TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nasuula layini yange ey’essimu lwa muwala kunnemerako

Nasuula layini yange ey’essimu lwa muwala kunnemerako

By Musasi wa Bukedde

Added 8th June 2018

NZE Ben Klibo, mbeera Kitintale. Nnina emyaka 22. Nafuna omuwala nga bamuyita Betty ng’ abeera ku kyalo kye kimu naffe era ng’amazzi tugakima mu kifo kye kimu.

Renew1 703x422

Wano we twesanganga naye buli lunaku nga musenera amazzi naye nga simugambangako kigambo kyonna nti mwagala.

Ebiseera ebyo nnali nkola wa mugagga era nga nnina enkoko ze nnunda nga zibiika amagi ge twatundanga buli lunaku era nga nze ngabala.

Olumu nawandiika akabaluwa ne nkasuula mu kkubo nga ndowooza nti anaakalaba ng’ ayitawo naye teyasooka kukalabirawo era oluvannyuma ennyo ng’ajja okusena amazzi yakalonda.

Nnali mpandiiseeko amannya gange n’agage nga mutegeeza nga bwe mwagala ennyo.

Omuwala ono yajja n’abimbuuza oba akabaluwa kano nkamanyiiko nze ne mbyegaana kubanga nnali ntegedde nti tekimusanyusizza naye oluvannyuma nakkiriza era ne mmusaba ansonyiwe.

Yansonyiwa naye n’annenya lwaki nnali nkoze ekintu bwekiti era nti ssinga abeewaabwe bakalabye byandibadde bizibu gy’ali.

Twayagalana okumala akaseera, omuwala ono n’atandika n’okujjanga ewaffe era wano baaba bwe yakimanya n’amuyombesa nnyo naye oluvannyuma n’amwesonyiwa.

Ekyasinga okuntabula ku muwala ono kwe kutandika okuwulira ebigambo nti yali ayagala mukwano gwange ne sisooka kukkiriza naye namala ne mbeekwatira.

Omuwala ono mu kifo ky’ensonyi ye yasunguwala busunguwazi nange ne mmwesonyiwa. Wabula omuwala ono yalaba mmuviriddeko ddala yasalawo okulemeranga ku ssimu yange ng’ akuba naye nze nga sigikwata era kino kyampaliriza n’okusuula layini yange era ne ngifi isiza ddala.

Yatuuka ekiseera nga takyampuliza n’anvaako olwo nange ne muwona.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...

Abasumba 220x290

Abasumba bye baatudde ne basalawo...

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa...