TOP

Taata w’omwana anneefuulidde

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2018

NZE Charity Kukundakwe 30, mbeera Bukoto I mu Munisipaali y’e Nakawa. Nalabagana n’omwami wange mu 2008 bwe nali nkyasula ne kizibwe wange e Mulago. Nali nkyali muwala muto era nga buli musajja aneegwanyiza.

Mala 703x422

Newankubadde gwali bwe gutyo, nasalawo okugenda n’ono eyandabikira okubeera n’obuvunaanyizibwa.

Entandikwa yali nnungi era nga buli kimu kitambula bulungi, bwentyo ne muzaalira n’omwana asooka mu 2010 gwe yalaga okwagala okuva bwe yazaalibwa nga kati aweza emyaka musanvu ng’ali mu kibiina kyakubiri.

Ku myaka 10 gye tumaze, nali simanyi nti omwami wange alituusa ekiseera n’akyuka kuba abadde tanjuza nga buli kimu akireeta awaka, wabula okuva omwana waffe bwe yatuuka mu myaka egitandika okusoma, n’akyukira ddala.

Yagaana okuweerera omwana era kino kyaleetawo okutabuka mu maka olw’okumubeeba ssente z’essomero era kati n’eby’awaka takyayagala kubimpa ne neeyiiya okufuna ssente eziweerera omwana n’ez’okwebeezaawo.

Mbadde nnina kkampuni gye nkolera era nga nsobola okuweerera omwana wabula kati maze omywaka gumu ng’omulimu guweddewo era sikyakola kyokka ndi lubuto lwa myezi musanvu.

Sirina buyambi ate omusajja buli lwe musaba obuyambi anjuliza nga ye bw’atakyalina ssente kyokka nga bukya twefuna, omulimu gwe yali akola na kati gw’akola, kati nsobeddwa kuba luli yali afaayo naye kati yeesuulirayo gwa nnaggamba.

Ekinnuma nti ne bw’omugamba ekikwata ku mwana tafaayo alinga si y’amuzaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Taata alumirizza bawala be okumukuba...

Taata alumirizza bawala be okumukuba

Tip1 220x290

Sharif Bogere asomesezza abazannyi...

Sharif Bogere asomesezza abazannyi b'e bikonde e Lugogo

Kab2 220x290

Kabushenga bamwongedde ekisanja...

Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisinde gya Kabaka

Fot1 220x290

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu...

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu mu Hockey

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 220x290

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe...

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya