TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Leero mu senga wa Bukedde tukulaze ebintu abasajja bye bakola ne binyiga abakyala mu maka

Leero mu senga wa Bukedde tukulaze ebintu abasajja bye bakola ne binyiga abakyala mu maka

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd July 2018

Leero mu senga wa Bukedde tukulaze ebintu abasajja bye bakola ne binyiga abakyala mu maka

Sen1 703x422

Ssebugizi ne Nabukeera nga bayoza ebintu.

JONATHAN Ssebuguzi ne Becky Nabukeera bamaze mu laavu omwaka gumu n’ekitundu era omukwano gwabwe teguyuugayuuga. Baagambye nti ekimu ku bibayambye okukuuma omukwano gwabwe kwe kuyambagana mu mirimu gy’awaka. Nabukeera yagambye nti yeebaza Katonda olw’okumuwa omusajja ow’ebirooto bye kubanga amwagala ate ng’amuwa ekitiibwa.

Kuno agattako okumuyamba ku mirimu gy’awaka lw’abeera asiibyewo era nga bano emirimu gyonna bagikola babiri omuli okwoza ebintu ng’omu bw’akuuta omulala ng’anyumunguza.

Bwe kituuka mu kufumba era babeera bombi. Agamba nti kino kibayamba obutakoowa ate nga kyongera n’okunnyikiza omukwano gwabwe. Ate ye Ssebuguzi yagambye nti, “ Okuyamba ku munnange nakitandika oluvannyuma lw’okukizuula nti yali amenyeka nnyo n’emirimu gy’awaka, kwe kutandika okumuyambako.

Ekirala bwe nkola emirimu gino era nsigala nga nze mwami mu maka. Okugeza bwe ngolola engoye zaffe nga munnange afumba oba okumuyambako ne twoza ffembi olwo kirimu kabi ki?” Abaagalana bano baagambye nti okukolera awamu mu buli kimu kibayambye okwekulaakulanya era ng’ebiseera ebisinga Nabukeera amanyi n’okugula ku bintu by’awaka ng’emmere n’ebirala omwami we bw’aba tasobodde.

Kino kibayambye okukuuma omukwano gwabwe nga gutinta. Ssebuguzi akubiriza abasajja okuyamba ku bakyala baabwe awaka n’okukola ebyo ebyongera okunnyikiza omukwano gwabwe. Ekirala balina okwewala okubanyigiriza mu ngeri yonna.‘‘NKUBUULIRE Maama Naaka, ssinga si baana bange lino eddya nandiryenenyezza.

Omusajja n’akuyisa ng’akalogoyi! Yaη− ηaana okuteekako omukozi mbu ye omukozi tamufumbira wadde okukwata ku ngoye ze. Emirimu gyonna ngifi iramu, ate nga talina ky’annyambako wadde,” bwatyo omukyala omu bwe yabadde anyumiza munne okusoberwa kwalimu. Baabadde mu takisi ezidda e Bweyogerere.

Ono tali omu, abakyala bangi abali mu maka era ng’ababalaba babeesiimisa naye nga banyigirizibwa mu ngeri ez’enjawulo. Abakyala ab’ekika kino weesanga nga buli kimu omusajja akireeta awaka naye ng’alina engeri gy’amuyisaamu emutulugunya n’atuuka n’okwetamwa obufumbo.

Ekizibu nti abasajja bangi ebyo tebabitwala nga nsonga era tebabissa na mu birowoozo nti osanga birina engeri gye bikosaamu bakyala baabwe. Josephine Namuzira abuulirira abafumbo ng’abeera Katende yagambye nti abasajja bangi bakola bakyala baabwe ebintu mu butali bugenderevu naye ne bibanyiga;

 

1 Okutikka munno buli mulimu ogukolebwa awaka. Abasajja bangi balina endowooza nti buli kalimu awaka kalina kukolebwa mukazi nga bbo ogwabwe gwa kukola ssente ne babawa balabirire awaka, so nga wadde omukyala omuwa ssente naye era kyandibadde kya buvunaanyizibwa ne muyambagana ng’abafumbo.

Okugeza bw’oba olaba munno anaaza abaana tewali kikulemesa kukwata ngatto zo n’ozikuba eddagala mu kifo ky’okulinda nakyo akikukolere kuba bw’aba n’obudde akikola. 2 Obucaafu obuyitiridde awaka. Wadde kituufu buvunaanyibwa bwa mukyala okuyonja bba wamu n’amaka gaabwe naye abaami abamu bacafuwala ekisusse ne bakalubya obulamu bwa bannaabwe.

Okugeza omusajja oyinza okukomawo okuva ku mulimu n’asanga munne ng’amaze okulongoosa ennyumba kyokka n’ayingizaamu engatto ate nga ziddugala, olwo n’amuwa omulimu gw’okuddamu okuyonja. Abalala tebaagala kunaaba ne bawunyirira bakyala baabwe ate nga tebalina ngeri gye bakibagambamu. Ye ate bwe kituuka ku bafuuwa ssigala n’okunywa omwenge olwo ne gujabagira. 3 Abaami okusuulirira obuvunaanyizibwa bwabwe.

