TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja yanfunyisa olubuto n’awasaamu mulala

Omusajja yanfunyisa olubuto n’awasaamu mulala

By Musasi wa Bukedde

Added 30th March 2018

NZE Joan Namata, nnina emyaka 22 nga mbeera Namuwongo. Gye buvuddeko nafuna omusajja bwe twayagalana okukkakkana ng’anfunyisizza olubuto.

United 703x422

Omusajja ono nabeerako naye okumala omwaka gumu naye oluvannyuma ne twawukana nga simutegeera bulungi anti ng’olumu andaga nti tussa kimu ate oluvannyuma n’akola birala.

Lumu twateesa tusonde ssente waakiri tugule poloti tuzimbe tuwone obupangisa era nakkiriza kyokka yadda mu kucakala na bakazi balala nga ne bye twateesezza tabiriiko.

Yatandika obutatuukiriza buvunaanyizibwa bwe mu maka nga takyampa byetaago anti nga ssente azimalira mu bakyala balala.

Obuzibu obwamaanyi nnasinga kubufuna nga mmutegeezezza nti nfunye olubuto lwe era wano we yatabukira n’atandika okuyomba n’awatali nsonga nga kuno kwossa obucaafu bwe yalina nga bwe mmugambako ng’ankuba n’ansambasamba.

Kino yalaba tekimumalidde n’akwata ebintu byange byonna n’abikasuka wabweru ng’agamba nti ankooye mu nju ye.

Ekinnuma kwe kuba nti yangoba n’olubuto lwe ate mpulira nti yawasa omukazi omulala.

Ndi wano sirina buyambi nze mpulira n’olubuto njagala kulujjamu lwakuba ate nfunamu n’ekirowoozo nti oba ndulekemu omwana wange gwe nnazaala edda ow’emyaka ebiri afune muto we gw’azannya naye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye