TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baze ku baana 7 akyabanja balala: Nnabaana yange yanafuye, nkole ntya?

Baze ku baana 7 akyabanja balala: Nnabaana yange yanafuye, nkole ntya?

By Musasi wa Bukedde

Added 5th July 2018

BAZE ayagala nnyo okuzaala era kati tulina abaana musanvu. Kati nnabaana wange ali wansi era abasawo baηηamba nti nandibadde siddamu kuzaala wabula baze ayagala nzaale.

498569721 703x422

Kati nagaana okwegatta naye wabula alabika tafaayo era yaηηamba agenda kufunayo omukyala owookusatu ssinga sizaala. Kyokka nakimanya nti alina omukyala owookusatu kati ayagala mutongoza. Nkoze ntya? Ate abaana tebafuna bulungi buyambi.

OKUZAALA abaana abangi si kirungi ku bulamu obw’omukyala era ennaku zino abakyala bangi bafi ira mu kuzaala.

Omukyala okuzaala obulungi yandibadde azaala abaana mukaaga era omukyala bw’aweza abaana omusanvu nnabaana akoowa.

Ate n’okuzaala abaana ab’okumukumu nakyo kizibu anti nnabaana aba tannawummula ate ng’ozzaamu omwana omulala.

Abasawo baagala omwana naakula n’asukka emyaka ebiri n’olyoka omuzZaako omulala. Naye okuzaala buli mwaka si kirungi.

Kati oyinza okuba ng’obadde ozaala buli mwaka ate ng’ozadde bangi kati nnabaana alina okukoowa.

Oli mu mbeera mbi okuddamu okuzaala era bwe kiba kisoboka, twala balo mu ddwaaliro bamunnyonnyole bulungi ensonga eno kuba ayinza okulowooza nti omulimba.

Eky’okufuna omukyala owookusatu, tosobola kumugaana ng’asazeewo. Ekisinga obukulu, bulamu bwo kuba si kirungi kuleka baana bo. Ekirungi ozaddeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lev1 220x290

Omuyimbi Abel Chungu Musuka mutaka...

Omuyimbi Abel Chungu Musuka okuva e Zambia ali mu ggwanga.

Bamboowebuse 220x290

Newumbe ekyama yakizuula mu mabanda...

Bwe nalaba amabanda nga mangi ewaffe e Mbale ne nnoonyereza kye nyinza okugakolamu ne nfuna ssente era nazuula...

Roja 220x290

Slick Stuart ne DJ Roja bogedde...

Slick Stuart ne DJ Roja bakafulu mu kutabula ekyuma mu ggwanga balaze ebibafudde ba Dj ab’enjawuulo.

Na1 220x290

Ebya Don Nasser bibi.

Don Nasser bomwonoonedde! akwattiddwa poliisi ku misango gy'obufere.

Mushroomharvestingwebuse 220x290

Asigala awaka lima obutiko weegobeko...

Omukyala akooye okutoolerwako n'okulangirwa ssente z'akameeza weekwate okulima obutiko tojja kwejjusa