TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obubonero kw’olabira ng’omuvubuka akwegwanyiza mucanzi w’abawala

Obubonero kw’olabira ng’omuvubuka akwegwanyiza mucanzi w’abawala

By Musasi wa Bukedde

Added 27th June 2018

EMIRUNDI mingi abawala batera okukaabira amaziga mu mukwano, olw’obutegendereza bantu be bagwa nabo mu mukwano.

Toko 703x422

Bano baabadde ku Spena Beach e Ntebe.

Babaagala bitole kyokka mu kaseera katono ne babamenya emitima nga si lwakuba nti babakyaye wabula lwakuba bakizudde nti babagattika.

Omuvubuka omucanzicanzi w’abawala ebiseera ebimu y’asinga okwegonza era batera okuba abayonjo ennyo nga kizibu okumukwata ensobi n’omutebuka.

Wabula bw’oba weegenderezza waliwo ebintu bye batera okufaanaganya nga bw’oba okitaddeko essira osobola okumutebuka mu ntandikwa nga tonnagenda wala naye wadde aba akwagala naye abeera tagenda kukwagala wekka.

Buno wammanga bwe bubonero kw’olabira nti omuntu gwe weegwanyiza mu kukyanga abawala wa bbaluwa.

  1. Omukwano gwammwe agufuula gwa kyama Abavubuka bangi ssinga afuna omuwala nga gw’alina yekka era nga gw’ayagala okubeera naye, afuba okulaba ng’amuteeka mu lujjudde banne basobole okumulaba nti naye waali ate amugobeko n’abalala kyokka oyo yenna ng’alinayo abalala b’ayagala afuba okulaba nga omukwano gwammwe agukuuma nga gwa kyama gw’alina omulala si kulwa ng’akimanya.
  2. 2. Otandikirawo okufuna engambo z’abawala abalala b’ayagala Emirundi mingi omuntu w’omuze gwe gutera obuteebulizaayo era wadde ng’omuntu oyo abeera takugambye butereevu emikisa gy’okubiwulira mu ηηambo guba mingi. Wabula abawala abasinga bino ne bwe babimanya mu ntandikwa omukwano gubaziba nnyo amaaso ne batafaayo kuzuula kituufu, bakitegeera luvannyuma.
  3. 3. Tagoberera bintu byo by’oteeka ku mikutu gy’ebyempuliziganya Ennaku zino emikutu gino abaagalana gye bakomye okugikozesa okwefunirako ate era gye gikomye n’okuyiwayo abenzi. Abamu okwewala okukwatibwa batera okugaana okugoberera ebintu by’abo be babeera baagala nga batya okumanyisa abalala be baagala ate nga nabo kwe bali ku mikutu egyo era bw’alaba nga kye wataddeyo kirungi okuwaana ajja munda mu ssimu yo oba face book n’akyogerera eyo.
  4. 4. Asinga kwogerwako ng’omuvubuka asinga okwagala abawala Kino kisinga nnyo ku bawala abakwanwa abalenzi ku yunivasite oba abakwanibwa abalenzi ku mirimu gye bakolera. Noolwekyo ssinga omulenzi oyo gw’oba ofunye osanga nga mu byafaayo omuvubuka kye yandiyise mu bitabo by’ekifo ekyo ayogerwako ng’omuntu akyasinze okwagala abakyala ne bw’aba talinawo muwala essaawa eyo manya emikisa gyo egy’okufuna omucanzi w’abawala giri waggulu. Bwe kiba kisoboka mwenenye okuwonya omutima gwo.
  5. 5. Bwe mubako mwenna akukweka essimu ye oba takukkiriza kugitunulamu. Omuvubuka ng’alina abawala balala afuba nnyo okulaba nga totunula mu ssimu ye. Okugeza bw’aba awandiika obubaka bw’essimu afuba okulaba nga totunula mu byasoma olwo kitegeeza muli bangi b’akwasaganya (ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri) mu kiseera kye kimu kuba mwenna mumanyi alina obudde.
  6. 6. Emikwano gye egisinga ku Sadik Ntale; Omuvubuka yenna nga ddala akwagala era talina mulala gw’atya kunyiiza abeera akugoberera nnyo by’oteeka ku mikutu gy’ebyempuliziganya kuba aba ayagala okukakasa abalala nti yaliwo naye atakikola aba mucanzi w’abawala. mikutu gy’ebyempuliziganya babeera bawala Kituufu omuvubuka yenna abeera agobererwa ennyo abawala naye waliwo abasussa nga bwe giba mikwano ku “facebook” ebitundu 95 ku 100 bawala era bw’aba ataddeyo ekifaananyi abawala be basinga okukyogerako, omulenzi ow’ekikula kino emikisa gye mingi okuba omucanzi w’abawala era bwe kiba kisoboka omwetegula nga tonnakaaba.
  7. 7. Bw’oba naye abeera nnyo ku ssimu Abavubuka abacangacanga abawala batera nnyo okubeera ku ssimu obudde bwabwe obusinga era bw’omubuuza ky’aba akola mu biseera bye ebyeddembe akugamba abeera ku ssimu nga naawe bw’oba naye ky’akola. Ate bw’omuweereza obubaka bwo ku ssimu nga toli naye alwawo okuddamu, kitegeeza nga bwakwasaganya abangi.
  8. 8. Bazadde bo basobola okwekengera ebigendererwa bye Abawala bangi batera nnyo okuziimuula okulabulwa kwa bakadde baabwe nga bafunye abalenzi wadde ng’emirundi mingi omuzadde kimubeerera kyangu mu kutegeera kwe okumanya nti muvubuka gw’oba ofunye si mutuufu. Abazadde abamu bamanyi okukibuulira abawala butereevu nti abalenzi be balina bacanzi b’abawala naye abawala ne batawuliriza so nga eriiso ly’omukulu.
  9. 9. Afuba nnyo okulaba nga tawabaawo kabonero kakasa mukwano wakati wammwe Obumu ku bubonero abavubuka bwe batera okukozesa okulaga omukwano kwe kubawa obuntu okugeza; obukomo obuliko amannya gaabwe nabo era ne bambala agaabwe, okubateekako obuweta kyokka ssinga omulenzi aba tayagala buntu nga buno oba nga bw’omuwa akakomo akaliko erinnya lyo tasobola kukambala, manya olina abalala bogenda okumugabana nabo b’atya okulaba ebintu ebyo bamubuuze gye yabiggye. Kansala Shamim Namuli e Kyengera omukugu mu nsonga z’abavubuka agamba nti abawala ennaku zino bakaabira nnyo amaziga mu mukwano olw’obutafuna baagalwa batuufu ng’ obuzibu buva ku kwagala bavubuka nga basuubira babaagala bokka kyokka ate ne beesanga nga babaagala bangi. Abawala baba basobola okutebuka abavubuka bano ssinga beegendereza embeera zaabwe ezoogeddwaako waggulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte