TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebimazeewo essanyu ly’okuzaala ensangi zino

Ebimazeewo essanyu ly’okuzaala ensangi zino

By Musasi wa Bukedde

Added 5th June 2018

OMUWALA: ‘Daalingi, daaringi..ndi lubuto...; Omusajja: ‘ooh.. nooo....’. Ako ke kamu ku bulango obutera okukubwa ku leediyo ez’enjawulo akalaga nti omusajja si mwetegefu kuzaala. Nazzikuno ng’omukazi okufuna olubuto liba ssanyu jjereere ku njuyi zombi.

Untitled1 703x422

Omukazi ng’aba musanyufu kuba kya butonde buli mukazi okwagala okuzaala n’okulabirira omwana gw’azadde, ate nga ku ludda lw’omusajja naye aba musanyufu okumuzaalira abaana kubanga y’engeri gy’asobola okugaziya famire ye.

Era mu biseera by’edda ng’omusajja azadde abaana abangi ayogerwako ng’omusajja omutuufu era nga bw’abeera mu banne bamussaamu ekitiibwa. Wabula ennaku zino omukazi asooka kulowooza nnyo oba nga ddala anaamalako nalwo.

Ate abasajja nabo bangi okumugamba nga bw’oli olubuto atandika okukiraba nga kizibu ddala, era abamu batuuka n’okuwaliriza abakazi okuggyamu embuto nga beekwasa obutaba na busobozi kulabirira mwana anaaba azaaliddwa.

Abasajja abamu bw’alaba ng’omukazi alemeddeko abamu batuuka n’okubaddukako ne babaleka mu nnyumba olwo mukazi wattu bw’aba talina busobozi ne yeesanga mu matigga n’atuuka n’okusabiriza asobole okufuna ky’alya.

Ye omukazi ne kamutanda n’azaala abaana babiri oba basatu, abasajja abamu ateekako kakokola tondeka nnyuma n’ataddamu wadde okumuwuliza.

Olw’embeera eno, abawala n’abakazi abamu basalawo okukozesa enkola za kizaalaggumba okwewala okufuna embuto, si lwakuba tebaagala baana, naye lwakuba tebeekakasa oba nga banaasobola okubaawo n’abaana be bazadde.

KIKI EKIREESEEWO EMBEERA Y’ABANTU OBUTAYAGALA KUZAALA

Ebyenfuna ebikalubye

Omukazi w’olubuto yeetaaga endabirira ey’enjawulo okukuuma omwana ali mu nda nga mulamu bulungi ssaako nnyina. Kino kyetaagisa ssente okubaawo kubanga ebikozesebwa byonna n’okugenda okunywa ddagala byonna byetaaga ssente.

Ate bw’atuuka okuzaala, oteekwa okubaawo ne ssente eziri wakati wa 500,000/- n’akakadde okubeera omugumu nti ddala tojja kufuna buzibu.

Ate bwe kabatanda omukyala n’alemererwa okusindika omwana ne bamulongoosa, olwo ssente ziba zeekubisizzaamu ng’emirundi ebiri.

Ebikozesebwa ng’omwana azaaliddwa nabyo bya bbeeyi.

Okugeza ennaku zino abaana babambaza ppampa, batono abakyabasiba nnappi. Bw’oba okozesa ppampa zino, buli wiiki osaasaanya ekitono ennyo 7,000/- okugula kapaketi akatono. Bw’obalaabalamu okutuusa omwana w’awereza emyaka ng’ebiri nga takyetaaga kwambala ppampa, oyinza okuba ng’osaasaanyizza 672,000/- !

Amata omwana gaanywa naddala nga tonnatandika kumugabirira mmere ndala, nago ga buseere. Kuno bw’ogattako ebirala ng’obuugi, amagi n’emmere endala, ensawo yo bw’eba tenywedde bulungi oyinza okulemererwa.

Okusoma. Ng’oggyeeko okulabirira omwana ng’akyali waka, bw’atuuka mu kiseera ky'okusoma ate kiyitirira!

Ennaku zino omwana okumutandisa Nnasale ekitono ennyo osaasaanya emitwalo 25 so nga waliwo na'abasasula akakadde.

Olwo bw’oba n’abaana abasukka mu bataano, ssente oteekwa okuba nazo oba si ekyo bayinza okukulema okusomesa, okuggyako ng’osazeewokubasomeseza mu masomero ga Bonnabasome.

Abaami obutafaayo kulabirira baana.

Emu ku nsonga enkulu ezigaana abakyala okuzaala ensangi zino kwe kuba ng’abasajja abamu tebakyafaayo kulabirira baana baabwe wamu n’abakyala.

Kino oluusi kibaawo kubanga omusajja akitwala nti olw’okuba omukazi akola noolwekyo asobola okwerabirira wamu n’abaana.

