TOP

Baze yandeetera abaana 6 mbakuze

By Musasi wa Bukedde

Added 20th June 2018

NZE Omumbejja Peninah Nabaloga 53, mbeera Kawaala. Nasisinkana baze nga kati mugenzi mu 1983 ne tubeera ffembi mu bufumbo wadde tebwali bwa mpeta okutuusa mu 1991 bwe yafa.

Matao 703x422

Bwe namufuna twamala ebbanga ttono era mba ndi lubuto lwange olwasooka nga lwa myezi nga 6 yasooka n’antegeeza nti alina by’ayagala tukkaanyeeko naye n’ansaba musonyiwe bw’aba annyizizza ne nzikiriza.

Yaηηamba nti alinayo abalongo abalenzi be yazaala nga tannanfuna nti era ba myaka munaana.

Yansaba abaleete awaka tukendeeze ku kusaasaanya gye yali abaweera obuyambi. Namusaba nti bw’aba aleese abaana aleme kundekera buvunaanyizibwa bw’okubagunjula tubakulize wamu kuba nze jjajja azaala maama yali yazaala mu bakyala bataano nga nkimanyi omusajja okuzaala ebbali kya bulijjo.

Kyokka ekyasinga okunneewuunyisa omuntu eyansaba okuleeta abaana ababiri, yaleeta bana nga kuliko abalongo abaali balenzi, n’abawala babiri.

Yajja ne mukwano gwe ne bansaba abaana tubakulize wamu ne nzikiriza. Bwe waayitawo ebbanga yaddamu n’andeetera abalala babiri, omulenzi n’omuwala. Bino byonna byaliwo mu myaka munaana gye twamala ffembi.

Bwe yandeetera abaana abasembayo kyampisa bubi naye olw’okuba nali nkimanyi nti omulimu gw’omwami wange mukozi wa ssaffaali nakigumira.

Okuva kw’abo teyaddamu kundaga baana balala ne tubeera n’abo nange nga bwe nzaala kuba nze nazaala abaana bataano. Abaana bonna twabalabirira kyenkanyi kuba sijjukira kumulaba ng’asosola mu baana.

Katonda yannyamba nga nabo banjagala kuba nabayisanga bulungi okutuusa mu 1991 baze lwe yafa.

Mu lumbe baaleetayo abaana babalala 4 okuva mu bakazi abalala babiri olwo ne bawera abaana 15 okuva mu bakyala 5 naye teyandaga ku mukyala n’omu ebbanga lye nnamala naye wadde nga baaliyo kuba ku baana bonna tekwali bamulekwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo