TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Biibino ebiyamba abaagalana abanoonya okuzaala omwana

Biibino ebiyamba abaagalana abanoonya okuzaala omwana

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2018

Biibino ebiyamba abaagalana abanoonya okuzaala omwana

Po1 703x422

ABAKYALA n’abasajja bangi ennaku zino banoonya okuzaala abaana. Naye ng’oggyeko okwegatta mu kiseera ekituufu, waliyo sitayiro ezisobola okuyamba omukyala okufuna olubuto. Leero katwogere ku sitayiro eziyamba amagi g’ekisajja okutuuka amangu mu nnabaana. Tukimanyi bulungi nti omukyala okufuna olubuto, omusajja alina okwegatta naye ng’ omukyala naye ali mu mbeera ng’ebisu bimaze okusuula eggi mu nnabaana oba mu nseke.

Naye ate amagi g’ekisajja okuganguyiza okutuuka mu nnaabaana oba mu nseke amangu okusanga eggi, waliwo sitayiro eziyamba olugendo luno. Newankubadde omumwa gwa nnabaana gubeera muggule naye ate singa gubeera mugazi nga muggule bulungi n’amagi tegakoowa, gayingira buyingizi. Wammanga ze sitayiro eziyamba kutambuza amagi amangu.

OBUKODYO OBUKUYAMBA ‘Missionary’ oba sitayiro ey’abafumbo. Eno kirowoozebwa nti abaana abasinga abazaaliddwa ku nsi bafunirwa mu sitayiro eno. Eno abafumbo bayinza ogikyusaamu mu ngeri nnyingi katugambe omusajja n’abeera ng’ali ku magulu n’emikono nga bye bimuwaniride ate omukyala amagulu n’ageetooloza omusajja ne gamukwata bulungi mu mugongo. Kino kiyamba omumwa okudda waggulu ate n’okweggula obulungi. Ate era mu sitayiro eno omukyala ayinza okuwanika amagulu era kino kiyamba omumwa gwa nnabaana okweggula obulungi.

Sitayiro ya kabuzi, eno abantu bangi bagikola naye nga tebamanyi nti eyamba nnyo mu kufuna olubuto. Mu sitayiro eno omusajja atuuka wala ekitegeeza nti amagi agateeka ddala kumpi n’omumwa gwa nnabaana era ne gatafuna buzibu kuyingira. Mu sitayiro ya kabuzi singa omusajja yeebaka ku mugongo gw’omukyala oba omusajja n’afukamira bufukamizi ng’omukyala naye afukamidde ng’emikono gimuwaniridde oba nga yeeweseemu, amagi gatuuka mangu.

OKUMANYA LW’OSUULIRA EGGI Ekisinga obukulu ku nsonga y’okufuna olubuto, kumanya nnaku w’osuulira eggi mu nnabaana. Buli mukyala alina ennaku nga mukaaga zokka mw’asobola okufunira olubuto mu mwezi. Mu nnaku zino, ettaano ezisooka nga tonnaba kusuula ggi ate era ne ku lunaku lw’osuulirako eggi osobola okwegatta buli lunaku naye singa osubwa ennaku zino ettaano oyinza obutafuna lubuto.

Omukisa ogusinga gubeera mu nnaku essatu nga tonnaba kusuula ggi, ate omukisa gukendeera ng’omaze okusuula eggi ate ne guggweerawo ddala ng’omaze okususula eggi. Ku mulundi oguddako tujja kwogera ku ngeri omukyala bw’asuula eggi era amanya atya nti asudde eggi era awulira atya nti agenda kusuula eggi.

Kubanga ekiseera kye twetaaga okumanya z’ennaku essatu ng’ogenda okusuula eggi. Ezo z’ennaku z’olina omukisa ogw’amaanyi okufuna olubuto. Ennaku endala kumpi 24 omukisa gubeera mutono okufuna olubuto.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Untitled1 220x290

Omuwala namuta ng’ammenya n’olungereza...

Nze Emmanuel Nayebale nga mbeera Kitintale mu Kampala. Bwe nnali naakatandika okwegomba n’okuyingira mu nsonga...

Ssenga1 220x290

Ssenga nnina amaanyi matono

Nnina obusajja butono ate bumpi kyokka n’amaanyi matono ddaala. Ssenga nkoze ntya?

6688203923901413243725744760079814268813312n 220x290

KCCA FC lubabu!

OLWESOZZE semi z'empaka za CECAFA, omutendesi wa KCCA, Mike Mutebi, n'agumya abawagizi ng'ekikopo bwe kibali mu...

Sozo 220x290

Omusu gunoonya kyamagero

TTIIMU y'Omusu ekyazizza Embogo, ng'enoonya kukola kyafaayo ky’okukyusa obuwanguzi bwa ggoolo 6-1, ezaabakubwa...

Abazze1 220x290

Omupiira tugutambulize ku mulembe...

ENTEEKATEEKA ez’okugaziya ekisaawe kya Vipers, ekya St. Mary's Stadium ziri mu ggiya.