TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lwaki abavubuka balekawo abawala be baludde nabo ne babuuka n’abapya

Lwaki abavubuka balekawo abawala be baludde nabo ne babuuka n’abapya

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2018

OKWAGALA kintu kizibu kyokka n’okulonda omuntu gw’otongoza mu bangi nawo wabaawo okusiitaana naddala bwe gutuuka mu bavubuka. Kino kireetera bangi okubeera n’abawala abasukka mu omu olw’okulemwa okulondako omutuufu.

Fayiro1 703x422

Bano baabadde mu kifo ekimu, omuvubuka ng’asaba omuwala okukkiriza okumufumbirwa. Omuwala yamukkirizza era wano omulenzi ng’amussaako empeta ya nkusibidawo.

Olumu beesanga nga batongoza abapya be baakafuna ne balekawo abakadde. Ensonga ezisinga okuvaako abavubuka okukola kino ze zino wammanga;

  1. Empisa Abavubuka abali siriyaasi beetaaga omuwala alina empisa. Kati bw’agwa ku muwala alina empisa z’abadde anoonyereza ebbanga katugambe abadde n’abawala nga tebamanyi kufukamira kyokka nga akyabeekenneenya nafuna akikola talonzalonza kumutongoza. Oluvannyuma ekivaamu kumwanjula mu ηηanda na kusuula b’abadde nabo n’agenda n’omuggya gwe yaakalaba mu kiseera ekitono.
  2. 2. Okufaayo Abavubuka baagala nnyo okufi ibwako nga ne bw’oba mulungi otya nga tomufaako ayinza okubeera naawe olw’okuba ayagala obulungi bwo ng’alowooza onookyusa. Ssinga omuvubuka ono afuna omuwala amufaako awatali bukwakkulizo, akulekawo n’atongoza omupya gwe yaakaganza.
  3. 3. Obwasiriyaasi bw’omuwala Buli muvubuka yandyetaaze okuwasa omuwala gw’alaba nti ayagala obufumbo era bw’amufuna ng’amulaga nti asazeewo ate ng’abawala abalala b’alina bonna babadde tebannamukakasa weekanga bonna abasudde n’agenda n’omuggya era n’amutongoza mu bwangu.
  4. 4. Eηηanda Abawala abategeera kye baagala bakimanyi nti okuwangula omulenzi eηηanda kikulu. Bwe gutyo bwe guba ssinga omuvubuka afuna omuwala abeηηanda ze ne bamwagala talonzalonza kumutongoza. Anti buli omu abeera amugamba tamusuula naye olw’okutya okumumubbako yeekanga amutongozza mu bwangu wadde nga wabaddewo b’abaludde nabo.
  5. 5. Emikwano Nga bwe gubeera ku ηηanda n’emikwano bwe kibeera abavubuka bangi baagala nnyo okuwasa, abawala mikwano gyabwe be gisiimye. Omulenzi ssinga aganza omuwala mikwano gye ne gimwaniriza, emikisa gye gifuuka mingi okutongozebwa mu kiseera kitono kaabeere ng’omulenzi ku bbali abaddewo ne b’aludde nabo ebbanga abalekawo.
  6. 6. Ensisinkano yaabwe Kino kizingiramu ekifo we mwesanga n’omuntu eyabasisinkanya. Okugeza ssinga omuvubuka ayagala omuwala ng’amusanze ku mbaga asobola okumwesiga okusinga gw’asanze mu bbaala. Ate ssinga omuvubuka afuna omuwala ng’amulabidde ku mukwano gwe gwe yeesiga era ng’amwogerako birungi asobola okumwesiga okusinga gw’asanze ku kkubo n’amukwana. Ekitegeeza nti emikisa gy’okumutongoza mu bwangu giba mingi kuba tayagala kumufi irwa, alekawo b’amaze nabo ebbanga.
  7. 7. Embeera y’ebyenfuna by’omuwala Kituufu wadde omuvubuka abeera tayagala ssente za muwala naye omuvubuka bw’afuna omuwala atakaaba nnyo bizibu ng’alina ky’asobola okwetuusaako kimwanguyira okumutongoza n’aleka abaluddewo abamukaabira buli kizibu ng’alina okukwata mu nsawo.
  8. 8. Enteekateeka z’omuwala ez’omu maaso eri omulenzi Abalenzi baagala nnyo abawala nga babateeka mu nteekateeka zaabwe ez’omu maaso. Okugeza ssinga omulenzi abadde alina omuwala nga pulaani ze ez’omu maaso za mulenzi kufuna ssente amuwe azimbire nnyina ennyumba ate n’afuna omulala ayagala bakole ssente bakole bizinensi y’okulabirira abaana baabwe be bagenda okuzaala weekanga oli amulese mu bbanga n’atongoza ono gwe yaakafuna.
  9. 9. Emikisa gy’omuwala okusanga omulenzi ng’akooye abamuzannyisa Abawala olumu bafuna emikisa gy’okusanga abavubuka nga bakooye okutabaala mu bawala. We batuukira ng’a balenzi batuusizza okulaga abawala be baagala abatuufu ne bafunirawo omukisa gw’okusinza amaanyi be basanzeewo.
  10. 10. Ebirowoozo by’omuwala Abawala abamu babeera n’ebirowoozo byabwe nga bya kikulu. Ono omulenzi agenda okumugeza ku b’amaze nabo ebbanga eddene emboozi ze banyumya ng’abasinga era olw’okutya abavubuka abalala okumumubbako weekanga amutongozza.
  11. 11. Obulambulukufu bw’omuwala Abawala abamu babeera baagala abalenzi kyokka nga si balambulukufu gye bali ne bamala nabo ebbanga nga abalenzi tebakakasa oba bali ku bbo era bwe wavaayo omulambulukufu nga weekanga bamutongozza mu bwangu ne balekawo abaluddewo wadde nga nabo babadde bagala okubawasa. Rebecca Naluyima omukugu mu kubuulirira abavubuka agamba nti okwewonya okukaabanga nga babatutteko abavubuka be babadde basuubira okufumbirwa kyalibadde kirungi bulijjo ne bakola ebyo waggulu omuli okuba n’empisa n’okuba abalambulukufu nga si bayaaye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwineatmagere 220x290

Bobi Wine ayogedde ku ngeri gye...

" Akawungeezi ka Mmande nnabadde mu kisenge kya wooteeri mwensula ne mpulira abantu nga bagamba ggulawo kyokka...

Long1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Bobi Wine, mukazi we amutunuddeko e Makindye gy’akuumirwa n’azirika olw’embeera gy’alimu. Omubaka Zaake bamuleese...

Candia 220x290

Nnannyini wooteeri ya Pacific e...

NANNYINI wooteeri ya Pacific Hotel mu kibuga Arua asambazze ebyayogeddwa poliisi nti emmundu ez’ekika kya SMG ebbiri...

Genda1 220x290

Baka balamu bange bannemesezza...

NZE Shifrah Nalwadda 25. Mu 2016 omusajja ayitibwa Akim yankwana era nange ne musiima ne mmukkiriza n’antwala ewuwe...

K3 220x290

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa:...

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa: Baagala Bobi Wine ayimbulwe