TOP

Obubonero bw'ebizimba mu nnabaana

By Musasi wa Bukedde

Added 5th June 2018

ENNAKU zino abakyala bangi bagamba nti balina ebizimba (fibroids) era n’abasawo abajjanjaba ebizimba bangi ddala, naye ate mw’abo mulimu n’abatamanyi kye bajjanjaba nga bwe mumanyi.

Kwatako 703x422

Ebizimba bino omukazi abifuna ku nnabaana. Oluusi ebizimba bino biba binene ddala era n’omukyala n’atandika n’okuvaamu omusaayi mungi ng’alwala omwezi era n’afuna n’obulumi bungi.

Ebizimba bino newankubadde abasinga balowooza nti bivaamu kkansa, kino si kituufu. Kirowoozebwa nti abakyala kumpi 70 ku 100 baba n’ebizimba nga tebannaweza emyaka 50.

Kino kitegeeza nti abakyala bangi balina ebizimba naye tebakimanyi naddala bw’aba tafunye kabonero konna nga okulumwa oba okuvaamu omusaayi omungi ng’oli mu nsonga z’abakyala. Ebizimba birimu ebika.

Waliyo ebikulira ku ngulu kwa nnabaana, ate endala zibeera munda mu nnabaana ate endala zikulira wakati mu nnyama.

EBIZIMBA OMUKAZI ABIFUNA ATYA?

Tekimanyidwa bulungi lwaki omukyala afuna ebizimba, naye waliwo ebintu ebirowoozebwa nti bireeta ebizimba.

Mu mbeera ey’okuzimba nnabaana buli mwezi, kirowoozebwa nti ennyama eyinza okutandika okukula yokka n’efuuka ekizimba.

Ate era kimanyiddwa nti ebizimba bya nsikirano. Maama wo oba ssengawo bw’aba yafuna ebizimba naawe oba n’omukisa munene okubifuna.

Ate era ng’oli lubuto kubanga nnabaana akula okusobola okubeeramu omwana oluusi okukula kuno kuvaamu ebizimba.

ANI ALINA OMUKISA OMUNENE OKUFUNA EBIZIMBA

  • Omukyala ng’asussa emyaka 30.
  • Abakyala abanene oba abawala abanene.
  • Oluusi biba bya nsikirano.
  • Abakyala abalwawo okuzaala n’otuuka emyaka nga 28 nga tonazaala.

BUBONERO KI OBULAGA ALINA EBIZIMBA?

  • Okulwala omwezi nga tovaamu.
  • Oba oyagala okufuka buli kiseera
  • Naye bw’obeera n’akazimba nga katono ate ng’oli kumpi okulekeraawo okulwala omwezi obuzimba obwo bukendeera era oyinza n’obutafuna kabonero konna. Obubonero bw’ebizimba mulimu;
  • Bw’obeera n’ebizimba nga biri mu nnyama ya nabaana, bireetawo okuvaamu omusaayi omungi ng’oli mu nsonga era oluusi kiba kizibu okufuna olubuto.
  • Okuvaamu omusaayi omungi ng’oli mu nsonga n’ebiseera ebimu nga toli mu nsonga. Ofuna obulumi mu bitundu ebyawansi oba mu kabuuto akatali ka mmeere.
  • Ofuna obulumi bwe weegatta.
  • Okuzimba mu bitundu nga mu ndiira oba ekifo ekibeeramu nnabaana.

ENZIJANJABA Y’EBIZIMBA MU NNABAANA

Okusookera ddala okumanya nti olina ebizimba, omusawo alina okukukebeera ng’akozesa ‘ultra sound’ oba ‘pelvic MRI’(Engeri esobola okulaba ebiri mu nnabaana.) Era omusawo ayinza okukubuulira oba ebizimba by’olina byetaaga okulongoosa oba bisobola okubeeramu nga tofunye buzibu.

Omusawo bw’alaba nga ddala bibi, asobola okusalawo okubiggyamu naddala nga bikuleetera obulumi.

ALINA EBIZIMBA KOLA BINO

Omukyala oba omuwala alina ebizimba mu nnabaana alina okukola bino. Weewale okulya ennyama n’ebintu ebirimu amasavu.

Olina okunywa ennyo amajaani ga ‘green tea’, okulya ebibala n’enva endiirwa. Olina n’okukendeeza omugejjo.

Naye ng’abasawo basobola okukuteeka ku ddagala, okukulongoosa ate bw’ofuna olubuto ng’olina ebizimba, omusawo olina okumugamba n’akimanya naye ng’ebiseera bingi tebirina mutawaana era kiba kirungi ne bakulongoosa ng’ozaala olwo nabyo ne babiggyamu ne weewala okukulongoosa emirundi ebiri.

Wabula abakyala mwegendereze abafere abajjanjaba ebizimba mu nnabaana nga n’abamu beefuula nti basobola okubiggyamu n’engalo.

Kino tekisoboka kubanga engalo tezisobola kutuuka mu nnabaana okuggyako nga bakulongoosezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana