TOP

Kasozi eyansuutanga andabizza ennaku

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd June 2018

NZE Jessica Namutebi, nnina emyaka 25, mbeera Gayaza. Oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo gyange, nafuna omulimu gw’okutunda engoye z’ebitengi mu dduuka ly’Omuyindi wano mu Kampala.

Were 703x422

Ku mulimu gwange guno, gye nafunira omuvubuka eyali amanyiddwa nga Kasozi eyansooseka obugambo bwa laavu obwansumulula ne mmanya nti Katonda ampadde kye nnasaba edda.

Twayagalana nnyo n’omuvubuka ono ne mwesiga nga simanyi nti ndi ku muyaaye eyali ayagala okulya ebyange adduke. Mu ntandikwa, yandaga omukwano ogw’ekimmemmette.

Ekyanzigya enviiri ku mutwe, oluvannyuma lw’okufuna olubuto, natandika okuwulira ebigambo nti alinayo omuwala omulala gw’apepeya naye nga kati mpulira nti babeera Kasubi.

Ekyo tekyandinnumye naye Kasozi tewali kyampa wadde okulabirira omwana kati ali mu mwezi musanvu nga ffembi tatufaako.

Kyokka nga nnina okunoonya ssente z’okulya n’okusasula ennyumba. Sikyasobola kudda wa kitange kuba eky’okuva awaka nga tanzikkirizza kyamunyiiza n’okutuusa kati.

Nasalawo okwesonyiwa era kati obudde bwange mbumalira ku mwana wange okulaba nga muwa buli kye yeetaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke