TOP

Gwe natwala e Juba yanzirukako

By Musasi wa Bukedde

Added 7th June 2018

NZE William Mwiru, ndi mu nnaku olw’omuwala eyandaga obuyaaye. Omuwala ono twasisinkana ku mulimu gye nali nkolera e Nabweru ne mukwana era ne tusiimagana. Mu kiseera ekyo nali nkolera ku ssundiro ly’amafuta ate nga ye atunda byakulya.

Sala 703x422

Mwiru

Yali mubalagavu nga nzaalwa y’e Rwanda era nga tamanyi kwogera bulungi Luganda wabula ne muyigiriza n’atandika okulwogera obulungi. Twasalawo okukola naye obufumbo ng’omukwano gw’ewala gutukeese.

Ekiseera kyatuuka ne nfuna omulimu e Juba mu South Sudan. Bwe nagendanga okukola namalangayo emyezi ena, ne nkomawo awaka ate ne nzirayo.

Namusindikiranga obuyambi ne ssente ezikola ku byetaago by’awaka era ng’ebisinga obungi tubimalira ku ssimu.

Olw’okuba nali nkolera wala ate nga kintwalira ekiseera okudda awaka okusisinkana mukyala wange, ekiseera kyatuuka n’ansaba mutwale e Juba tusobole okubeera awamu tunyumirwe bulungi laavu yaffe.

Bwe namutuusa e Juba mu Sudan, namufunira omulimu n’atandika okukola ng’atunda byakulya mu kifo ekisanyukirwamu. Okusooka ebintu byali bitutambulira bulungi era ng’afuna bakasitoma bangi ddala.

Wabula embeera z’omukazi zaatusa ekiseera ne zikyuka ng’atandise okumanyiira ekitundu gye yali akolera, yafuna abasajja abamukwana.

Yatandika obutampa kitiibwa nga n’awaka yeeyisa nga bw’ayagala ate nga tagambwako.

Yatandika okuyingira amatumbibudde awaka ate nga bwe munenyaako ng’ayomba ate olumu ng’abasajja be bamukomyawo.

Bino byatuyombyanga n’oluusi okulwana era nalaba ankaluubiridde kwe kumutegeeza nga bwe nali ηηenda okumukomyaawo mu Uganda nga mpulira nkooye embeera z’omukazi.

Bino olwamugwa mu matu, yakeera kusibamu bibye n’abulawo. Saddamu kumuwuliza n’okutuusa kati.

Wabula okuva lwe twayawukana n’omukyala obw’omu okuva lwe twayawukana mpulira mbukooye nga nnoonya omukyala atanjuze nga ssi muyaaye ate nga mwetegefu okukola obufumbo.

Alina okubeera nga yasomako nga mukozi, atazaalangako kuba nange bwendi ate nga tasussa myaka 27. Ssimu 0704599066.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bg5 220x290

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018...

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018 gugguddwaawo e Lugogo: Gwakumala ennaku 3

Laba 220x290

Bp. Ssekamaanya akuutidde ab’e...

OMUSUMBA Mathias Ssekamaanya ayimbye Mmisa e Bungereza n’akuutira Bannayuganda ababeerayo okunyweza obumu.

Ltd 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE ...

Bazudde ebipya ku kuttibwa kwa Andrew Felix Kaweesi ebiwuniikiriza. Mulimu ebikyuse mu nnaku 100 Ochola z’amaze...

Whatsappimage20180622at25800pm 220x290

Balaze emibiri mu mwoleso gwa Bride...

Ebyana biwala biraze emibiri ku mukolo gw'okuggulawo omwoleso gwa Bride and Groom ogutegekeddwa Vision Group ku...

Lindwa 220x290

Mulindwa bamuloopedde abazannyi...

VIPERS olwawangudde ekikopo kya Azam Uganda Premier League, abamu ku bazannyi baayo ne bateekawo obukwakkulizo...