TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Amateeka g’ekitanda ky’abafumbo: ‘Tokkirizibwa kuzazikamu mwana...’

Amateeka g’ekitanda ky’abafumbo: ‘Tokkirizibwa kuzazikamu mwana...’

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2018

FATUMAH Najjuuko ow’e Lukaya mu Kalungu, yagambye nti alina by’assaako essira ng’alabirira ekitanda.

Simple 703x422

Najjuuko ng’amaze okwala obuliri bwe ataddeko n’akamuli okwongera okusikiriza amaaso.

1 Langi y’amasuuka nkitwala nga kikulu nnyo era langi enjeru, ppinka, bbulu n’endala ecamufu nzettanira nnyo kuba zisikiriza amaaso naddala ng’omwagalwa wange agatunuddeko.

2 Obuyonjo sibukomya ku kwoza masuuka gokka wabula ne bulangiti wamu ne beedikkava. Bino era mbigolola okusobola okulabisa obulungi obuliri nga mbwaze.

3 Dizayini mu kwala obuliri nakyo kikulu era zo nnina nnyingi ze nkyusa buli kiseera. Lwakuba oluusi tekiba kyangu era nnina obutabo mwe ntera okusoma dizayini ezimu olwo ne nzissa mu nkola.

4 Ebintu ebiriraanye obuliri okugeza ‘dduloowa, ensawo mwe ntereka engoye nabyo mbifaako kyenkanyi. Ebyetaagisa okubikkako obutambaala obulungi nkikola kubanga era tekiwa makulu kufa ku buliri bwokka ng’ebintu ebibwetoolodde si bitegeke.

5 Ebintu by’oku buliri ebisikiriza okugeza ddole, obumuli, sswiiti ne kalonda omulala sibisuulirira kuba byongera okutussa mu muudu nga tuli mu kisenge kyaffe.

6 Langi y’ettaala gye nateeka mu kisenge nayo eyongera okukirabisa obulungi wamu n’obuliri. Ettaala yange erimu langi ya bbulu, era eno bw’ekuba ku masuuka ameeru kiyitirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe