TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ensonga 8 eziremesa omukazi okufumbirwa

Ensonga 8 eziremesa omukazi okufumbirwa

By Musasi wa Bukedde

Added 20th June 2018

WALIWO ekiseera omuwala yenna w'atuuka abantu ne baba nga bamusuubiramu okuba mu bufumbo. Wabula ensangi zino bangi ku bawala ab'ekika kino balemereddwa okwefunira eddya. Zino wammanga ze zimu ku nsonga ezivaako kino:

Landscape1454349521marriagefight 703x422

Abaagalana nga bafunye obutakkaanya

OKUBOOLA ABASAJJA

Omuwala okuba n'ekika ky'abasajja ky'ayagala omuli abagagga n'abasomye ennyo oluusi kimuviirako okulemera ku luggya.

Ow'ekika kino buli musajja amukwana nga talina bisaanyizo by'ayagala amukuba mwenda ng'enjogera y'ennaku zino bw'eri. Ekiseera kituuka n'aggwa ku mpagala ate olwo abasajja nabo ne baba nga bamuyitako ng'ataliiwo.

EMPISA Z'ABAKAZI

Empisa z'abakazi nazo zibalemesa nnyo okufumbirwa. Enjogera, enneeyisa, ennyambala, abasajja babiteekako nnyo essira nga banoonya abakazi ab’okuwasa. Abasajja baagala bakazi abalina empisa era abakkakkamu.

OKWEWULIRA OKUSUSSE

Waliwo abakazi mu butonde abatamanyi basenzi. Ab'ekika kino okwewulira babanga abaakufunamu ebbaluwa.Omukazi agwa mu kiti kino buli musajja amugambako aziimuula muziimuule.

Ow’ekika kino agenda okudda engulu ng’emyaka gimugenzeeko, era abamu batuuka ekiseera ng’abasajja bawamba bawambe.

EMIKWANO

Abawala bangi balina emikwano egy'enjawulo olumu egibalemesa okufumbirwa. Ebikoosi by'abawala naddala abatali bafumbo bavumirira eky'okufumbirwa bwe batyo ne balemesa ne bannaabwe abandyagadde.

Baagala bulamu bwa kutayaaya na kukola bye baagala nga tebalina abalemesa. Munnaabwe bw’afuna omusajja we nga batandika okumuvumirira ekivaamu ng’amuleka.

OKUSOMA ENNYO

Omukazi bw'ayitiriza okusoma okutaggwa kuyinza okukulemesa okufumbirwa.

Okusoma kulungi naye kikwetaagisa okubaako w'otuuse n'okufumbirwa n'osobola n'okuzaala ku baana ng'okyasobola okubalabirira. Abasajja bangi batya n'abakazi abasomye ennyo nga balowooza nti bayinza okubagaana.

EDDIINI ESUSSE

Ekintu kyonna bwe kiyititira kibaako ebizibu ebijjirako. N’eddiini teyandibadde mbi naye ate abasajja abamu bwe balaba omuntu naddala omukazi alimu ennyo eddiini, batya okumwesembereza bwatyo n'atuuka n'okukaddiwa nga tafunye amunyega ku nsonga za laavu.

OBUGAGGA OBUSUSSE

Obugagga bulungi naye buli mukazi bw'abeera mu ssente ennyingi, abasajja batandika okumutya. Okusobola okufuna obufumbo ssente ne bwe ziba zikuyitaba tozikulembeza nnyo.

EMIKWANO GY'ABASAJJA

Omukazi bw'ayitiriza okuba n'emikwano gy'abasajja, abalala abandyagadde okumusaba omukwano baggyayo ebirowoozo.N’olwekyo ggwe omukazi ali ku mudaala tewandimaze bbanga ddene na basajja naddala nga tekuli muganzi wo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...