TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Gwe nnali nsibiddeko olukoba yafuuka muyaaye

Gwe nnali nsibiddeko olukoba yafuuka muyaaye

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2018

NZE Dennis Mawanda, mbeera Busimbi- Mityana nga nnina emyaka 21.

Twala 703x422

Natuuka nga nfuna omuwala nga twagalana era mu biseera bye nnamwagalirako, nnalina omuzigo we mpangisa nga ye abeera ne bazadde be newankubadde yali awezezza emyaka 18 naye yali akyasoma.

Omuwala ono twayagalana okumala akabanga naye nga ne bazadde be twakibakweka.

Wabula mu kwesanyusa n’omuwala ono kubanga yali atera okunkyalirako, wano we yafunira olubuto.

Bwe yafuna olubuto, yajja ewange n’annyinnyonnyola ku nsonga ezo naye n’ansaba olubuto tuluggyemu olw’ensonga nti yali tayagala kunyiiza bazadde be ate nga nange tayagala bansibe engeri gye yali nti akyasoma.

Bwe nakitunulamu ate nga naye kye yali ayagala, ne nzikiriziganya naye. Nze n’omuwala ono twali twateesa nti bw’anaamaliriza okusoma nga tufumbiriganwa wabula kyanzigwaako omuwala ono bwe yatandika okukyusa embeera ze.

Oluvannyuma lw’okumaliriza eby’okusoma, nga waakayitawo emyaka ebiri, omuwala ono yatandika okunneewala mpolampola n’okutandika okugenda mu bifo ebisanyukirwamu nga kiraabu n’abasajja abalala ekintu ekyanneeraliikiriza kyokka nga nze nnali mpulira mmwagala.

Olw’okuba nti mu mutima nnali nsibidde ku ye nga ne bye nkola muteekamu kuba twali twesuubizza n’okufumbiriganwa, kino kyannuma era sisuubira nti ndimwerabira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20181214at173512 220x290

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza...

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza abawagizi baayo mu kisaawe e Namboole omupiira gye guyindidde!

Mosesmakoyaniowakibogakuddyongattunkaneambrosenaturindaowantinda 220x290

Kiboga ewaga mu Big League

TTIIMU ya Kiboga FC eyaakesogga Big League eremedde ku Proline FC okugisuuza entikko y’ekibinja kya Rwenzori ekitaddewo...

Hib1 220x290

Omulamuzi atabukidde abakakiiko...

Omulamuzi atabukidde abakakiiko k'ebyettaka e Lwengo

Reb2 220x290

Maneja w’ebbaala ya Casablanca...

Maneja w’ebbaala ya Casablanca asindikiddwa ku limanda

Deb1 220x290

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa...

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa