TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Enkola ya famire eteeka abaagalana ku bunkenke

Enkola ya famire eteeka abaagalana ku bunkenke

By Musasi wa Bukedde

Added 17th April 2018

Enkola ya famire eteeka abaagalana ku bunkenke

Hub2 703x422

“...MUKWANO, bambi, ddadi, teweerabira....” Eyo y’emu ku ngeri abakazi gye bajjukizaamu abaagalwa baabwe nga beesanyusaamu naddala ng’omukazi talina nkola ya kizaalaggumba gy’akozesa ate nga teyeekakasa oba taafune lubuto.

Ekizibu nti mu kiseera ekyo wadde omusajja ebigambo ebyo aba abiwulira era nga n’oluusi baasoose kukkaanya, batono ababissa mu nkola mu butuufu bwabyo olw’okunyumirwa okubaawo mu kikolwa ky’ababiri naddala mu kiseera omusajja w’amaliramu akagoba. Wano abakazi abamu bwe bawulira ng’omusajja aleeta, basalawo okubasindika babaveeko baleme okubafunyisa olubuto wadde oluusi kiyinza okunyiiza omusajja ne bafuna obutakkaanya.

Oluusi ekivaamu ye mukazi okufuna olubuto lw’ateetegekeddekiyinza n’okukosa obufumbo n’omukwano gwabwe. Ruth Nalumu ow’e Mukono yagambye nti okuva lwe yafuna olubuto nga bbebi we wa mwezi esatu, enkola eno yagiviirako ddala. “Mu kusooka eby’okumira empeke z’ekizaalaggumba nali sibyagala ate nga n’empiso nzitya.

Twateesa ne taata w’abaana n’akkiriza okumaliranga ebbali era mu kusooka kyatukolera bulungi, era omwana waffe asooka twamuzaala tweyagalidde. Wabula tuba tetunnatuusa kwagala kumuzzaako, laba ate bwe nfuna olubuto! Kino kyava ku taata w’abaana okumugamba aleme kumalira munda mu bukyala naye ekiseera bwe kyatuuka n’alemererwa okuvaayo, era kw’olwo lwe nafuna olubuto. Bwe namala okuzaala ne nsalawo okutandika okukozesa akaweta nga sijja kubisobola.” Abaagalana bangi enkola eno bagikozesa oba baali bagikozesezzaako.

 

Mu nkola eno, omusajja abeera alina okufuluma mu bukyala ng’atuuse okumalamu akagoba. Etera kukozesebwa naddala abo abatayagala nkola za kizaalaggumba endala. EKOZESEBWA ETYA Okusobola okugituukiriza obulungi abaagalana bateekwa okuba nga bakkiriziganyizza.

Ssinga omusajja asalawo okugikozesa nga tasoose kukkaanya na munne, omukazi ayinza okumulemesa okuvaayo ng’ekiseera kituuse. Omusajja ateekwa okuva mu bukyala mu kiseera ng’awulira amazzi g’ekisajja gatandise okutambula. Obuzibu abamu balinda ne batuukira ddala okufuluma olwo n’alyoka ajjukira okuvaayo, nga n’oluusi obuddebuyise, okukkakkana ng’amalidde munda mu bukyala.

ENSOBI EZIKOLEBWA Dr. Vincent Kafuuzi Karuhanga yagambye nti enkola eno erina kukozesebwa ku mulundi ogusooka gwokka naye abaagalana bwe baba baagala okugikozesa ne ku mulundi oguddako omusajja alina okusooka okufulumya enkwaso eziba zisigaddeyo. Kino akikola ng’asooka n’afuuyisa omusulo n’alyoka atereeza ekkubo okumalamu amazzi gonna agayinza okuba nga galegamye.

Abasajja abalina amaddu tebagisobola kuba bamalamu mangu akagoba, enkwanso ziyinza okubaddukako ate tebanyumirwa kuba tebatwala budde kuwuliriza bannaabwe. Abasajja abasinga bateeka enkwaso ku mumwa gw’obukyala ne beerabira nti enkwaso zikulukuta ate buli lwe zikulukuta ziggukira mu bukyala.

