Abasinga basituka n’olwoya ku mubiri ne babeera ng’abayiseemu empewo. Olwo ebbakuli ye nneetoberera okwetegekera enkasi nnyaabula!
Era ssinga kakutanda omukazi gw’otuusizza ku ssa lino ate n’omukuba ‘sorry’ n’otomuwa kaboozi ssaawa eyo, oba okumunyiga okutuusa lw’amalamu akagoba, eyakwalula ggwe omusajja eba esiridde. Be basajja b’owulira nga omukazi yamulumye nga bali ku kabaga.
Kubanga oba omutankudde, ate nga tayinza kuweera nga tamaze kumalamu kagoba. Waakiri okuyitira ew’omusajja gwe yayagalako edda amale ekizibu kye.
Noolwekyo eyo ebbali gye muzza abakazi be mukwanye ne mubanyiga mufube okulaba nga mubaweweereza ddala.
Bino byafulumidde mu katabo ka The Journal of Sexual Medicine (2014). Era mu katabo kano abakugu bawa amagezi nti bino byonna okubaawo abasajja bateekwa okwawula wakati w’okukwata ku bifo bino nga obiweeweeta n’okubitogaatoga. Bw’obitogaatoga omukazi tajja kufuna bwagazi obwo.
Akatabo kano era kaalaze nti bw’oba toyagala kutuusa mukazi mu ggiya ya kwegatta essaawa eyo, olwo oyinza okumuweeweeta mu bifo nga ensingo, okumukwata ku mukono oba okunyigaanyigako engalo ze.
Bino byo bitumbula laavu y’omukazi n’ayongera okuwulira nga omulaze laavu naye tebimutuusa ku ssa liri eryagala okugenda mweyokye essaawa eyo.
Wabula era abakugu baazudde ng’okukwata omukazi ku migo gy’ebbakuli kimussa obusungu ne bw’aba yali akwepankirako, n’akkakkana.
Abasajja bangi kye bava balwana okuyisa engalo zaabwe mu mpale z’abakazi waakiri bakwateko wali yadde baba tebafunye kaboozi.