TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebivuddeko abawala okuzaalira mu masomero

Ebivuddeko abawala okuzaalira mu masomero

By Musasi wa Bukedde

Added 1st May 2018

ENNAKU zino si kyangu okufuna muwala nga tazaalangako Era kati abawala okuzaalira mu masomero kirabika kifuuse kya bulijjo. Kino kiva ku bintu bingi omuli bino wammanga;

Slay01 703x422

1. Okwagala ssente. Abaana abawala ennaku zino baagadde nnyo ssente. Beegomba ebintu ebirungi ate nga bazadde baabwe tebalina ssente zibibatuusaako, ne weekanga nti omwana okuzifuna alina kufunayo kisajja oba omulenzi ate nga si za bwereere naye ng’alina okusasula n’akaboozi ekivaamu kuba kuzaala.

2.Emikutu gya yintaneti Emikutu gino gikoze ky’amaanyi nnyo okwongera ku muwendo gw’abaana abazaala nga bakyali mu masomero olw’ensonga nti ebintu bingi bye bazuula oba bye bayiga ebiteekebwa ku mikutu gino nga ku “Whatsapp” , “Facebook” n’emirala. Weekanga nti omwana kati atuuka mu S.1 ng’amanyi bingi naddala mu kwegatta ekivaamu kwagala kubigezaako okukkakkana ng’afunye olubuto.

3. Abazadde baafuuka bamusibya byayi. Ennaku zino abazadde bayitirizza okwagala ennyo abaana, omwana n’aba ng’akimanyi ne bwanaafuna olubuto maama oba taata ajja kumunnyonnyola akitegeere era ajja kumala okuzaala bamuzzeeyo asome.

4. Abazadde tebakyabuulirira baana. Abazadde ennaku zino bawaayo obudde butono okutuulako n’abaana baabwe okubabuulira ebigambo ebibazimba ng’akabi akali mu kuzaala ng’okyali mu ssomero. Emirundi egimu omwana ayinza n’okuba ng’asoma ava waka naye n’atuuka okuzaala ng’abazadde tebategedde okuggyako ng’omusomesa y’abagambye.

5. Abasajja abakulu okuganza ennyo abaana b’amasomero. Ssinga omuwala aba ayagadde omuvubuka gwe bali naye mu ssomero emikisa gy’okuzaala giba mitono kuba bonna babeera bakyatya. Naye buli lwe baagala abasajja abakulu emikisa giba mingi egy’okuzaala olw’ensonga nti abasajja bano baba tebalina kye batya ne weekanga nti bazadde mu baana bano ate tebagenda na kubawasa.

6. Emikutu gy’amawulire. Emikutu gy’amawulire naddala ttivvi gikoze ky’amaanyi okuzuukusa obwongo bw’abaana abawala nga bayita mu buzannyo obubeerako. Obuzannyo buno bubeeramu omukwano nga kino kiwaliriza nnyo abaana bano nabo okubitandika nga bakyali mu masomero kubanga baagala okubeera mu bulamu nga bwe balaba mu buzannyo.

7. Amasimu Edda kyalinga kizibu okuwuliziganya n’omwana w’essomero kubanga ebiseera ebisinga ng’omwana ono bw’ataba waka abeera ku ssomero. Naye kati essimu zaayanguya buli kimu. Omwana ne bw’aba ali waka mu buliri mu maka ga bazadde be anyumya bulungi n’abasajja ne bakutula ne pulogulaamu. Ate ku ssimu obuyimba obw’omukwano n’obutambi abufuna ekiddirira biba bikemo.

8. Okutandika mangu okwegatta. Edda okwegatta kwatiibwanga era nga kitwalibwa nti kikolwa ky’abantu abakuze oba abali mu bufumbo. Kyokka ennaku zino abaana batandika eby’okwegatta nga bakyali bato nga n’oluusi abamu batandika mu pulayimale. Noolwekyo kiba kizibu okuyitta mu myaka egyo okutuusa mu kiseera ekituufu nga tafunye lubuto.

9. Eddembe abazadde lye bawa abawala Edda ng’omuwala ava awaka okutandika okusula ebweru oluvannyuma lw’okufuna omusajja amuwasa. Kyokka ennaku zino omwana atandika okusula ebweru mu bisulo bya hositeelo nga yaakayingira siniya olwo abamu ne batandika okusula mu biduula n’abalenzi era ekivaamu kuzaalira mu masomero. Abazadde abamu bakkiriza n’abaana baabwe abato okugenda ku bubaga oba okusula ebweru.

10. Emibiri gy’abaana gikula nnyo. Ensangi zino abaana bakula nnyo ne weekanga nti omusajja asanga omuwala akyali mu ssomero ng’atunula ng’omukazi omukulu n’amwegomba ekivaamu kumulimbalimba ng’ amufunyisa lubuto.

11. Emikwano. Abaana abawala abamu balina emize gy’okufuna emikwano emibi mu masomero, ne weesanga nti olumu omu gw’afunye ayagala nnyo abasajja era naye emirundi egisinga yeekanga akiyingidde ekivaamu kuzaalira mu masomero.

OKUBUULIRIRA

Kanala Naluyima agamba nti olw’okuba abaana abawala bangi ennaku zino bazadde bakyali mu masomero, weekanga nti bagenda okutuuka mu bufumbo ng’ate tebaagala kuzaala olw’okuba bakimanyi nti balinayo abaana so nga oluusi bo abavubuka be ba bafunye babeera baagala okuzaala olwo ne bafuna obuzibu bw’okukwatagana.

N’olwekyo abazadde okwewala embeera eno betaaga bafeeyo nnyo eri abaana baabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazirwanakonabengandazaabwengabakwasaabamagyeempapulazaabwewebuse 220x290

Abadduka mu magye temugenda kusiimibwa...

Abaazirwanako baakusekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwandiisibwa mu ngeri gye bagambye nti ebawadde essuubi okulyaku...

Carbond0023scmyk7034221 220x290

Gav't ereese etteeka eriwera okutunda...

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okuwera okuleeta muno emmottoka enkadde.

Leka 220x290

Omuyizi eyafiiridde mu kidiba kya...

ENGERI omuyizi wa Perfect Primary School e Kulambiro gye yafiiridde mu kidiba omuwugirwa ekya Kiwaatule Recreation...

Fbimg15631781511232 220x290

Buubuno obukwakkulizo Bobi Wine...

OBUKWAKKULIZO Bobi Winebw’atadde ku Chameleone bwaddiridde enkiiko ez’enjawulo aba People Power ze baatuuzizza...

Kola 220x290

Obwavu bwamugabisa omwana wange...

KITUUFU obwavu tebukumanyisa akwagala. Omuwala yagabira omusajja alina ssente omwana wange. Nze Ronald Kakooza...