TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engalo lwe zikweyimirira mu nsonga z’ekisenge

Engalo lwe zikweyimirira mu nsonga z’ekisenge

By Musasi wa Bukedde

Added 24th April 2018

Engalo lwe zikweyimirira mu nsonga z’ekisenge

Deb2 703x422

Abaagalana nga beenoonya.

“ENGALO kye kimu ku bitundu by’omubiri ebisinga okusumulula munno, n’omussa mu mmuudu.” Bwatyo William Kitonsa, omukugu mu kubuulirira abantu ku nsonga z’omukwano e Mengo bw’agamba.

Engalo ziyamba mu kuteekateeka omukyala naddala ssinga omusajja aba amanyi ekyokukola. Omusajja azikozesa mu kunyonyoogera ebitundu ng’ennywanto z’amabeere, ekkundi, n’ebifo ebirala, era ssinga kino okikola bulungi omukazi tajja kusigalamu kuwankawanka kwonna.

Engalo ezo era ze zirina okukonkona nga mutuuse e Namboole. Wano okusinga ateekeddwa kukonkona ku zaabaggibwa ebbiri mu ngeri entuufu, era kino ssinga akikola bulungi, omukazi ajja kwanguwa okuggulawo.

Ate bw’oba waakafuna munno, engalo zino ze zikuyamba okuvumbula ebifo ebiterese obusimu bwe, kuba buli lw’okwatawo oba okuweeweetawo muli yeekanga olwo ng’omanya nti w’okutte weewo awatuufu.

Engalo era ze zipima woyiro okukakasa nti ddala aweze, olwo emikolo ne giryoka gigenda bukwakku. Mu nsonga zino, engalo zonna ziba za mugaso, wabula ebbiri eza wakati ziba n’omulimu munene okusinga ku ndala. Ekirala engalo zino zirina okuba ennyonjo era nga n’enjala zisaliddwa bulungi okwewala okukosa munno nga mwesanyusa. Engalo ebbiri eza wakati ze zinoonya ekkubo n’okukebera oba ensulo zizibukuse bulungi, olwo ne mulyoka mutandika emirimu.

Ate era engalo ebbiri eza wakati omusajja ayinza okuzigatta n’azikozesa okwongera okusumulula munne ng’aziteeka munda mu bukyala ssaako okuweeweeta abalongo nga tannatuusa kuyingirira ddala.

Mu ngeri y’emu, ssinga omusajja amalamu mangu akagoba nga munne tannatuusa, asobola okukozesa engalo ezo n’amuyamba okutuuka ku ntikko n’atasigala ng’awankawanka. Ku ludda lw’omukazi, engalo, zimuyamba okuweeweeta munne naddala mu kirevu, mu nviiri, mu mugongo, ekifuba, amabeere n’ebifo ebirala, era ssinga omukazi azikozesa bulungi banyumirwa omukwano.

Wabula Teopista Busuulwa omusawo mu ddwaaliro lya Kings Ark e Wakaliga yagambye nti omusajja ssinga akozesa engalo ze ng’enjala si nsale bulungi asobola okuyuza oba okuleeta amabwa ku balongo b’omukazi n’ebifo ebirala n’atta mmuudu ye olw’obulumi bw’abeeramu era omukyala ayinza obuteegomba kuddamu kwegatta na musajja oyo.

Ku ludda lw’omukazi Busuulwa yagambye nti ssinga omukyala akozesa bubi engalo ze n’anyiga ensigo n’omusajja bwa munne n’amulumya kimumalamu amaanyi g’ekisajja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Guardiolaworried 220x290

Ekyamazima ManU yatusinze eddiba...

Pep Guardiola, atendeka Man City akkirizza nga ManU bwe yasinze ttiimu ye okuzannya obulungi ku Lwomukaaga n’anokolayo...

Puelvardy 220x290

Eyagobwa mu Leicester alumbye Vardy...

Claude Puel, eyagobwa ku butendesi bwa Leicester City mu February, alumbye omuteebi Jamie Vardy nti muzannyi mulungi...

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala