TOP
  • Home
  • Ssenga
  • By’okola okusikiriza munno okunaaba mu budde bw’empewo

By’okola okusikiriza munno okunaaba mu budde bw’empewo

By Musasi wa Bukedde

Added 1st May 2018

ENKUBA etonnya ensangi zino ereetera obudde okuba obunnyogovu okuva ku makya okuzibya obudde. Olw’embeera eno, abantu abamu bakaluubirirwa okunaaba naddala akawungeezi oba ekiro nga bagenda okwebaka.

Pa 703x422

Obuzibu buno businga kweyolekera mu basajja kuba bangi eby’okunaaba tebabyagala olw’ensonga ze beemanyidde.

Abasajja bangi ssinga baweebwa ebbeetu okunaaba lwokka lwe baagadde, oyinza okwesanga ng’abamu bamazeeko wiiki nga ng’amazzi tegabakoonye ku mubiri.

Kino kisinga mu basajja abakola mu ofi isi, abalowooza nti baba tebatuuyanye nga basiiba bayonjo nga tekimwetaagisa kunaaba. Abalala abalina omuze gw’obutanaaba be basambi b’omupiira.

Bano bwe batuuyana ate oluvannyuma empewo n’ebayitamu baba tebaagala kunaaba ate nga baba tebakyawulira bbugumu.

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana abawadde amagezi ku biki bye bayinza okukola okwagazisa abaagalwa baabwe okunaaba;

1 Abakyala balina okukimanya nti abasajja batya nnyo ebintu ebinnyogoga. Kirungi n’obugumya ku mazzi, abaami abamu tekibeera nti tayagala kunaaba naye obudde bwe buba bunnyogovu, n’alinnya wansi nga nawo wannyogoga muli kimutiisa okunaaba olw’obunnyogovu obuyitiridde.

2 Abasajja ebiseera ebisinga bakola emirimu gya maanyi ne bakoowa nnyo. Ayinza okuva ku mulimu ng’akitadde mu bwongo nti agenda kunaaba naye bw’atuuka awaka n’atuulako mu ntebe, obwongo bumugambirawo kwebaka. Bwe yeebaka awo aba takyanaabye olw’akabugumu ako.

Kiba kirungi n’otegeka amazzi nga bukyali era bw’atuuka n’omwaniriza omugambirewo nti amazzi omaze okugateekayo mu kinaabiro, era bw’amaliriza okunaaba olwo muwe ekyeggulo.

3 Abakyala obutayonja binaabiro naddala nga mubifuuyisaamu kiremesa nnyo abasajja okunaaba kuba biba biwunya omusulo.

Omukyala olina okufaayo okulaba nti omusajja teyeenyinyala kinaabiro ate naawe tolekaayo buwale bwo buddugala oba ppaadi wadde okuleka ssabbuuni ng’aseerera wansi.

Omusajja alina okusanga ekinaabiro nga kikalu n’atakyenyinyala ate nga tekirina lusu.

4 Bwe muba mubeera ku muzigo nga mukyabeera babiri tokkiriza musajjawo kunaabira bweru kuba biba bimukwasa ensonyi nti anaavaayo atya mu kinaabiro n’ayingira mu nnyumba.

Ate abamu baba tebaagala kufuluma wabweru na bbaafu. 5 Ekirala kirungi okumutegekera engoye nti bw’amala okunaaba ayambalirawo. 6 Abasajja abasinga tebatera kusula mu ngoye wabula mu budde nga buno obunnyogovu mufunireyo ky’asulamu aleme kusula bwereere mu mpewo. Kino kimutegekere bw’amala okunaaba ayambalirewo, wabula kirina okuba nga kimuwa ebbeetu okwetaaya.

EKINAABIRO NKIKUUMA NGA KIYONJO

Nnaalongo Carol Nassaka omusuubuzi e Lukaya mu Kalungu yagambye nti alina ebintu eby’enjawulo by’akola okusikiriza bba Ssaalongo Noah Ssemaganda okunaaba wadde ng’obudde buba bwa mpewo.

  • Ekinaabiro kyange nfuba okulaba nga nakyo nkikuuma nga kiyonjo, kubanga bwe kiba kicaafu kiyinza okumalamu munnange amaanyi nga tayagala kukinaabiramu.
  • Okumuteera amazzi agabuguma mu kinaabiro nako kakodyo akamusikiriza okunaaba, kubanga taba na nsonga gye yeekwasa ate bw’ava mu kinaabiro ng’era mmubikka mu buliri awo empewo emusanga wa?
  • Obuliri bwaffe mbwalako amasuuka ameeru. Kino nkikola kuba nnakizuula nti Ssaalongo wange yeewala nnyo okukola ebintu ebimmalamu amaanyi oba okunnyiiza. Bw’alaba essuuka enjeru kizibu okuyingira obuliri nga tanaabye kubanga aba tayagala kuziddugaza ne bwemba siriiwo.
  • Okunaaba ababiri nako kakodyo ke nkozesa era nfuba okulaba nga nze mmweekuutira n’ekyangwe naddala mu mugongo bambi gy’ateetuuka, ate olaba ne bw’akomawo awaka n’asanga nga nze mmaze okunaaba waakiri nziramu okunaaba, okumulaga nti nfaayo ku buyonjo bwe, ate olumu tunaaba nga bwe tuzannyamu.
  • Ekirala nfuba okumulaga nti okunaaba si mugugu era talina kukyeraliikirira, nti wabula kye kimu ku bintu omuntu ow’omulembe by’ateekeddwa okufaako, ku lw’endabika ennungi mu bantu mpozzi n’okuba omulamu.

EBIREETA OLUSU

Dr. Robert Asaba omukugu mu nsusu okuva mu ddwaaliro e Kisubi yagambye nti akasu kajja kuba mu lususu mulimu obutoffaali (glands) obw’enjawulo obufulumya amazzi ag’enjawulo.

Ebiseera ebisinga abantu abalina akasu nga wadde banaaba baba batuuyana nnyo, obuwuka obubeera ku lususu bukwatagana n’entuuyo ne bukola akasu.

Abamu balina obulwadde bw’okutuuyana ennyo ate ne bateesalira mu bitundu by’ekyama, obuwuka bwe bulya ku ntuuyo n’enviiri nga bweyongera okukula awo n’omuntu olusu lumweyongera naddala mu nkwawa.

Waliwo abamu nga banaaba naye ne basigala nga bacuuma, abo babeera balina okukozesa eddagala ne ssabbuuni atta obuwuka obuleeta entuuyo, kw’ogatta ne ‘roll- on’ ekendeeze okutuuyana naddala mu nkwawa oba okugenda mu ddwaaliro ne bamukendeeza entuuyo mu mubiri.

LWAKI ATATUUYANA ASOBOLA OKUWUNYA?

Asaba yagambye nti abantu abamu naddala abambala engatto ezibikka ebigere bawunya ebigere kubanga biba tebirina we byetaayiza ng’ebbugumu lizze ne kireetera obuwuka buli amaanyi okweyongera amanyi ekivaamu ebigere ne bitandika okuwunya.

Enviiri z’omu nkwawa zisobola okuleetera omuntu okuwunya wamu n’obutanaaba. Olina okunaaba mu nkwawa buli kaseera ate ng’okozesa ssabbuuni atta obuwuka obwo busobole okukendeera awo n’olusu lujja kukendeera.

Emmere eyitiridde ebirungo (spices) nga katunguluccumu, obunzaali obuyitiridde n’obutungulu ebiseera ebisinga bisobola okuwunyisa omuntu wamu n’okulya ennyo ennyama wadde ng’abeera anaaba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...