Abasajja abamu balekera bakazi baabwe obuvunaanyizibwa bw’okulabirira awaka bwonna okuva ku kyebalina okulya olunaku okutuuka ku mwana alwadde. Abasajja abamu bw’asasula ffi izi z’abaana olwo ebiddako aba tayagala kumanya, awoza kimu ‘kasita n’omukyala akola..’

4 Omwami atatuukiridde mu kisenge. Abakyala babeera mu bufumbo naye nga tebasanyusibwa kimala ate emirundi egimu tekibeera nti abasajja tebeesobola mu butonde naye lwakuba tebafaayo ku ngeri bannaabwe gye bawuliramu. Okugeza abakyala naddala abasigala awaka baagala nnyo akaboozi k’oku makya kyokka bambi abasajja obudde bw’oku makya babuwa nnyo emirimu ne weesanga nti omukyala omuleka tafunye ky’ayagala.

Eno y’ensonga oluusi ereetera abakazi okwemakula n’abasajja oluusi abatali na ba kiraasi yaabwe, naye nga balaba be bajja okubamalako ennyonta y’omukwano. 5 Obutalya mmere waka. Waliwo abasajja abalina omuze gw’obutalya waka. Teri mukazi ayinza kuwulira bulungi nga munne talya ku mmere gy’aba amufumbidde. Abasajja abagwa mu ttuluba lino b’ebo abannyuka okuva ku mirimu ne bayitirako mu bbaala okwewaamu.

Eno ate gye basanga n’ebyokulya era agenda okudda awaka ng’abwegedde. Kino ssinga kikolebwa lwa lumu omukyala ayinza obutafaayo nnyo. Wabula waliwo abaagufuula omuze ng’emmere mukyala we gy’amufumbira tagirya. Kino kinyiga omukazi lwakuba ebiseera ebisinga bakisirikira, olwo omusajja n’alowooza nti tewali buzibu. 6 Okukomawo mu matumbibudde n’obutawa munno budde.

Abakyala bangi ne bw’otamuwa bintu bingi naye n’omuwa obudde n’omukwano ebimunyigiriza ayinza obutabiwulira. Naye abaami abamu obudde bwabwe obusinga babumala wabweru wa nnyumba ng’awaka bakomyawo tulo.

Kino kiruma nnyo abakyala wadde ng’abaami abasinga tebakitwala ng’ekikulu era wano batuuka n’okukomawo awaka nga bakyala baabwe tebakyabeesunga kukomawo. 7 Okwanguyira omukyala mu nsonga z’omukwano.

Waliwo abaami abamu nga tebamanyi kunoonya bakyala baabwe mu kisenge, nga bbo we baagalira okwesanyusiza we batandikira era ng’olumala okwekkusa tebafaayo kumanya bannaabwe bwe bawulira. Kino kiruma era kinyiiza nnyo abakyala naddala bakazibattu abafumbirwa abasajja abakola safaali nga babalabako luwunguko. Bano babeera mu bufumbo naye nga tebalina ssanyu.

Abaami kino tebakitwala nga nsonga naye nga kinyigiriza nnyo abakyala so nga kyandibadde kya magezi nnyo ssinga mugenda mu kwesanyusa nga buli omu yeesunze munne. 8 Omwami okukulembeza abe- ηηanda ze mu kifo kya mukyalawe. Abasajja abasinga bakulembeza nnyo abeηηanda zaabwe ne babatijjisa nnyo n’okusinga bakyala baabwe be baawasa ne babateeka awaka ng’abasinga naddala balamu baatuuka n’okuwa amateeka awaka.

Kino abakyala bakiraba ng’okubalengezza n’okubayisaamu amaaso, naye ng’abasajja tebakirabamu buzibu, so ng’abakyala kibamalako emirembe nga muli alaba ng’eyajja okufumbirwa ekika kyonna ne weesanga nti talina ssanyu mu maka. Namuzira yagambye nti amaka g’abafumbo ganyuma nnyo nga mwembi muwuliziganya ate nga mukwatagana bulungi.

Buli lw’olumirirwa munno naye asanyuka era by’omukolera kiraga nti abisiima era n’asaba nti wadde mulina okuyambagana naye buli omu tasaanye kusuulirira buvunaanyibwa bwe eri amaka gammwe.

Yagasseeko nti abafumbo abasinga mu kifo ky’okwogerezeganya badda mu kusunguwala ne watabaawo kutabagana era wano w’asabidde abaami okufaayo okuwuliriza bakyala baabwe ku nsonga zonna n’okumanya ekigenda mu maaso mu bulamu bwabwe baleme kubafuukira kizibu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...