TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Balaze emirundi omusajja gy’alina okunyumya akaboozi

Balaze emirundi omusajja gy’alina okunyumya akaboozi

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2018

ABAKUGU bazudde nti omusajja omulamu anyumya akaboozi emirundi ebiri buli wiiki. Era ng’akaboozi ako kamala eddakiika ttaano zokka. Bagamba nti bwe kisukka awo omusajja aba akozesa ebiragalalagala.

2214149fitnessblackmanexercisingpushupshumanbeingmanphotocasestockphotolarge 703x422

Omusajja ng’akajjuza. Omusajja omutuufu anyumya akaboozi waakiri emirundi ebiri mu wiiki.

Era n’omukazi gw’oba weegasse naye atandika okulumwa. Ekigendererwa ky’okunyumirwa ne kifa.

Abakugu bano baakuliddwa Dr. Brendan Zietsch mu Yuniversite y’e Queensland mu Bungereza era okunoonyereza baakukoze mu 2017.

Ebyazuuliddwa baabitegese okusinziira ku myaka omuntu gy’aba alina n’emirundi gy’ateekedda okunyumya akaboozi; Abasajja ab’emyaka 18 -29 beegatta emirundi 112 buli mwaka.

Ab’emyaka 30- 39, emirundi 86 buli mwaka. Ab’emyaka 40- 49, emirundi 69 buli mwaka. Ab’emyaka 50 n’okweyongerayo giba emirundi 40 buli mwaka.

Abakugu baagambye nti ekyabasindise okukola okunoonyereza kuno be basajja be babaddenga baguza ebiragalalagala nga babagamba nti balibaguza basobole okusamba okumalako nga bali mu kaboozi.

Olw’okuba nti abasajja babadde tebamanyi oba bakyasamba bulungi oba nedda nga bambi bamala gagula eddagala oluusi ne bababbiramu.

Kati kye bavudde babawa ebipimo beepimirenga okwo kwe baba basinziira okunywanga eddagala; ganda oba ezzungu.

Abakugu bano kye baazudde nti omusajja gy’agenda akoma okukula, saluti ye ekendeera amaanyi. Era kino kiva ku nsonga nnyingi okuli amaddu g’akaboozi okugenda nga gamuggwaamu, sso ng’omuvubuka omuto ye aba akyalina amaddu mangi nga gamuleebeeta era ng’ayagala okulaga nti asamba nnyo.

Wabula baagambye nti waliwo abasajja abasinzaawo ku mirundi gino. Naye ng’ekyo tekiba kya bulijjo.

Baawadde amagezi nti akaboozi omusajja bw’akasussa emirundi emingi buli lunaku, kamunafuya ne yeebaka ng’ali ku mulimu ekiyinza okumugobya ku mulimu ne kimukuba obwavu.

Ekirala nti akaboozi omusajja bw’akasussa kamumalako akabina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa