TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebiyinula abakazi ensangi zino ne batatya kuzaala bbali

Ebiyinula abakazi ensangi zino ne batatya kuzaala bbali

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2018

ABASAJJA bangi buli lwe bawulira abakazi abasiba abaami baabwe abaana, nabo nga bakanya okwetegereza okulaba oba abaabwe balina bye babafaananya si kulwa nga nabo balugwamu.

Sen 703x422

Abamu bw’alaba tekimumaluidde nga yebba mpolampola ng’atwala omwana oyo gw’ateekakasa ng’amukebeza endagabutonde (oba kiyite DNA) okuzuulira ddala ekituufu.

Bangi abakikola mu bubba, abakazi baleme kumanya nti bababuusabuusa, beefuula abatutte abaana okukyala awantu, okukozesa omukisa nga babatutte mu ddwaaliro bwe baba balwadde oba okugera omukazi nga tali waka okumala akaseera ne babaggyako omusaayi gukeberebwe bazuule oba abaana baabwe bwoya.

Mwattu ate kino kiyombya abakazi bangi nga bagamba nti ne bamala bakimanya, babaawo bubi n’omusajja amubuulire gye yatandikidde okumubuusabuusa.

Abasajja abalala okutuuka ku ky’okukebera omwana wabaawo obutakkaanya era omusajja bw’aba asuubiriza mukazi we obwenzi w’asabira okukebera omwana.

Abakazi nabo nga baafunye ekibanyiiza obulungi oba nga babakutte mu bwenzi ku olwo lw’ayatulira bba nti n’omwana gwe yeesibako si wuwe.

Robert Tamale eyazuula omwana atali wuwe ng’awezezza emyaka 14, agamba nti ekimu ku byasinga okumunyiiza ze nsimbi ze yayonoonera ku mwana atali wa musaayi gwe era olwafuna obutakkaanya ne mukazi we kwe kumutwala ewa kitaawe omutuufu. Abakazi abatalina nsonyi bayinza n’okusirika omwana n’atuuka n’okusikira nnyinimu ng’afudde.

Abakazi bangi ennaku zino beeyongedde okunaaba ensonyi mu maaso. Ab’engeri eno gye bakomye obutatya kubaliga gye bakomye n’obutatya kuzaala baana mu basajja abalala ne babasiba babbaabwe.

Wadde abamu bagamba nti kijja mu nsobi oluusi kye bayita ‘accident’ bangi bwe babaliga omusajja n’amusanyusa atuuka n’okweyama okumuzaalirayo omwana wadde ali mu bufumbo!

Abakazi edda nabo baazaalanga mu basajja abalala omuli n’abapakasi b’awaka abaana ne bakulira ku luggya kyokka ennaku zino omuwendo gweyongedde.

ENGERI ABASAJJA GYE BAAKUGIRANGA ABAKAZI OKUZAALA EBBALI

Ssenga Josephine Nantongo, 59, ow’e Lukaya, Kalungu mu Buddu yagambye nti obuwangwa bwayambanga kinene okutangira abakazi okuzaala mu basajja abalala ng'ali mu maka.

“Waabangawo emikolo okugeza okwalula abaana egyatiisanga ennyo abakazi okuzaala ebbali w’obufumbo.

Omusajja ne bannyina bwe baalabanga omwana ne bamwekengera nti ayinza obutaba wa waka nga bakyanika ku mukolo gw’okwalula abaana. Mu kwalula abaana baateekanga amazzi mu kibbo ne basuulamu obulira bw’abaana okuzuula oba ddala ba mu nju mw’ofumba.

Obulira bwasiigibwangako omuzigo era obwagaananga okubbulukuka nga bussiddwa mu mazzi nga kitegeeza nti omwana si wa waka.

Wadde mu nkola eno mwabeerangamu ssaayansi omukusike naye era ebiseera ebyo ng’omukyala omufumbo okukubuusabuusa okutuuka ku ssa eryo kyamalanga okukuwaliriza ne weekuuma eby’okulabankana n’obyesonyiwa ekitaliiwo kati.

Ennaku zino tokyawulira na mikolo gya kwalula baana.” Nantongo yagasseeko nti, abasajja abalala baakuumiranga bakazi baabwe mu kutya nga bagamba nti lubaale waabwe oba empewo z’ekika bwe zigwa ku mwana atali wa waka nga zimutuga. Kino nakyo kyatiisanga nnyo abakyala okubaliga.

Nantongo yayongeddeko nti; Edda twagendanga mu bufumbo nga tuvudde waka, ng’abazadde batuteeseteese bulungi ng’omuwala ategedde omwami we kye kitegeeza nga n’abalenzi bwe batyo.

Kino kyayambanga okuteekawo obugumiikiriza mu maka wadde musanze okusoomoozebwa okwenkana kutya era baatukuutiranga nti omusajja bw’akugoba mu bufumbo ng’ensonga ya kuzaala bbali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bo1 220x290

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti...

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti y'Amagye

Index 220x290

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa...

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa kkooti y'amagye lwa kulya mu nsi ye lukwe

39248881101567630827890782826876916504461312n 220x290

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola...

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola n'amakerenda g'eyise enjaga ewa Bobi Wine:'Twabisanze mu wooteri mw'abadde...

Shecranes03 220x290

She Cranes ekubye Malawi mu za...

SHE CRANES ttiimu y’eggwanga ey’okubaka enkya ya leero eyongedde okulaga nga bw'eri emmalirivu okusigaza engule...

Hip1 220x290

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza...

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza amaka ne bamubba