TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebinyiga abasajja mu maka ne bafa ekimugunyu

Ebinyiga abasajja mu maka ne bafa ekimugunyu

By Musasi wa Bukedde

Added 27th June 2018

NZE Peter Okwera 31, mbeera Agago. Mmaze ne mukyala wange emyaka 13 era tulina abaana basatu. Twatandika okwagalana nga nze nnina emyaka 18, ate nga munnange wa 16.

Bata 703x422

Omukazi ng’afunyizza ekikonde okukuba omusajja.

Emyaka ebiri egyasooka twali mu ssanyu nga tuteesa bulungi era ng’ampuliriza. Naye ekiseera kyatuuka nga takyampulira anvuma, tanjoleza, tanfumbira nga yeefumbira n’abaana be.

Bwe nalaba kimpitiriddeko ne nsalawo ebiseera byange okubimaliranga mu bbaala nsobole okuwummuza ebirowoozo. Munnange yeeyongera okumpisa obubi n’atuuka n’okunsibiranga ebweru, abaana nga yabagaana okwogera nange.

Obulamu bwankaluubirira ne neetamwa ne ntuuka n’okwagala okumuviira. Embeera eno nagibeeramu okumala emyaka etaano nga tetwenyega awaka nga ne bwemba njagadde okumunyega tayagala kunyumya nange.

Abasajja bangi abalinga Okwera abatulugunyizibwa mu maka naye ng’ebiseera ebisinga basirika olw’okutya okuswala.

Kino kirowoozesa abantu nti bwe boogera ku kutulugunya mu maka, ensonga eno ekwata ku bakazi mpozzi n’abaana.

Musa Lule Ssembatya ow’e Mpereerwe yagambye nti embeera y’okutulugunya agimazeemu ebbanga naye ekyamulemye okusalira amagezi.

“Nafuna omukyala omulala emyaka esatu egiyise oluvannyuma lwa mukyala wange omukulu okundekawo. Yansanga nnina emizigo gy’abapangisa mwe nzigya ssente, wabula kati y’asolooza.

Abaana bange be yansanga nabo yabagoba awaka, tanjoleza okuggyako nga musasudde, okwegatta nsooka kumusasula, bwe ngula ebintu awaka n’atabisiima ng’andagira mbizzeeyo. Bw’aba yasazeewo kulya nnyama ne sigigula olwo nga tajja kumpa mmere, oba nga nja kusula mu ddiiro.

Ate Robert Mukasa ow’e Ntenjeru yagambye nti amaze mu bufumbo emyaka 25 era balina abaana babiri nga basoma mu yunivasite naye yasalawo nti taligattibwa na mukazi we empeta olw’engeri gy’amuyisamu.

“ Omukyala oyo lumu twayombamu katono n’ankuba amasowaani g’ebbumba ne gansala.

Ng’oggyeeko ekyo, ebbanga lye mmaze n’abaana bange tebafukamirangako ne bambuuza oba okunneebaza olw’ebyo bye mbakolera. Baatuuka n’okuntuuma amannya ge bampita okunnengezza nga bampita ‘Ddebe’, kweggamba n’obeera awaka ng’oli ku maggwa.

Rauben Muhabuzi, akulira ekitongole ekitakabanira eddembe ly’abasajja mu ggwanga ekya Mens Forum against domestic violence Uganda yagambye nti ensangi zino abasajja abatulugunyizibwa beeyongedde nga kino kivudde ku bino;

1 Obutaba na kigenderwa mu kuyingira bufumbo. Edda obufumbo omuntu yabuyingiranga amanyi ky’ayagala naye kati, omukazi ayagala kusooka kumanya ky’olina mu nsawo era bw’akizuula nti tolina aba alina kukuyisa nga kisasiro.

2 Omwenkanonkano. Abakyala ennaku zino bamanyi nti balina obuyinza nga bw’agezaako naye okwagala okulaga obuyinza omusajja n’atamuganya olwo ajja kumutulugunya okutuusa bw’anaamukkiriza okukola ye ky’ayagala.

3 Abasajja obutayogera. Olw’okuba bakimanyi nti ba maanyi, ne bw’afuna obuzibu asirika ekiwa abakazi ebbeetu okwongera okubatulugunya.

4 Ebyobuwanga byaffe biraga nti omusajja y’alina okuba n’amaanyi mu maka era y’ateekeddwa okugunjula mukazi we. Noolwekyo bwe yeesanga mu mbeera ng’omukazi amutulugunya asalawo kusirika aleme kuswala mu basajja banne.

5 Abakyala okwesiba mu bufumbo bwe batayagala. Kino kibaawo ng’omukazi obufumbo bw’alimu yeewogomyemu bwewogomi. Ow’ekika kino aba teyeeguya musajja era tafuna buzibu okumutulugunya.

6 Amateeka gasinga kwekubira ku ludda lw’abakyala n’abaana, olwo omusajja bw’atulugunyizibwa n’alemwa okufuna gy’awaaba.

7 Enjawukana mu myaka. Abasajja naddala abakuze abawasa abawala abato oluusi beesanga mu buzibu buno. Okugeza, omusajja ow’emyaka 70 bw’awasa omuwala ow’emyaka 30, ekiddirira kuba kulemwa kumumatiza mu mukwano ekivaamu okumugattako ate n’atafaayo na kumukweka.

ENGERI ABASAJJA GYE BATULUGUNYIZIBWA

Okubabba. Abakyala batulugunya abasajja nga babba ebintu by’abasajja ebikalu olwo omusajja n’abulwa gye yeekubira enduulu. Abamu bababbako ebyapa byabwe, ate omusajja bwe yeekubira enduulu mu b’obuyinza ng’olwo omukazi abamatiza ng’omusajja bw’ayagala okutunda ennyumba oba ekibanja, so nga kino oluusi tekiba kituufu.

Abakyala bamma abaami baabwe akaboozi wamu okukabaguza. Kino bakikola kuba  baakizuula nti abasajja baagala nnyo ebyokwegatta era bw’akamumma asigala awankawanka.

Okubasiba abaana be batazaala. Kino kiyisa bubi omusajja lwakuba oluusi akireka olw’obutayagala bukuubagano naye nga muli kisigala kimuluma.

Babavuma wamu n’okubavvoola mu maaso g’abaana baabwe. Kino kibayisa bubi nnyo kuba aba amanyi nti abaana bajja kumuyisaamu amaaso.

Okubamma emmere sso ng’oluusi ate be baba bagiguze oba nga yamulekedde ssente agule emmere.

Okukyayisa abaana kitaabwe. Kino abakazi bakikola okusobola okweddiza abaana babeere ku ludda lwabwe ne batandika okwogera amafuukuule ku basajja eri abaana.

Babayiira amazzi agookya n’okubasiba emiguwa, era abasajja abamu bakeera n’ebinuubule ku mibiri nga byabatuusiddwaako bakyala baabwe. Okubasiriikirira n’okubapaatiikako amannya.

Abasajja bangi nga bw’adda awaka tewaba mboozi ebagatta ne mukyala we oba n’abaana. Kino kimutulugunya obwongo kuba aba teyeeyagala. Okwendera mu bufumbo.

Teri musajja atanyiiga ng’ategedde nti mukyala we ayenda. Wabula abakazi b’ennaku zino obwenzi babukola kyere era nga ne bba akimanyi naye nga talina kya kukola.

Obutasiima omusajja ky’amukoledde. Kino kimalamu omusajja amaanyi era ne kimwennyisa omutima.

ENGERI Y’OKUMALAWO OBUZIBU BUNO

Rehma Nakiranda omukugu mu kugonjoola obukuubagano mu maka yagambye nti embeera eno esobola okuggwaawo na bino wammanga;

  • Okutandika okuyisa abaana abawala n’abalenzi mu ngeri y’emu. Ebitongole bingi ebivuddeyo okuyamba abawala naye batono abafa ku balenzi. Kino kireetawo embeera nti omuwala abeera abanguddwa, kyokka ng’omulenzi tewali yamufaako. Bwe batuuka mu bufumbo, omuwala ayinza okulaga obusukkulumu olw’okuba yabangulwa, oluusi ekikosa omulenzi, kubanga y’alina oku-ba omutwe omukulu mu maka.
  • Abaagalana okubeera abantubalamu n’okukulembeza obuntubulamu mu bufumbo. Kino bwe kibaawo tewaba kulengezza munno, okukukulira ssente oba okukola ekyo ekinaalumya munno.
  • Abasajja balina okukomya okusirikira ebizibu nga bino kubanga gy’okoma okusirika ebikunyiga byeyongera okwetuuma, oluusi ate ekivaamu omusajja okukola ekinene ekiyinza okumusuula mu buzibu.
  • Amateeka geetaaga okutandika okutwala omwami n’omukyala mu ngeri yeemu gakomye okwekubira ku ludda lw’abakazi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako