TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Essimu etuuse okuntabula ne mukyala wange

Essimu etuuse okuntabula ne mukyala wange

By Musasi wa Bukedde

Added 12th April 2018

NNINA obuzibu ne mukazi wange. Obuzibu buno buva ku ssimu ze bamukubira buli kiro n’obubaka bwe bamusindikira. Kino simanyi kyakukikolera naye nga kimazzeeko emirembe. Ssenga nnyamba.

Ssenga1 703x422

ESSIMU zireese obuzibu mu maka mangi ennaku zino. Era amagezi ge tuwa abafumbo kwe kwesonyiwa essimu kubanga oluusi zivaako obuzibu mu maka ne gasasika.

Newakubadde abasinga baagala okumanya ebifa ku ssimu naye omuntu asobola okwenda naye nga ku ssimu tolina ky’olaba.

N’ekirala si buli ky’olaba ku ssimu kitegeeza kwenda. Kati ogambye nti essimu z’afuna naye weebuuze bwe bamukubira yeeyisa atya? Kubanga tosobola okugaana basajja bakwana mukyala wo.

Wabula bwe bamukwana yeeyisa atya? Bwe bakuba essimu avaawo oba asigalawo ng’ayogera okumala ekiseera?

Alina naye essimu zaakuba n’amala ekiseera ng’ayogera? Obubaka bwe bamusindikira bulinga bw’addamu oba naye tabufaako.

N’ekirala oba ddala tayagala basajja abo abamukwana, wakimugambako? Kubanga ennaku zino kumpi buli ssimu osobola okugaana okukuba essimu ng’omuntu oyo toyagala kumuwuliza.

Naye ate bw’ogenda mu maaso n’omuwuliza kiraga nti omwagala. N’ekirala empisa z’omukyala ono ziri zitya?

Alaga nga takuliiko ng’asinga kufa ku ssimu ezimukubirwa oba by’akola tebikusanyusa ku ssimu mmugambeko. Tosirika busirisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fire1 220x290

Obubenje bwatuze 32 mu wiikendi...

OMUWENDO gw’abantu abaafi­iridde mu bubenje obwaguddewo ku Ssande gulinnye nga baweze 32.

Aniteweb 220x290

Bamafia baagala kunzita - Anite...

MINISTA omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite avuddeyo n’alaajana ku bamafia abaagala okumutta,...

Isabirye1 220x290

Mzee Kifansalira owa NRM bamugoba...

KAKUYEGE wa NRM mu Bwaise, Isabirye Musa amanyiddwa nga “Kifansalira” asula ku tebuukye olwa landiroodi we okumulaalika...

Urawebnew 220x290

URA emalidde mu kyakutaano mu za...

URA FC ewangudde Wakiso Giants mu mpaka za Pilsner Super 8

Mustafi000 220x290

Mustafi wa Arsenal agenda

Roma eya Yitale, ye yagala okumuggya mu Arsenal