TOP

Omusajja namukoowa lwa bukodo

By Musasi wa Bukedde

Added 12th April 2018

NZE Catherine Nyabulu 21, mbeera Kasokoso. Nafuna omwami gwe nnayagala okuzaama naye kyambuukako bwe yatandika okukyusa embeera.

United1 703x422

Nabeera n’omwami wange ono nga tubeera Tooro gye twali tupangisa omuzigo gwaffe muno nga mwe tuliira obulamu.

Namala ne baze emyaka etaano ne muzaalira n’omwana nga kati wa myaka ena.

Baze bwe twali tukkaanya era nga twesuubiza ebintu eby’enjawulo ate yakyuka.

Yatandika okuyombanga okwa buli kiseera n’obutagula bintu bya waka ate nga ssente azirina.

Obutayagala kumpa bikozesebwa kyampisizza ddala bubi kubanga y’emu ku nsonga ezantabulira ddala ne ntuuka n’okumuviira.

Olunaku lwe nava ewuwe, twakeera kufunamu obutakkaanya ng’obuzibu buva ku kugaana kundekerawo ssente za kugula mmere ate nga nange nnali sikola.

Wano omwami ono olw’ensonyi ennyingi ye yakwatibwa busungu ng’atandika kunkuba.

Awo nange we nnasibiramu ebyange ne nkwata n’omwana wange ne muviira.

Kati omwana atuusizza okusoma naye tampa buyambi wadde fi izi z’omwana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako