TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Leero Ssenga wa Bukedde akuleetedde amateeka agafuga ekitanda ky'abafumbo

Leero Ssenga wa Bukedde akuleetedde amateeka agafuga ekitanda ky'abafumbo

By Musasi wa Bukedde

Added 24th April 2018

Leero Ssenga wa Bukedde akuleetedde amateeka agafuga ekitanda ky'abafumbo

Kub2 703x422

Najjuuko ng’ayala obuliri. Agamba nti guno mulimu gwa mukyala w’awaka era tateekeddwa kugusigira muntu mulala.

“OKUFUMBIRIGANWA kwa kitiibwa eri bonna, n’ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango…” Abaebbulaniya 13:4. Bwe kityo Ekitabo Ekitukuvu Bayibuli bw’ekikkaatiriza ku bukulu bw’obufumbo n’ekitanda ky’abafumbo. Ekitanda y’entabiro y’essanyu wakati w’abafumbo mu maka.

Kino kitegeeza nti kisaanidde okufuna endabirira ey’enjawulo olwo kisobole okuleetera ababiri okukinyumirwa n’okukyesunga buli kadde. Olw’okuba ekitanda kikulu, bajjajjaffe baakimanya era nebakiteekako amaanyi omuli, endabirira ey’enjawulo, amateeka g’okukyebakamu wamu n’enteekateeka yaakyo mu kisenge.

Bino byonna byagendererwamu okuggumiza n’okulaga abafumbo obukulu bwakyo basobole okukiteekako ennyo essira kibayambe okukuuma amaka nga gatebenkedde. Naluggya Tomusange omukugu mu kuluηηamya annyonyola bwati emisoso ku kitanda ky’abafumbo;

Kirina kutunula buvanjuba.

Mu nteekateeka gye tugoberera okuva ku bajjajja ekitanda kirina kutunula buvanjuba. Kino kyangu okumanya kubanga ennyumba ezisinga zaazimbibwanga na pulaani eno. Ekyakozesanga kino kwe kusobozesa omusana okwaka mu nnyumba obutereevu n’okuleeta ekitangaala mu nnyumba ne bwe buba bwa kiro ng’omwezi gwe gwaka.

 ajjuuko ngamaze okwala obuliri bwe ataddeko nakamuli okwongera okusikiriza amaaso Najjuuko ng’amaze okwala obuliri bwe ataddeko n’akamuli okwongera okusikiriza amaaso.

 

Olwo no baalinanga n’okugereesa nti bw’okiteekamuobukyamu ne weebaka emirannamiro tosisimuka. Edda ekitanda kyateekebwangako “olunna”. Kuno omukyala kwe yateekanga ebikozesebwa by’akozesa mu kisenge. Ennaku zino ‘olunna’ lwasikizibwa dduloowa z’oku kitanda. Ekitanda kyo bwe kitabaako dduloowa olina okutetenkanya ng’omukyala okulaba nti ebikozesebwa                 

Nkozesa langi ezisikiriza amaaso

FATUMAH Najjuuko ow’e Lukaya mu Kalungu, yagambye nti alina by’assaako essira ng’alabirira ekitanda.

Langi y’amasuuka nkitwala nga kikulu nnyo era langi enjeru, ppinka, bbulu n’endala ecamufu nzettanira nnyo kuba zisikiriza amaaso naddala ng’omwagalwa wange agatunuddeko.

Obuyonjo sibukomya ku kwoza masuuka gokka wabula ne bulangiti wamu ne beedikkava. Bino era mbigolola okusobola okulabisa obulungi obuliri nga mbwaze.

Dizayini mu kwala obuliri nakyo kikulu era zo nnina nnyingi ze nkyusa buli kiseera. Lwakuba oluusi tekiba kyangu era nnina obutabo mwe ntera okusoma dizayini ezimu olwo ne nzissa mu nkola.

Ebintu ebiriraanye obuliri okugeza ‘dduloowa, ensawo mwe ntereka engoye nabyo mbifaako kyenkanyi. Ebyetaagisa okubikkako obutambaala obulungi nkikola kubanga era tekiwa makulu kufa ku buliri bwokka ng’ebintu ebibwetoolodde si bitegeke.

Ebintu by’oku buliri ebisikiriza okugeza ddole, obumuli, sswiiti ne kalonda omulala sibisuulirira kuba byongera okutussa mu muudu nga tuli mu kisenge kyaffe. 6 Langi y’ettaala gye nateeka mu kisenge nayo eyongera okukirabisa obulungi wamu n’obuliri. Ettaala yange erimu langi ya bbulu, era eno bw’ekuba ku masuuka ameeru kiyitirira.

