TOP

Sharon weebale kunjagala

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd June 2018

NZE Ronald Kayanja nga ery’omulimu nze DJ DELO kubanga ntabula omuziki n’okufulumya ennyimba z’abayimbi. Nnina emyaka 22 nga mbeera Kajjansi.

Kola 703x422

Twayagalana ne mwanamuwala Sharon era kati omukwano gwaffe tugumazzeemu emyaka ebiri era sitoma.

Sharon andaze omukwano gwonna ogw’ekimmemette era agumiikirizza embeera yange ey’obwavu nga sirina ssente naye abaddewo ku lwange.

Alina ekisa ekitagambika, omukwano n’ebirowoozo ebizimba nga bwe mbeera olunaku lwange terugenze bulungi naddala mu bya ssente ku mulimu, bw’abeerawo byonna mbyerabira.

Siryerabira lunaku mwana muwala ono nga twakatandika okwagalana nga sinnaba na kumuwaayo wadde n’ekirabo, yangulira empale n’essaati eby’ebbeeyi nga singa yali muntu mulala, yandibadde agamba mu mutima gwe nti, “okumugulira nfuniramu wa?’’.

Okuva lwe namusisinkana ne twagalana, obulamu bwange bwakyuka kubanga mbeera musanyufu buli kiseera wadde nga waliwo ebikyankalanye nsiima kubanga abeerawo n’ahhumya.

Nkubiriza abaagalana mwenna abali eyo nti ebintu ebiyimirizaawo omukwano gwammwe ne gusigala nga gugenda mu maaso kwe kubeera nga bw’obeera mu nsobi, okkiriza era ne weetondera munno ate bw’obeera nga ggwe mutuufu sirikawo busirisi kubanga okusirika kwe kusinga.

Abantu abasinga bagamba nti okwagala kye kisumuluzo ekikuuma omukwano naye nze hhamba nti okuwahhana ekitiibwa ng’abaagalana kye kisinga.

nze Ronald Kayanja nga ery’omulimu nze DJ DELO kubanga ntabula omuziki n’okufulumya ennyimba z’abayimbi. Nnina emyaka 22 nga mbeera Kajjansi. Twayagalana ne mwanamuwala Sharon era kati omukwano gwaffe tugumazzeemu emyaka ebiri era sitoma. Sharon andaze omukwano gwonna ogw’ekimmemette era agumiikirizza embeera yange ey’obwavu nga sirina ssente naye abaddewo ku lwange. Alina ekisa ekitagambika, omukwano n’ebirowoozo ebizimba nga bwe mbeera olunaku lwange terugenze bulungi naddala mu bya ssente ku mulimu, bw’abeerawo byonna mbyerabira. Siryerabira lunaku mwana muwala ono nga twakatandika okwagalana nga sinnaba na kumuwaayo wadde n’ekirabo, yangulira empale n’essaati eby’ebbeeyi nga singa yali muntu mulala, yandibadde agamba mu mutima gwe nti, “okumugulira nfuniramu wa?’’. Okuva lwe namusisinkana ne twagalana, obulamu bwange bwakyuka kubanga mbeera musanyufu buli kiseera wadde nga waliwo ebikyankalanye nsiima kubanga abeerawo n’ahhumya. Nkubiriza abaagalana mwenna abali eyo nti ebintu ebiyimirizaawo omukwano gwammwe ne gusigala nga gugenda mu maaso kwe kubeera nga bw’obeera mu nsobi, okkiriza era ne weetondera munno ate bw’obeera nga ggwe mutuufu sirikawo busirisi kubanga okusirika kwe kusinga. Abantu abasinga bagamba nti okwagala kye kisumuluzo ekikuuma omukwano naye nze hhamba nti okuwahhana ekitiibwa ng’abaagalana kye kisinga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam