TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obunkenke obuli mu kwanjula omwana gw’ozadde ebbali

Obunkenke obuli mu kwanjula omwana gw’ozadde ebbali

By Musasi wa Bukedde

Added 20th June 2018

ABASAJJA bangi babeera ku nkato okwanjula oba okuleeta awaka omwana gw’azadde mu mukazi omulala ebbali.

6284711 703x422

Baba batya bakazi baabwe okubawalabula ng’abasinga bakulembeze kya kubaleka waka ne badda mu bwenzi gye bazaalira abaana abo. Mulimu n’abakazi abamu abasanga omusajja nga yazaala dda abaana be kyokka bw’aba tabasanze waka, okubaleetawo nalwo luba lutalo.

Nnina mukwano gwange Andrew eyazaala mu mukazi omulala atali wa waka kyokka omwana bwe yaweza emyaka ebiri nnyina ne yeecanga ng’afunye omusajja omulala agenda okumuwasa.

Omukazi yamulumba ng’ayagala atwale omwana we ng’agamba nti talina ganaagenda na ‘mpeekera’ ow’omusajja ateekateeka okumukuba embaga.

Andrew bwe yeebuuza ku banne eky’okukola kwe kumugamba amire ppini amutwale awaka kyokka engeri gye yali amanyi mukazi we bw’awalabuka ne gasooka gamwesiba. Nnyina w’omwana bwe yatiisa okumumusuulira ku mulimu kwe kusiba ppini ensonga n’azitegeeza maama w’abaana awaka.

Babeera balya ekyeggulo Andrew kwe kutandika; ‘Munnange nno Mummy tulinayo eyo omwana gwe twafuna….’’ Kyokka abeera tannabimalayo omukazi n’amwambalira.

‘Ekiki kye mpulira mu mantu gange….. nti tulinayo omwana? Ggwe naani…… eee ssebo oyagala kutegeeza ki…? Ate tewawasa embuzi yo…. Ssebo leeta ndere.

Ne bw’ogenda kudda kiro buli lunaku ng’oli mu bwenzi. Bannange kale mpulira abasajja mwongedde okuntama… babuulire kunzunza ‘gundi’ zaabwe nga bazitabaaza mu mukazi ono n’oli….’

Andrew yalaba omukazi ayongera kutabuka kwe kwefuula azirise n’akkirira mpola ku ntebe kwe yali ne yeesuula ku sseminti olwo n’atandika okussa ng’aliko ebimutuga.

Andrew agamba nti yalina n’okwefukira okukakasa omukazi nti ddala afunye ekizibu era ekyaddirira mukazi kutandika kumuwujja.

KIKI EKIREETAWO EMBEERA ENO

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abantu yagambye nti wadde bangi tebakimanyi, naye kizibu omusajja okuzaala ebbali ng’akigenderedde.

Emirundi egimu ziba nsobi ze bagwamu okuva mu kwegomba kuba omusajja yenna bw’alaba omukyala amwegomba ekivaamu kumukwana n’ekigendererwa ky’okumwagalako obwagazi ate n’azaalirayo mwana oba abaana.

Abasajja abamu okugwa mu kukemebwa ekw’ekika kino mulimu abakola emirimu gya ssafaali, ng’abavuzi b’ebimotoka, abakozi ba gavumenti abasindikibwa okukolera ewala n’amaka gaabwe, abakolera mu ofi isi omuli abawala nga bawandiisi baabwe n’abalala.

ABAANA KIRUNGI BAKULIRE WAMU

Mukisa yagambye nti kirungi era kituufu abaana bonna bakulire wamu k’abeere ng’azaalidwa bbali, naye bambi abaami bafuna obuzibu mu kwanjula oba okusembeza abaana be bazadde ebbali olw’obutamanya ngeri ya kukikolamu.

Noolwekyo ali mu mbeera eno osobola okweyambisa bino wammanga n’oyanjula abaana bano ewa mukyala wo.

1 Kozessa bannyoko. Omwana osobola okusooka n’omuteeka ewa mwannyoko gw’omanyi nti akolagana ne mukyalawo, olwo ssinga mukyala wo amusangayo ono ajja kufuna engeri gy’amutegeezaamu nti oyo naye mwana wo.

2 Kozesa mikwano gyo. Emirundi mingi abakyala bakkiririza nnyo mu mikwano gy’abaami baabwe. Ssinga abaako ky’amugambye mu ngeri y’okumubuulirira, akitwala mu mutima mulungi. Era bw’eba nsonga ya mwana ssinga agimugamba wayinza obutabaawo buzibu.

3 Kozesa mikwano gya mukyala wo. Bano nabo bayinza okukuyamba naddala bw’aba ng’abeesiga. Funako omu omutunuze mu nsonga eno, ajja kulaba engeri gy’amutegeezaamu.

4 Kozesa ekiseera ky’emikolo. Okuva edda emikolo gikozesebwa nnyo mu kugatta abantu era wano n’omusajja eyazaala ebbali asobola okukozesa ekiseera kino n’aleeta abaana bonna ku mukolo abantu ne babamanya omuli ne mukyala w’awaka. Ne bw’aba takimugambye era omukyala ajja kukitegeera, atandikire awo.

5 Yita mu bantu abakulu. Osobola okukozesa abantu abakulu b’omanyi nti mukyalawo abawa ekitiibwa ne bamunnyonnyola era ne bamuwa okusaba kwo olwo ne babagatta ensonga ne muzoogerako obulamu bwammwe ne bugenda mu maaso.

6 Gwe kennyini osobola okukyekolerako bw’oba n’obuvumu. Abakyala abamu tebatera kwagala kuyingiza bantu b’ebbali mu nsonga zaabwe k’abeere mugandawe.

Kati omusajja bw’omanya nti mukazi wo bw’atyo siba omutima omubuulire wabula mu ngeri y’okwenenya oba okwetonda era nkakasa ajja kukitegeera omwana omuleete awaka abeerewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abatatayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...

Smartp1 220x290

Uganda egenda kutandika okukola...

UGANDA egenda kutandika okwekolera amasimu ekkolero eriri mu kuzimbibwa mu kibangirizi ky’amakkolero e Namanve...

Laga 220x290

Enfa y’omukungu wa UN etabudde...

ENFA y’omukungu w’ekibiina ky’Amawanga amagatte etabudde aba famire nnamwandu ne bamukasukira ebintu n’abaana be...

Armed2 220x290

FMU esiimye Kabushenga

Empaka za ddigi eza ‘Armed Forces Appreciation Motocross Championship’zaaliwo mwezi guwedde n'ekigendererwa ky'okusiima...