TOP

Ebiraga omusajja atazaala

By Musasi wa Bukedde

Added 1st May 2018

EDDA ng’abafumbo bwe babulwa ezzadde omusango baguteeka ku mukyala. Wabula ennaku zino, kimanyiddwa nti eriyo abasajja abatazaala era nga bwe waliyo n’abakazi abatazaala.

Panda 703x422

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abantu yagambye nti waliwo ebintu eby’enjawulo ebiremesa omusajja okuzaala.

OMWANA ATONDEBWA ATYA?

Omusajja okufunyisa omukazi olubuto bino birina okubaawo.

1 Ateekwa okuba n’amagi amalamu. Kino okukituukako ebitundu bye eby’ekyama birina okukula ng’avubuka. Entula zirina okutandika okukola amagi g’ekisajja.

2 Omubiri gwe gulina okutandika okukola omubisi ogumufuula omusajja ogwa ‘testerstrone’, kuba gwe guyamba amagi okukolebwa.

3 Abantu bangi tebamanyi njawulo wakati w’amagi g’ekisajja n’amazzi g’ekisajja. Amagi gakolebwa mu ntula ate amazzi gakolebwa mu nsulo eziri mu bitundu by’ekyama. Amagi bwe gamala okukolebwa waliwo obusiwa obugatambuza ne gatuuka mu nnabaana okufunyisa omukazi olubuto.

4 Amagi galina okuba nga mangi. Bw’oba n’amagi amatono kiba kizibu okufunyisa omukazi olubuto. Weetaaga obukadde bw’amagi obusukka mu 39 g’ofulumya buli lw’omalamu akagoba okuggyamu erimu erituuka ku ggi ly’omukazi okufuna olubuto.

5 Ate amagi g’ofulumya tegalina kubaako bulemu, nga galina emikira egigayamba okuwuga era nga makulu bulungi. 6 Obusiwa obutambuza amagi tebulina kuba na kizibu ekibulemesa okutambuza amagi ago.

Ssinga obeera n’endwadde z’ekikaba oba nga baakulongoosa mu bitundu by’ekyama oba ng’olina obulwadde bw’okuzibikira weesanga nga tosobola kuzaala.

OMANYA OTYA NTI TOZAALA?

Ssinga muba mwegatta okumala omwaka n’okusoba kumpi emirundi esatu mu wiiki naye omukyala n’atafuna lubuto, kitegeeza nti ku babiri kuliko atazaala. Mpozzi oluusi omusajja ssinga alaba ng’emisuwa ku ntula nga giringa egizimbye kasobola okubeera akabonero k’obutazaala.

  • Omubisi mu mubiri ogutenkanankana (hormone imbalances). Bw’oba n’omubisi gw’ekisajja nga mutono kitegeeza toba musajja bulungi kale n’ebitundu ebizaala tebikola bulungi.
  • Abantu abalina kkansa nabo batera okufuuka abagumba obulwadde n’eddagala bikozza ebitundu ebizaala ne weesanga ng’entula tezikola magi ga kisajja.
  • Ate waliyo abasajja nga baafuna obuzibu ku nkizi (spinal cord) oba nga balina endwadde nga ssukaali ne puleesa nga tebasobola kufulumya mazzi ga kisajja newankubadde entula zikola amagi. Era mu mbeera eno abasawo basobola okuggyamu amagi g’ekisajja ne bagateeka mu nnabaana omukyala n’afuna olubuto.
  • Obulwadde bw’ekikaba nga enziku, siriimu n’endala zicankalanya ebitundu ebizaala.
  • Omusawo okukukebeera nga toweza bungi bw’amagi ga kisajja obukadde 39 g’ofulumya ng’omazeemu akagoba.
  • Amabeere okukula ate ng’obadde togalina kitegeeza nti omubisi ogukufuula omusajja olina mutono, ate ogw’ekikyala olina mungi.
  • Omusajja atasobola kuwangaala ng’amaanyi g’ekisajja, agafuna naye nga matono ddala era nga gamuggwaamu mangu.
  • Omusajja okuba nga tasobola kumala oba ng’omala amazzi matono ddala.
  • Omusajja nga tafuna maanyi ga kisajja, oyo tasobola kuzaala.
  • Omusajja obutayagala kwegatta nga talina bwagazi.
  • Obulumi, okuzimba oba okuwulira ng’olina ekizimbye mu bitundu eby’entula oba ku ntula.
  • Amaloboozi okufuuka ng’agomukyala oba ebyoya ku mubiri okukendeera. 
  • Waliyo n’obulwadde buyitibwa Varicocele. Buno buzimbya obusiwa obutwala omusaayi mu ntula. Naye kino abasawo basobola okukitereeza.
  • Okumalira mu kawago. Embeera eno bagiyita ‘retrograde ejaculation’ ng’amazzi mu kifo ky’okufulumira mu busajja togalabako, gadda mu kawago. Embeera eno okusinga ereetebwa obulwadde nga ssukaali, oba okulongoosebwa mu kawago, oba akaseke akafulumya omusulo n’amazzi g’ekisajja.
  • Ate waliyo obulwadde nga amambulugga nga bw’ogafuna oluusi gatta amagi g’ekisajja.
  • Entula ezitakka. Omulenzi ng’avubuka entula zirina okukka ne ziva mu mbugo. Kino bwe kitabaawo ayinza okulemwa okuzaala kuba entula ezo ziba tezisobola kukuza magi ga kisajja.
  • Ssinga weegata ng’olumizibwa, oba nga mulina ebizibu mu bufumbo omusajja ayinza okulemwa okuzaala kuba aba yeeraliikirira, era ayinza n’okulemwa okusindika amagi agazaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano

Babiryecuttt 220x290

Tunoonya abasajja ateemotyamotya...

Twagala abasajja abamalirivu nga tebeemotyamotya batuwase. Tetwagala bayaaye.

Uganda4 220x290

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone...

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

Villapolice04 220x290

Villa ekaabirizza Onduparaka omwayo...

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula...