TOP

Harriet yampummuza omutima

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2018

NZE Caleb Atuhire 41, mbeera Kitebi. Nasisinkana Harriet ng’alina waafumbira emmere mu Ndeeba.

Mala 703x422

Twasooka kubeera bamukwano okumala emyaka musanvu nga simugambangako nti mmwagala era ebiseera ebyo nali nkola gwa kuvuga bintu ku kagaali. Harriet mukazi wanjawulo ku balala.

Mukkakkamu, ayogera bulungi, mukozi, alina ebigambo ebizimba ate ebikulaakulanya era nga ye yanyamba n’okuva ku kagaali okudda ku bodaboda ya pikipiki anti tukwataganira wamu mu buli kintu.

Siyinza kwerabira lwe nafunamu obuzibu ng’omuntu yenna n’ampa emitwalo 50 ezannyamba okuva mu buzibu obwo. Tasiba busungu, ayagala abaana, muyonjo, andabirira bulungi, afaayo, awuliriza ate ayagala abantu bange era abafaako.

Waliwo ne maama lwe yalwala ne bamuwa ekitanda okumala wiiki bbiri naye yamulabirira okutuusa lwe yatereera.

Ebyo byonna yabikola nga tukyali bamukwano era awo nange ne musaba okubeera mukyala wange. Yasooka n’agaana naye ne mmulemerako okutuusa lwe yakkiriza era ne tufuuka omwami n’omukyala kati myaka etaano.

Mpulira essanyu ne bwe mba mulowoozezza bulowooza kubanga mmwagala ate naye anjagala.

Abakazi abasinga bagamba nti ssente zaabwe ziba za kikazi era nga n’abasajja abasinga bagamba nti kizibu okulaba ku ssente z’omukazi naye Harriet si bwali, ezize zaffe fenna nga famire era kazibe fiizi z’abaana era tukwatira wamu.

Kantwale omukisa guno okutegeeza Harriet nti, Mukwano weebale kunjagala era nange nkwagala era nkusuubiza okukwagala pakalasiti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana