TOP

Omukyala ayagala kunoba

By Musasi wa Bukedde

Added 11th April 2018

Tulina abaana bataano n’omukyala wange naye kati mu kiseera eky’okutereeza obufumbo, mukyala wange ayagala kusiba agende.

Ssenga1 703x422

Ekimusibya nze ndaba nga kitono ddala agamba nti simuwa kitiibwa naye tambuulira kituufu. Nze ndowooza nti alaba abaana be bakuze ayagala kugenda. Mpulira abaana baamuzimbira ennyumba. Nkoze ntya? Mukyala wange mmwagala.

Kituufu omukyala omwagala naye abakyala bangi, abaana bwe bakula nga batandika okulowooza okunoba anti abamu ekibabeeza mu maka baana.

Kati omukyala oyo bw’amala okukuza abaana, ayinza okuba ng’ekirowoozo eky’okunoba yakirina okuva edda naye ng’akimanyi ddi lw’agenda okunoba.

Oba ddala abaana baamuzimbira ennyumba, ekyo nakyo kibeerawo naddala ennaku zino. Abaana bangi baawula amaka era gwe ng’omuzadde ssinga tosalawo mangu, weesanga ng’okoze ensobi.

Gezeeko okuzza omukyala ono. Oba alina bakyala banne nga bakulu abasobola okumubuulira batuukirire, basobole okwogerako naye.

Oyinza n’okwogera n’abakulu b’amaddiini ne bakuyamba ku nsonga eno kubanga mu butuufu nga muwangalidde mu bufumbo ate siraba lwaki mwawukana. Bwe muyiseemu bingi era ekiseera kyakukuumagana.

Weebuuze ddala tomuwa kitiibwa oba yeekwasa? N’ekirala abaana oba ddala basigudde nnyaabwe, tobateekako busungu kubanga si bulungi.

Naye kye ndowooza omukyala ono bw’aba ng’akukyaaye wandimwesonyiye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA