TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyansuubiza empeta bwe yagenda ewaabwe teyadda

Eyansuubiza empeta bwe yagenda ewaabwe teyadda

By Musasi wa Bukedde

Added 4th July 2018

BW’EBEERAYO amanyi enjawulo wakati w’omusajja omutuufu ng’alina obubonero kw’olabira akwagala mu mazima n’omuyaaye ajje anyambe kuba nze ndowooza ekigambo kwagala tekikyalina makulu.

Nwano 703x422

Nze Joyce Kyoheirwe 25, mbeera Kyebando Kisalosalo mu Munisipaali y’e Kawempe.

Ebiseera byange eby’okwagala bwe byali bikyaliko, nnalina eddiimi nnyingi era nafuna omusajja eyansuubiza ensi n’eggulu era ne muwa omutima gwange gwonna nga tewali kye neerekerayo kuba nali mmanyi nti ye mutuufu.

Eno ggiya mwe nayagalira omusajja ono, simanyi oba ndiddamu ne ngifuna kuba nawuliranga ng’ekisinga obulungi mu nsi nkifunye.

Oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga tuseeyeyeza mu mukwano, yasalawo n’ajja n’akyala mu bazadde bange, ne bamusiima era ne bamusalira n’ebintu olwo n’asuubiza byonna okubisasula mu bbanga ye lye yeesalira.

Yali musajja Munyarwanda era oluvannyuma lw’okumusalira ebintu, yantegeeza nga bw’agenze e Rwanda asobole okutegeeza abeηηanda ze n’okufuna buli kyetaagisa ng’ennaku tezinnasembera.

Eyagenda okutereeza ensonga teyadda, essimu n’aziggyako nga tetuwuliziganya.

Wabula nga wayise omwaka gumu, mba ntigiinya essimu yange ne ngwa ku bifaananyi by’embaga gye yali akoze n’omuwala omulala e Rwanda ng’abitadde ku mukutu gwe ogwa ‘Facebook’.

Nawulira nga mpunze ne musindikira obubaka ku Facebook nga mubuuza lwaki kiri bwe kityo n’anziramu nti ebyange naye byaggwa era kati mufumbo omujjuvu.

Nawulira nga nfa ennaku n’obusungu naye Mukama naηηumya ne nsobola okumwesonyiwa era okuva olwo, abasajja ndaba balabe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...