TOP

Omutima gw’omwana gundi bubi

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd May 2018

NZE Juliet Nankya, ow’e Namungoona. Twayawukana ne baze mu 2009 ng’empisa ze tezisoboka nga tayagala kulabirira waka okuggyako okucakala n’abakazi abalala.

Watau 703x422

NANKYA

Twazaala abaana babiri era yandeka ndi nnakawere n’anzigyako omwana omukulu n’amutwalira nnyina (nnyazaala wange) olwo n’agenda ne nsigala nga ntoma n’omwana omuto.

Nnyazaala yatuuka ekiseera n’alemererwa nga takyasobola kulabirira mwana kuba mutabani we yali talina ky’amuwa.

Omwana n’amugyayo ne ntandika okubeera naye nga nze maama era nze taata naye ng’omusajja tewali kye yali ampadde.

Nakoma okumulabako mu 2011 era saayogera naye era okuva olwo siddangamu kumulaba.

Wabula mpulira nti yawasa omukyala omulala era babeera Mukono. Kati omwana wange omukulu, Patricia Nabulya 11 yambuzeeko nga April 11, 2018.

Yabula ku Lwakusatu ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo oluvannyuma lw’omukozi okumulagira okukola emirimu gye nnaleka mulagidde okukola ng’avudde ku ssomero.

Bwe nnakomawo nga teyabikoze ne munenyaako ng’era omuzadde bw’anenya omwana, n’anyiiga era bwatyo ne yeemulula n’agenda. Omukozi yagenda okulaba nga takyamulaba kwe kumpita ng’olwo agenze.

Twayongera okumunoonya nga talabikako kwe kugenda ku LC1 ey’e Namungoona era ne tuyisa ebirango ku bizindaalo ku kyalo naye era tayerabika.

Enkeera, nakeera ku poliisi y’e Namungoona ne ndoopa okubula kw’omwana wange nabo ne banyambako okumunoonya.

Bwe waayita ennaku bbiri, bahhamba nti bamulabyeko e Kazo ne hhenda ku poliisi y’e Kawempe nayo ne ndoopa era ne tukolaganira wamu ne tunoonya omwana naye n’abula kati wiiki ssatu.

Ekinnuma nti omwana wange yali tamanyidde kutambula era ng’oluva awaka agenda ku ssomero n’okudda bwatyo mpozzi okugenda ku dduuka naye ate nga liriraanye awaka.

Bannange emirembe gimpeddeko, osanga ssinga kitaawe abaddewo osanga teyandibuze. Omwana ono mutono mumpi (nga bw’afaanana mu kafaananyi akatono).

Alina emba mpanvu, mweru era yabula ayambadde ekiteeteeyi kya kiragala nga kiriko obuddugavu ku mikono, asobola okwogera oluganda n’Olungereza olutonotono.

Nsaba omuntu yenna amulabako, amugambe akomewo awaka oba omutwale ku poliisi y’e Kawempe oba Namungoona. Oba okunkubira ku ssimu zino, 0751421275 oba 0789217366

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...