Eno y’ensonga lwaki abakazi bangi baddukira ku poliisi ne mu kkooti nga baagala bakake abasajja okulabirira abaana baabwe, era ab’ekika kino oluusi obuyambi babutwala ku poliisi oba mu kkooti olwo abaana n’abakyala gye babuggya.

Abakyala okukola.

Edda omulimu gw’omukazi omukulu kwabanga kuzaala n’okulabirira awaka. Wabula ennaku zino, abakazi bangi bakeera kunoonya ssente.

Wadde ng’abasajja baba bakola naye kizibu ensangi zino okusanga omukazi atuula awaka n’alinda omusajja okuleeta buli kimu.

Olw’okuba abakazi bakola ate nga bangi bakolera wala okuva awaka gye basula, beesanga nti bw’azaala akaluubirizibwa okutuukiriza emirimu gye. Era abamu bw’azaala abala emyaka ng’ebiri egimufiiriridde okutuusa ng’omwana avuddemu.

Omukyala ali mu mbeera eno bw’aba afubye nnyo azaalayo abaana nga babiri ng’abivaako olwo nga yeefunyirira kulabirira abo nga bw’akola emirimu gye.

Okuzaala oluusi kutunuulirwa ng’ekimu ku bikaddiya abakazi.

Kino kitegeeza nti essanyu omukazi lye yandifunye ng’afunye olubuto ate atandika kweraliikirira okukaddiwa. Waliwo n’abagaana okuyonsa abaana baabwe nga batya amabeere gaabwe okugwa n’okufuuka sitookisi.

Ab’ekika kuno bw’afuna olubuto aba atya ffi ga ye okufa era bw’aba akuyambye azaalayo omu oba babiri olwo ng’adda ku famire pulaaningi okwetangira okuddamu okufuna olubuto.

Abasajja obutaba na ntegeka nnambulukufu ku ndabirira y’amaka n’abaana.

Kimanyiddwa nti omwana bw’azaalibwa abazadde bombi bavunaanyizibwa okumulabirira, wabula buvunaanyizibwa bwa musajja okuleeta ekinene, kuba omwana oyo azaaliddwa abeera wa kika kye.

Edda omuvubuka bwe yasajjakulanga nga bamuwa ekibanja w’azimba era ng’awasa n’omukazi. Wabula ennaku zino, omusajja ayinza okuwasiza mu muzigo n’alemwa okuzimba. Ow’ekika kino buli lw’alaba omukazi ng’afunye olubuto alaba amwongerako buzibu.

Ate ku ludda olulala, olw’okuba oluusi abasajja tebaba na nteekateeka ennungamu ey’okulabirira amaka, kitiisa abakazi okugenda mu maaso n’okuzaala nga tebakakasa oba ng’omusajja anaasobola okulabirira obulungi abaana baabwe.

Caroline Alinaitwe ow’omu Kampala yagambye nti ensonga enkulu etiisa omukazi okuzaala kwe kulaba nga gw’agenda okuzaalamu talina nteekateeka nnuηηamu eneerabirira abaana. Kizibu omukazi okugaana okuzaala ng’omusajja gw’alina alinawo ke yeekoledde.

Ate Zaitun Bunti Haruna kansala w’abakyala e Mutongo II yagambye nti abakyala tebakyazaala kuba tebalina busobozi kulabirira baana ate nga tebaba na bukakafu oba nga kitaabwe anaabalabirira.

Noolwekyo okwewala embeera y’okusika omuguwa ku nsonga y’abaana kyandibadde kirungi ne musooka mukkiriziganya ku baana be mwandyagadda okuzaala Mukama ng’ayagadde, okwewala okunyiigira munno n’okusitula olutalo ng’olaba afunye olubuto nga toyagala oba ng’agaanyi okuddamu okuzaala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Youngmulo 220x290

Akabinja ka Young Mulo kabadde...

AKABINJA ka Young Mulo, mu myezi mukaaga gyokka kabadde kaakatta abantu 11 mu Makindye ne Lubaga wokka!

Siiga 220x290

Boogedde ebifo gye batunda pikipiki...

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Mulo ne banne baabagambye nti pikipiki ze babadde babba...

Yomba1 220x290

Aba Flying Squad bakutte omulala...

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Flying Squad Unit bongedde okukwata abagambibwa okutta ababodaboda n’okubabba. Ku...

Dybala 220x290

Juventus etaddewo obukwakkulizo...

ManU eyagala kugula Dybala wabula Juventus egamba nti erina okutuukiriza obukwakkulizo bwonna bw'eba yaakumutwala....

Temu 220x290

Alondodde mukazi we gye yanobera...

OMUSAJJA alondodde mukyala we gye yanobera n’amusala obulago n’amutta ng’amulanga kumukyawa.