Eno y’ensonga omusajja bw’oba osobola, funa enkumbi mw’oba omalira so si ku mabbali g’obukyala. Abantu abalwawo okwegatta tebalina kukozesa nkola eno kuba babeera balina amaddu mangi, esaana bafumbo kubaga baba beeraba buli kiseera era n’amaddu tegatera kuba mangi nnyo.

Si kirungi kugikozesa nga mutamidde, kuba kyangu okwerabira okukkakkana ng’omukazi afunye olubuto lw’ateetegekedde. Abaakatandika ebyokwegatta nabo tekiba kirungi okukozesa enkola eno kuba tebaba na bumanyirivu era kiba kyangu okufuna olubuto. Ku basajja abamalamu amangu akagoba enkola eno eyinza obutabakolera kuba kiba kizibu okugera ekiseera ekituufu w’afulumira mu bukyala, era emikisa giba mingi okufuluma ng’ate yamazeemu dda akagoba. Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana yagambye nti abaagalana balina okwegender       

Enkola y’okukoma mu kkubo tetugirinaamu buzibu     “NZE Ian Tugaineyo, mbeera Mbuya. Okuva lwe nafuna muganzi wange twasalawo okukozesa enkola y’okumalira ebbali munnange aleme kufuna lubuto kuba tetunnatuusa kuzaala. Mu kusooka nnali njagala tukozese kkondomu, wabula nga tazaagala ate nga tayagala kutandika ku nkola ya kizaalaggumba yonna nga tannazaala.

Ekirungi enkola eno tetunnagifunamu buzibu lwakuba yeetaaga obugumiikiriza obw’amaanyi. Bw’ogikozesa eby’amaddu osooka kubiss aku bbali ate oteekwa okuba ng’omubiri gwo ogumanyi bulungi, okwewala okugikoleramu ensobi.

Nze neemanyi bulungi era enkwaso ntera okuziwulira ku mugongo nga zijja, olwo ne nvaamu mangu. Jjukira nti omusajja bw’aba anaatera okumalamu akagoba ne yeekanga, amazzi gaddayo oba ne gajja matono, naye bw’osigalayo munda gonna gajja. Obuzibu bwe ndaba mu nkola eno nti bw’omalira ebweru olwawo okuddamu okuyunga, ate ggwe ng’omusajja tonyumirwa kuba essanyu lyaffe lijjira mu kiseera w’omaliramu akagoba,” bwatyo bw’anyumya. 

    eza ennyo nga beenoonya kuba n’amazzi agasooka ng’omusajja tannamalamu kagoba gabeeramu enkwaso ezisobola okufunyisa omukazi olubuto wadde nga tebeegasse naye ebitundu kasita byekoonako.

Omuvubuka omuto ayinza okulemererwa okwepima n’aggyamu kuba bamalamu mangu akagoba, ate ako kabeera kaseera kazibu nnyo kuba n’obwongo essaawa eyo kyatondebwa nga balina kumalira munda n’obwongo gye bubeera bulowooza.

Ekizibu abamu basanga obuzibu okumalira ewala n’omukazi waali, ate ng’enkwaso zikulukuta ne bwe ziba ku ssuuka omukazi zisobola okumugenda mu bukyala nga tategedde n’afuna olubuto ekiyinza okuvaako enkaayana wakati w’abaagalana kuba omusajja abeera amanyi nti yamalira bbali so nga zaakulukuta ne zituuka mu bukyala.

Y’ensonga lwaki abasawo tebagikubiriza ku bantu abatali bafumbo naddala abavubuka, kuba ebigendererwa by’abavubuka mu kaboozi bibeera bya kumala so si kunyumirwa ate nga ne bw’amala asigala akyayagala, eno esaana abalina obugumiikiriza. Ekirala, enkola eno tetangira kawuka ka siriimu oba endwadde z’ekikaba endala era abagikozesa balina okubeera nga buli omu yeekakasa munne ne beewala okusaasaanya obulwadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA