TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja angobye mu nju n’abaana baffe musanvu

Omusajja angobye mu nju n’abaana baffe musanvu

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2018

SCOVIA Babirye 32, omutuuze wa Acholi Quarters mu Banda B1 mu Division y'e Nakawa gaakaaba gaakomba oluvannyuma lw’omusajja okumugoba mu maka ge bazimba bombi n’abaana baabwe musanvu nga kati talina waakusula.

Abaana 703x422

SCOVIA Babirye 32, omutuuze wa
Acholi Quarters mu Banda B1 mu
Division y'e Nakawa gaakaaba
gaakomba oluvannyuma lw’omusajja
okumugoba mu maka ge bazimba
bombi n’abaana baabwe musanvu
nga kati talina waakusula. Ennaku ye
aginyumya bwati;
Baze eyanaabidde mu maaso ddereeva
wa takisi eziva e Kampala okudda
e Mbale nga tumaze naye emyaka 18
mwe tuzaalidde abaana musanvu era
yangobye nabo.
Baze okunsendasenda yansanga
waffe e Mbale olwo nga nnina
emyaka 14, wabula oluvannyuma
lw’okumbikka omukwano, yanziba mu
bazadde bange n’andeeta e Kampala
okubeera naye. Twasooka kupangisa
Kibuli era eno twazaalirayo abaana
bana.
Ng'abafumbo twateesa okutandika
okuterekanga ssente tubeeko kye twekolera.
Era bwe zaawera, twagula poloti
mu Acholi Quarters e Nakawa ne
tuzimba akayumba kaffe ak’ebisenge
bina n’emizigo gy’abapangisa esatu.
Engeri gye twali tuwonye ennaku
y’obupangisa, baze yaηηamba twongereyo
ku baana era kwe kuzaalayo
abalala basatu. Wabula omwaka oguwedde,
baze yatandika okwefuula nga
buli lw’akomawo ku mulimu anvuma
n’okunkuba nga bwangobaganya.
Ensonga naziyingizaamu kkojja
wange naye abeera ku kitundu kino
era n’agezaako okututabaganya
wabula n’alemwa. Lumu yamuvuma
n’amulangira nga bwe tutalina magezi
era nga buli agezaako okumunenya
ng’amuvuma.
Byonna nabigumira naye
ekyanneewuunyisa ye
ssezaala wange okuyamba
ku mutabani we ne bangobaganya.
Ssezaala yali azze
kulya naffe Paasika omwaka
oguwedde. Yagamba nti
sisaanira mutabani we era
n’andagira nve mu maka ga
mutabani we ye amufunire
omukazi omulala.
Baze yalabye tetuvaawo
kwe kukasuka ebintu byaffe
byonna wabweru ku ssaawa
5:00 ez’ekiro n’afulumya
n’abaana n’abagamba
bamuviire olwo n’asibawo
ennyumba n’atambula
n’agenda.
Nakwata abaana bange
ne tugenda ku poliisi
y’omu kitundu eya Jinja
Road okwekubira enduulu
naye saayambibwa kwe kuddayo
nziggyeyo ebintu byange wabweru
gye byasuuliddwa era mu kuddayo
nasanga omutwe gw’ekyalaani kyange
bakibbye ate nga mwe mbadde nzigya
ssente ezimbezaawo n’abaana bange.
Ebintu nabitwala ewa mukwano
gwange gye nabiteresa olwo nze ne
nfuna ekifulukwa wembudamira
n’abaana bange. Eno enkuba etonnya
ennaku zino etuggweerako era
n’abaana tebakyasoma kuba sirina
mulimu. Nsaba omuzirakisa eyinza
okunyamba anfunire eky'okukola okusobola
okubeezaawo abaana bange
annyambe. Ndi ku ssimu nnamba
0782644146.
Wabula bba bwatuukiriddwa ku
ssimu, yeegaanyi eky’okugoba mukazi
we wabula nti baafunamu obutakkanya
oluvannyuma lw'okumusaba
bakwate famire yaabwe badde mu
kyalo e Mbale kuba Kampala alabika
agaanyi olw’obunene bwa famire gye
balina ate mu kyalo nga yazimbayo
ennyumba ennene ate nga tewali
agisulamu.
Yagambye nti emyaka gye bamaze
ne mukyala we, yagaana okubaako
ky’akola nga n’ekyalaani kye yamugulira
yagaana okukikozesa ng’ayagala
kusiiba waka ng'alaba buzannyo.
Kyokka nga n’okudda mu kyalo
tayagala bwatyo n’amutama. Yamusabye
amuwe abaana be be yagenze
nabo olwo baawukane mu mirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img3176webuse1 220x290

Abasajja mwettanire okubakomola...

Ab'ebyobulamu bakubirizza abasajja okukomolebwa bakendeeze ku mikisa gy'okukwatibwa akawuka ka siriimu

Kwata1 220x290

Agambibwa okutomera omwana nadduka...

Omusajja agambibwa okutomera omwana n'amumenya amagulu n'adduka yerize ne poliisi ebadde emuyigga.

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!