajanidde KCCA...

ABATUUZE b’e Kawempe basabye ekitongole kya KCCA okukola ku nguudo ezirimu ebinnya ze bagamba nti zifuuse mpuku...

Han1 220x290

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye...

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye ne bamussaako obukwakkulizo

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.