TOP

Omusajja omwenzi akooya

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2018

Baze gye nakoma okumulaga omukwano naye gye yakoma okunjooga. Yaleetanga baganzi be mu buliri bwange ne beeraga omukwano. Nze Penlope Tusemererwe 28, mbeera Kawempe.

Twala1 703x422

Twasisinkana ne baze mu 2013 e Nyabushozi gye nali mbeera. Mu kiseera ekyo nali nkyasoma kyokka n’anfunyisa olubuto.

Eby’okusoma kwange awo we byakoma ne tutandika okubeera naye mu bufumbo mwe twazaalira omwana omu.

Wabula omwana ono yamwegaana oluvannyuma lw’okufunamu obutakkaanya era embeera ze ne zeeyongera okukyuka.

Yatuusa ekiseera ng’awaka yeeyisa nga bw’alaba nga n’obuvunaanyizibwa okuli okugula emmere yabuvaako. Ate nga n’awaka akomawo nga bukya n’okuyomba olutatadde wamma ne nneetamwa.

Okumanya omusajja ono yanjooga, nga n’abakazi baakwanye abandaga ate n’anneewaanirako okutuusa lwe nasalawo okumwesonyiwa.

Obufumbo bwaffe twabufuniramu ezzadde wabula omu ku baana asembayo, baze yamwegaana nandagira mugabire omusajja omulala.

Lumu yagenda okukola, kw’olwo yakomawo n’omukazi ekiro, n’angoba ku kitanda kwe nali nneebase kwe baasula n’omukazi gwe yali aleese ne beeraga omukwano nga ndaba.

Nze nnasula wansi n’abaana bange naye ng’amaziga gabula okunzita.

Nasalawo lumu okumuviira ne nzira ewaffe ntandike obulamu obupya era tetwaddamu kukwatagana. Kati nasigaza kwenoonyeza ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St1buk250518 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulimu ebipya ku batta abawala omuli obujulizi obubalumiriza kyokka nga butiisa.

Save 220x290

Museveni ayogedde ku bawamba abawala...

Pulezidenti agambye nti abatemu abawamba abawala ne babatta babafunzizza era gwe basembyeyo okukwata yabadde n’emirambo...

Whatsappimage20180524at20027pm 220x290

Abadde alimbalimba omuyizi wa S.4...

Emirimu gisannyaladde okumala akaseera mu ppaaka enkadde mu kibuga Kampala abagoba ba takisi abakolera ku siteegi...

Isabeti4 220x290

Yeemulugunyizza ku mutindo gwa...

OMUTEDENSI wa KIU Henry Kyobe akukkulumidde akakiiko akaddukanya omuzannyo gwa Beach Soccer olw’enzirukanya etamatiza...

Kasangati 220x290

Bawambye omuwala omulala e Kasangati...

ABAWAMBA abantu beesomye luno, bawambye omukazi omulala e Kasangati ne basaba obukadde 10, kyokka olubaweerezzaako...