Ekitanda tekibulako mukeeeka. Guno gwe gusooka wansi w’omufaliso era ekigendererwa kyali nga kya kukuuma mufaliso butayuzibwa miti oba emisumaali gy’emiti gy’ekitanda nga kw’ogasse okukuuma omufaliso obutayingiramu miti kugireetera kuggyamu amangu ekinnya. Ennaku zino babiteekako olubaawo lwa pulaayi nga ne bw’oba totaddeeko mukeeka omufaliso guyinza obutakosebwa.

Enneebaka; Omukazi ye yeebaka ku kisenge olwo omusajja ne yeebaka awasooka oba ku mugguukiriro. Ennono y’akalombolombo kano yatandikira ku Ssekabaka Kamaanya. Ono we yabeerera ku Nnamulondo, entalo zaali nnyingi kale obudde bwonna buli musajja yalinanga okubeera obulindaala ng’eηηoma y’olutalo w’evugira w’akwatira ebyokulwanyisa n’agenda okwaηηanga omulabe.

Mu mbeera eno, abasajja bonna baalina ng’okwebaka ku mugguukiriro gw’ekitanda ate nga beebaka tebabulizzaako olwo ng’eηηoma w’evugira wonna adduka mangu, nga tekimwetaagisa kusooka kubuuka mukazi we.

Ku ngulu kwabikkibwangako omukeeka; Guno ssenga w’omuwala ye yagumusibiriranga ng’agenda mu bufumbo. Ennaku zino beedikkava zaasikira emikeeka gino era omusajja teyakkirizibwanga kugubikkula si kulwa ng’alaba ebintu by’omukyala bye yabikkiddemu.

Okwala obuliri mulimu gwa mukyala. Newankubadde omukyala y’asaanidde okusooka okuva mu buliri, okubwala mulimu gwe. Omusajja bw’azuukuka yeeteekateeka kugenda ku mirimu era obudde bw’amala nga yeeteekateeka olwo omukyala ng’atereeza ekisenge. Okwala obuliri nakwo kuliko emisoso.

Okugeza tosaanidde kubwala nga mwakabuvaamu, osaanidde okusooka n’obubikkula ne buyingiza ku mpewo okumala eddakiika eziwerako oluvannyuma n’obwala. Kino kibuyamba okuggwaamu olusu, luno luba lwa butonde naye terusaanidde kusukka ky’ova osaanidde okuleka empewo okuyita mu masuuka ge musuzeemu, naddala nga togenda kugakyusa.

Amasuuka, okufaananako n’engoye ezambalwa tegandisuliddwaamu okusussa ennaku bbiri. Kino kitegeeza nti abafumbo basaanidde okubeera n’amasuuka agawerera ddala okwewala okugasulamu ennaku ennyingi kubanga kikolwa ekyoleka omukyala omugayaavu era omucaafu.

Ekitanda ky’abafumbo tekizazikwamu mwana. Obuliri bw’abafumbo bulina kuba bwabwe bombi era ssinga omukyala abeera azadde, omusajja osobola okweyawula n’osula wansi ku mufaliso omulala okutuusa ebbanga eggere ly’amala mu bwannakawere, olwo omuwana n’ava mu buliri bwammwe ne mumuteeka mu buliri obubwe.

Waliwo obuwoowo obukubwa mu masuuka, wabula buno bw’oba tobwekakasa tobwesibaako. Abayindi n’Abaswayiri be basinga okubwettanira. Wano mu Buganda waliwo okaddo abakyala ke baazingiranga mu ssuuka okuwunya akawoowo, wabula kizibu okukafuna ensangi zino.

Essuuka tozikubawu pafyumu gwe weekuba ku mubiri, zijja kuwunya.

Obuliri bw’abafumbo tebwandiyingiziddwaamu ssimu. Abantu bangi ensangi zino basula n’amasimu gaabwe oba okubeera ku ssimu nga bali ku buliri, ekitali kituufu. Obuliri kye kifo eky’okwefumiitiriza kw’abafumbo wamu n’okuteekawo essanyu mu maka. Buli lwe mugenda n’essimu mu buliri kizibu okuwa munno obudde obumala.

Ekitanda ky’abafumbo kiteekeddwa okukuumibwa nga tekuli bintu birala. Okugeza weewale okwanikako ttawulo, engoye, leesu n’ebintu ebirala. Ttawulo oyinza okugisuula ku buliri ng’ekyali mbisi n’ebunnyogoza.

Omukyala y’avunaanyizibwa okukiyonja. Kikyamu okulagira omukozi oba omuntu omulala okwala obuliri bwammwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup